headline
stringlengths 3
238
⌀ | full_body
stringlengths 10
73.3k
⌀ |
|---|---|
Mubajje yatuuyanidde mu ttabamiruka
|
MUFTI Shaban Mubajje atuuyanidde mu ttabamiruka w’Abasiraamu ng’abamu ku basiraamu bamutadde ku nninga abannyonnyole ekyamutunza emmaali y’Obusiraamu.Ttabamiruka eyatudde ku Lwokuna ku kitebe kya UMSC ku Old Kampala yatandise na bunkenke abakiise abamu bwe baasanze ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala lw’abakiise abaabadde balina okwetaba mu lukiiko.Hajji Abdul Kiyimba omukiise okuva e Lwengo erinnya teyalisanze ku lukakala era yagenze awera ng’ensonga bw’azitwala mu kkooti nga bwabuuza nti; “Nafa, nasenguka oba nalekulira? Ngenze mu kkooti”Ku Lwokutaano nga nga November 24, Kiyimba baamukwatira mu muzikiti gwa Old Kampala oluvannyuma lw’okusaala Juma bwe yali agezaako okulaga obutali bumativu ku by’okutunda ebintu by’obusiraamu.Kyokka n’abakiise abalala abasukka mu 20 abaabadde baayingidde munda mu kisenge omuteesezebwa baalabidde awo ng’abeebyokwerinda babafulumya omu ku omu.Yasin Kakuru (Kiruhura) baamufulumizza akulukusa amaziga nga bwe yeewuunya ebigenda mu maaso ebyatuusizza amagye okumufulumya ng’omubbi w’enkoko. Yagambye nti abalina okukuuma ebyobusiraamu tebakoze kimala kubikuuma.Zuraikah Kamara (Kampala Region) yasabye Gavumenti erindeko okuliyirira UMSC obuwumbi 70 z’ebanja kuba yakitegeddeko nti zino ze baagala okukozesa okusasula Justus Kyabahwa.Sulainah Kigongo (East Buganda) naye baamufulumizza n’agamba nti tawagira kya Mufti kugamba nti alina obusobozi okusasula amabanja kuba ababanja UMSC bangi.ABAKIISE BATABUKA Olukiiko lwatandise ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu wadde nga lwalina kutandika ku 3:00, terwakkiriziddwamu bannamawulire nga lwakubiriziddwa ssentebe Dr. Muhammad Lubega Kisambira.Mufti Mubajje mu kwogera kwe yategeezezza nti olukiiko olufuzi olukadde lwe lwavaako obuzibu kuba be baayisa ekyokutunda. Yamenye abamu ku baali ku lukiiko olukadde abaabaddewo okuli; Dr Edris Kasenene, Musa Mayanja (Masaka), Mudasir Doka (Madi), Ali Karatunga (Tooro) n’abalala.Kyokka Doka eyabadde omukambwe yasituse mangu n’awakanya ebyabadde byogerwa Mufti Mubajje n’agamba nti aleme kubawaayiriza kuba abakiise abasinga ekiteeso ky’okutunda ettaka lye Ssembabule baakiwakanyizaawo kyokka Mubajje ne Ramathan Mugalu eyali Ssaabawandiisi ne bakiremereko.Ensonda zaategeezezza nti Mubajje eyabadde omuwotofu yalabise ng’asobeddwa era kino kyasaanudde abakiise abaakulembeddwa Haruna Rashid Kasangaki (Wakiso) n’ategeesa nti abantu ssekinoomu abeetaba mu ddiiru y’okutunda be balina okusasula obuwumbi 19 ezibanjibwa Justus Kyabahwa.Abakiise baakalambidde nga bwe balabula aba UMSC obuteetantala kutoola ku buwumbi 70 ezigenda okubaweebwa Gavumenti ne bagamba nti zirina kugabanyizibwa mu disitulikiti z’Obusiraamu 78 zikole emirimu gyobusiraamu.Omubaka Yasin Kazibwe (Masaka) yategeezezza nti ekyabadde mu ttabamiruka takirojja kuba obwedda be bawa akazindaalo nga bamala kukakasa nti bali ku ludda lwa Mufti.“Nabadde njagala kuleeta kiteeso ekisaba Mufti addeko ebbali anoonyerezebweko kuba yabadde atuuse okwegaana omukono gwe yateeka ku ndagaano ng’atunda ettaka lye Ssembabule, kyokka nakanze kuwanika nga tebannonda” Kazibwe bwe yagambye.Waliwo abakiise abaalaze obutali bumativu olw’okulemesa bamemba abali mu mateeka okwetaba mu lukiiko luno. Kyasaliddwawo nti ensonga zino zijja kutunulwamu oluvannyuma.EBYASALIDDWAAWO •Abakiise baayisizza ekiteeso ekisaba Mufti Mubajje ne ssentebe wa General Assembly bakole entegeka ezisisinkana Pulezidenti ne Ssaabalamuzi bamutegeeze naddala ku butali bumativu n’ensonga gye zikwatiddwamu ebitongole bya Gavumenti.•Olukiiko lwalonze omubaka w’e Kayunga, Hajji Sulaiman Madada n’omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti ow’e Nakawa, Kassim Kamugisha bakulemberemu omulimu gw’okutereeza ekifaananyi kya UMSC mu bantu.
AbdulKarim Ojambo;Tusaba Allah y’aba alamula ensonga z’Obusiraamu abantu baziggyemu amagezi gaabwe n’okutegeera ate n’abakulembeze baffe abawe okutegeera okw’enjawulo.
Abu Kasuntumayire; Obunkenke obuli ku kitebe ky’Obusiraamu bweyongera buli lukya ate abakulembeze balemeddwa okuvaayo okutangaaza ekigenda mu maaso.
Habibah Nasozi; Mubajje tasaana kuyitibwa Mufti olw’ebikolobero by’akoze ku Busiraamu mu ggwanga, mmusaba mu buwoombeefu alekulire era aviire ddala mu nsonga z’Obusiraamu.
Hannington Kaweesa; Abasiraamu mbasaba bagumiikirize balinde ekinaaba kisaliddwaawo abakulembeze baabwe ku nsonga ezigenda mu maaso mu kifo kya buli omu okwagala okukozesa amaanyi.
MUFTI Shaban Mubajje atuuyanidde mu ttabamiruka w’Abasiraamu ng’abamu ku basiraamu bamutadde ku nninga abannyonnyole ekyamutunza emmaali y’Obusiraamu.
Ttabamiruka eyatudde ku Lwokuna ku kitebe kya UMSC ku Old Kampala yatandise na bunkenke abakiise abamu bwe baasanze ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala lw’abakiise abaabadde balina okwetaba mu lukiiko.
Hajji Abdul Kiyimba omukiise okuva e Lwengo erinnya teyalisanze ku lukakala era yagenze awera ng’ensonga bw’azitwala mu kkooti nga bwabuuza nti; “Nafa, nasenguka oba nalekulira? Ngenze mu kkooti”
Ku Lwokutaano nga nga November 24, Kiyimba baamukwatira mu muzikiti gwa Old Kampala oluvannyuma lw’okusaala Juma bwe yali agezaako okulaga obutali bumativu ku by’okutunda ebintu by’obusiraamu.
Kyokka n’abakiise abalala abasukka mu 20 abaabadde baayingidde munda mu kisenge omuteesezebwa baalabidde awo ng’abeebyokwerinda babafulumya omu ku omu.
Yasin Kakuru (Kiruhura) baamufulumizza akulukusa amaziga nga bwe yeewuunya ebigenda mu maaso ebyatuusizza amagye okumufulumya ng’omubbi w’enkoko. Yagambye nti abalina okukuuma ebyobusiraamu tebakoze kimala kubikuuma.
Zuraikah Kamara (Kampala Region) yasabye Gavumenti erindeko okuliyirira UMSC obuwumbi 70 z’ebanja kuba yakitegeddeko nti zino ze baagala okukozesa okusasula Justus Kyabahwa.
Sulainah Kigongo (East Buganda) naye baamufulumizza n’agamba nti tawagira kya Mufti kugamba nti alina obusobozi okusasula amabanja kuba ababanja UMSC bangi.
ABAKIISE BATABUKA
Olukiiko lwatandise ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu wadde nga lwalina kutandika ku 3:00, terwakkiriziddwamu bannamawulire nga lwakubiriziddwa ssentebe Dr. Muhammad Lubega Kisambira.
Mufti Mubajje mu kwogera kwe yategeezezza nti olukiiko olufuzi olukadde lwe lwavaako obuzibu kuba be baayisa ekyokutunda. Yamenye abamu ku baali ku lukiiko olukadde abaabaddewo okuli; Dr Edris Kasenene, Musa Mayanja (Masaka), Mudasir Doka (Madi), Ali Karatunga (Tooro) n’abalala.
Kyokka Doka eyabadde omukambwe yasituse mangu n’awakanya ebyabadde byogerwa Mufti Mubajje n’agamba nti aleme kubawaayiriza kuba abakiise abasinga ekiteeso ky’okutunda ettaka lye Ssembabule baakiwakanyizaawo kyokka Mubajje ne Ramathan Mugalu eyali Ssaabawandiisi ne bakiremereko.
Ensonda zaategeezezza nti Mubajje eyabadde omuwotofu yalabise ng’asobeddwa era kino kyasaanudde abakiise abaakulembeddwa Haruna Rashid Kasangaki (Wakiso) n’ategeesa nti abantu ssekinoomu abeetaba mu ddiiru y’okutunda be balina okusasula obuwumbi 19 ezibanjibwa Justus Kyabahwa.
Abakiise baakalambidde nga bwe balabula aba UMSC obuteetantala kutoola ku buwumbi 70 ezigenda okubaweebwa Gavumenti ne bagamba nti zirina kugabanyizibwa mu disitulikiti z’Obusiraamu 78 zikole emirimu gyobusiraamu.
Omubaka Yasin Kazibwe (Masaka) yategeezezza nti ekyabadde mu ttabamiruka takirojja kuba obwedda be bawa akazindaalo nga bamala kukakasa nti bali ku ludda lwa Mufti.
“Nabadde njagala kuleeta kiteeso ekisaba Mufti addeko ebbali anoonyerezebweko kuba yabadde atuuse okwegaana omukono gwe yateeka ku ndagaano ng’atunda ettaka lye Ssembabule, kyokka nakanze kuwanika nga tebannonda” Kazibwe bwe yagambye.
Waliwo abakiise abaalaze obutali bumativu olw’okulemesa bamemba abali mu mateeka okwetaba mu lukiiko luno. Kyasaliddwawo nti ensonga zino zijja kutunulwamu oluvannyuma.
EBYASALIDDWAAWO
•Abakiise baayisizza ekiteeso ekisaba Mufti Mubajje ne ssentebe wa General Assembly bakole entegeka ezisisinkana Pulezidenti ne Ssaabalamuzi bamutegeeze naddala ku butali bumativu n’ensonga gye zikwatiddwamu ebitongole bya Gavumenti.
•Olukiiko lwalonze omubaka w’e Kayunga, Hajji Sulaiman Madada n’omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti ow’e Nakawa, Kassim Kamugisha bakulemberemu omulimu gw’okutereeza ekifaananyi kya UMSC mu bantu.
|
Abantu bye bagamba
|
AbdulKarim Ojambo;Tusaba Allah y’aba alamula ensonga z’Obusiraamu abantu baziggyemu amagezi gaabwe n’okutegeera ate n’abakulembeze baffe abawe okutegeera okw’enjawulo.Abu Kasuntumayire; Obunkenke obuli ku kitebe ky’Obusiraamu bweyongera buli lukya ate abakulembeze balemeddwa okuvaayo okutangaaza ekigenda mu maaso.Habibah Nasozi; Mubajje tasaana kuyitibwa Mufti olw’ebikolobero by’akoze ku Busiraamu mu ggwanga, mmusaba mu buwoombeefu alekulire era aviire ddala mu nsonga z’Obusiraamu.Hannington Kaweesa; Abasiraamu mbasaba bagumiikirize balinde ekinaaba kisaliddwaawo abakulembeze baabwe ku nsonga ezigenda mu maaso mu kifo kya buli omu okwagala okukozesa amaanyi.
AbdulKarim Ojambo;Tusaba Allah y’aba alamula ensonga z’Obusiraamu abantu baziggyemu amagezi gaabwe n’okutegeera ate n’abakulembeze baffe abawe okutegeera okw’enjawulo.
Abu Kasuntumayire; Obunkenke obuli ku kitebe ky’Obusiraamu bweyongera buli lukya ate abakulembeze balemeddwa okuvaayo okutangaaza ekigenda mu maaso.
Habibah Nasozi; Mubajje tasaana kuyitibwa Mufti olw’ebikolobero by’akoze ku Busiraamu mu ggwanga, mmusaba mu buwoombeefu alekulire era aviire ddala mu nsonga z’Obusiraamu.
Hannington Kaweesa; Abasiraamu mbasaba bagumiikirize balinde ekinaaba kisaliddwaawo abakulembeze baabwe ku nsonga ezigenda mu maaso mu kifo kya buli omu okwagala okukozesa amaanyi.
KARIM Nsaada 48, omutuuze mu ttawuni y’e Bulanga, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka, era nga ye kitaawe w’omuwala Shadia Nangobi 26, agambibwa okuba nga yattiddwa bba mutabani w’omuggagga Wilson Mukiibi amanyiddwa nga Muzzanganda, ku Mmande ya wiiki eno, yakutte wansi ne waggulu ng’ayagala annyonnyolwe ensonga eyaviiriddeko kye yayise ‘okusaddaaka’ omwana we n’afa ku myaka emito bwe gityo.
Yategeezezza nti wadde nga musajja mufunampola, yakola kyonna ekisoboka okulaba nga muwala we asoma era n’atikkirwa diguli y’obusomesa ku yunivasite y’e Kyambogo.
Yagasseeko nti kyokka oluvannyuma yafunamu obutakkaanya ne mukazi we Zaituni Nalugema, nnyina wa muwala we era n’amutwala ne batandika okubeera bokka.
Nsaada, yannyonnyodde nti yaddamu okuwuliza muwala we ng’ayanjudde omusajja kyokka wadde nga waali mulamu, tebaamuyita ku mukolo, nnyina n’ateekawo kitaawe amuzaala (Issah Bugoya) eyandibadde nga jjajja w’omwana, bwatyo n’akola nga taata ku mukolo era emmaali yonna gwe baagiwa.
Yategeezezza nti yagezaako okugoberera ensonga eno kyokka n’alemesebwa olwo buli kimu n’akikwasa Katonda, anti nga ne muwala we takyayagala kumanya bimukwatako ng’alaba amuswaza olw’okuba omwavu.
Yagambye nti yazzeemu okuwulira ebikwata ku muwala we nga bamumubikira nti bba yamusse Poliisi omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago ne bba n’akwatibwa.
Wakati mu kusoberwa, yakubidde aba ffamire ye amasimu era amawulire g’okufa kwa muwala we ne gasaasaana wonna.
Yalinnye ttakisi n’atuukira ku ggwanika e Mulago, kyokka ne bakamutema nti omulambo, ffamire ya Muzzanganda, abaawasa muwala we, baabadde baguggyeeyo ne bagutwala.
Yayise mu bwangu n’apangisa emmotoka ekika kya loole kwe baalinnye ne banne abalala abaabadde bamuwerekeddeko, ne boolekera gye baabadde bagusuubira ku kyalo Namubiru, mu ggombolola y’e Nama, mu disitulikiti y’e Mukono, omugenzi gy’abadde abeera, kyokka baabadde baakatuukawo ne babategeeza nti gwatwaliddwa e Nakifuma, ku kiggya gye bazaala omusajja, Paul Musisi, abadde bba w’omugenzi.
Nsaada, yategeezezza Bukedde, nti baabuulirizza okutuusa lwe baazudde awaabadde wakumiddwa olumbe kyokka be baasanzeewo ne babagaana okutuuka awaabadde omulambo olwo ne bava mu mbeera.
Yategeezezza nti baawaganyizza ne batuuka omulambo we gwabadde wabula nga gwabadde gwetooloozeddwa ebikoola by’omulamula (Oluwaanyi) ne batyamu.
Yannyonnyodde nti, wadde nga ffamire ya Muzzanganda yabadde ebasuubizza okubawa akakadde ka ssente n’ente emu babakkirize baziike ku kiggya kyabwe, beeremye ne basitula omulambo gw’omwana waabwe ne bagukuba ku loole ne boolekera obutaka bwabwe.
Kyokka nti abakazi abaabadde banaaza omulambo baakizudde nti, olulimi lwabadde lulabikako kitundu, ng’obulago bujjudde ebinuubule, ssaako ekiwundu ekinene ekyabadde ku mutwe, nga n’ebimu ku bitundu by’ekyama biringa ebisale.
Wabula wadde taata w’omugenzi alowooza nti muwala we yandiba nga yasaddaakibwa, talina bujulizi bwa nkukunala, kubanga eky’olulimi abakugu bagamba nti emirundi mingi omuntu bw’afa lusobola okusowokayo oba okulumira era alaba omulambo ayinza okulowooza nti teruliimu, ng’omuntu yekka asobola okukakasa kino alina kuba musawo.
Olw’okuba Poliisi yabadde emaze okwekebejja omulambo, Nsaada yagambye nti baatudde nga ffamire ne bakkiriza okuziika ne kugenda mu maaso, oluvannyuma balyoke bagoberere fayiro y’omusango.
Ku Lwokuna akawungeezi, Nsaada eyabadde awerekeddwaako Asaad Magumba, n’aboooluganda abalala, baayolekedde Poliisi e Mukono okumanya okunoonyereza ku musango gw’okuttibwa kwa muwala waabwe we kutuuse, wakati mu kusaba gavumenti ebayambe.
Baategeezezza nti kye baagala bwe bwenkanya era ne bawera
okukola kyonna ekisoboka omuli n’okugenda mu kkooti singa fayiro yaabwe egezaako okuvulungibwa be baayise abagagga.
Twagezezzaako okufuna Muzzanganda okubaako by’atangaaza ku byogerwa kitaawe w’omugenzi kyokka ng’essimu zaffe tazikwata.
Wabula yo Poliisi yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza nti era Musisi, ateeberezebwa okutta bakyamulina mu kaduukulu kaabwe.
Wabula baasabye Nsaada, ne banne okuba abakkakkamu balindirire ebinaava mu bakugu nga tebannasalawo nti omuntu waabwe yasaddaakiddwa busaddaakibwa.
Okusinziira ku baliraanwa b’omugenzi, baali baasemba okumulaba ku Ssande nga mulamu bulungi kyokka enkeera ne bawulira nti afiiridde mu nju, ekintu ekyabakuba ewala ennyo.
MUFTI Shaban Mubajje atuuyanidde mu ttabamiruka w’Abasiraamu ng’abamu ku basiraamu bamutadde ku nninga abannyonnyole ekyamutunza emmaali y’Obusiraamu.
Ttabamiruka eyatudde ku Lwokuna ku kitebe kya UMSC ku Old Kampala yatandise na bunkenke abakiise abamu bwe baasanze ng’amannya gaabwe tegali ku lukalala lw’abakiise abaabadde balina okwetaba mu lukiiko.
Hajji Abdul Kiyimba omukiise okuva e Lwengo erinnya teyalisanze ku lukakala era yagenze awera ng’ensonga bw’azitwala mu kkooti nga bwabuuza nti; “Nafa, nasenguka oba nalekulira? Ngenze mu kkooti”
Ku Lwokutaano nga nga November 24, Kiyimba baamukwatira mu muzikiti gwa Old Kampala oluvannyuma lw’okusaala Juma bwe yali agezaako okulaga obutali bumativu ku by’okutunda ebintu by’obusiraamu.
Kyokka n’abakiise abalala abasukka mu 20 abaabadde baayingidde munda mu kisenge omuteesezebwa baalabidde awo ng’abeebyokwerinda babafulumya omu ku omu.
Yasin Kakuru (Kiruhura) baamufulumizza akulukusa amaziga nga bwe yeewuunya ebigenda mu maaso ebyatuusizza amagye okumufulumya ng’omubbi w’enkoko. Yagambye nti abalina okukuuma ebyobusiraamu tebakoze kimala kubikuuma.
Zuraikah Kamara (Kampala Region) yasabye Gavumenti erindeko okuliyirira UMSC obuwumbi 70 z’ebanja kuba yakitegeddeko nti zino ze baagala okukozesa okusasula Justus Kyabahwa.
Sulainah Kigongo (East Buganda) naye baamufulumizza n’agamba nti tawagira kya Mufti kugamba nti alina obusobozi okusasula amabanja kuba ababanja UMSC bangi.
ABAKIISE BATABUKA
Olukiiko lwatandise ku ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu wadde nga lwalina kutandika ku 3:00, terwakkiriziddwamu bannamawulire nga lwakubiriziddwa ssentebe Dr. Muhammad Lubega Kisambira.
Mufti Mubajje mu kwogera kwe yategeezezza nti olukiiko olufuzi olukadde lwe lwavaako obuzibu kuba be baayisa ekyokutunda. Yamenye abamu ku baali ku lukiiko olukadde abaabaddewo okuli; Dr Edris Kasenene, Musa Mayanja (Masaka), Mudasir Doka (Madi), Ali Karatunga (Tooro) n’abalala.
Kyokka Doka eyabadde omukambwe yasituse mangu n’awakanya ebyabadde byogerwa Mufti Mubajje n’agamba nti aleme kubawaayiriza kuba abakiise abasinga ekiteeso ky’okutunda ettaka lye Ssembabule baakiwakanyizaawo kyokka Mubajje ne Ramathan Mugalu eyali Ssaabawandiisi ne bakiremereko.
Ensonda zaategeezezza nti Mubajje eyabadde omuwotofu yalabise ng’asobeddwa era kino kyasaanudde abakiise abaakulembeddwa Haruna Rashid Kasangaki (Wakiso) n’ategeesa nti abantu ssekinoomu abeetaba mu ddiiru y’okutunda be balina okusasula obuwumbi 19 ezibanjibwa Justus Kyabahwa.
Abakiise baakalambidde nga bwe balabula aba UMSC obuteetantala kutoola ku buwumbi 70 ezigenda okubaweebwa Gavumenti ne bagamba nti zirina kugabanyizibwa mu disitulikiti z’Obusiraamu 78 zikole emirimu gyobusiraamu.
Omubaka Yasin Kazibwe (Masaka) yategeezezza nti ekyabadde mu ttabamiruka takirojja kuba obwedda be bawa akazindaalo nga bamala kukakasa nti bali ku ludda lwa Mufti.
“Nabadde njagala kuleeta kiteeso ekisaba Mufti addeko ebbali anoonyerezebweko kuba yabadde atuuse okwegaana omukono gwe yateeka ku ndagaano ng’atunda ettaka lye Ssembabule, kyokka nakanze kuwanika nga tebannonda” Kazibwe bwe yagambye.
Waliwo abakiise abaalaze obutali bumativu olw’okulemesa bamemba abali mu mateeka okwetaba mu lukiiko luno. Kyasaliddwawo nti ensonga zino zijja kutunulwamu oluvannyuma.
EBYASALIDDWAAWO
•Abakiise baayisizza ekiteeso ekisaba Mufti Mubajje ne ssentebe wa General Assembly bakole entegeka ezisisinkana Pulezidenti ne Ssaabalamuzi bamutegeeze naddala ku butali bumativu n’ensonga gye zikwatiddwamu ebitongole bya Gavumenti.
•Olukiiko lwalonze omubaka w’e Kayunga, Hajji Sulaiman Madada n’omumyuka w’omubaka wa Pulezidenti ow’e Nakawa, Kassim Kamugisha bakulemberemu omulimu gw’okutereeza ekifaananyi kya UMSC mu bantu.
|
Ebya mutabani wa Muzzanganda
|
KARIM Nsaada 48, omutuuze mu ttawuni y’e Bulanga, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka, era nga ye kitaawe w’omuwala Shadia Nangobi 26, agambibwa okuba nga yattiddwa bba mutabani w’omuggagga Wilson Mukiibi amanyiddwa nga Muzzanganda, ku Mmande ya wiiki eno, yakutte wansi ne waggulu ng’ayagala annyonnyolwe ensonga eyaviiriddeko kye yayise ‘okusaddaaka’ omwana we n’afa ku myaka emito bwe gityo.Yategeezezza nti wadde nga musajja mufunampola, yakola kyonna ekisoboka okulaba nga muwala we asoma era n’atikkirwa diguli y’obusomesa ku yunivasite y’e Kyambogo.Yagasseeko nti kyokka oluvannyuma yafunamu obutakkaanya ne mukazi we Zaituni Nalugema, nnyina wa muwala we era n’amutwala ne batandika okubeera bokka.Nsaada, yannyonnyodde nti yaddamu okuwuliza muwala we ng’ayanjudde omusajja kyokka wadde nga waali mulamu, tebaamuyita ku mukolo, nnyina n’ateekawo kitaawe amuzaala (Issah Bugoya) eyandibadde nga jjajja w’omwana, bwatyo n’akola nga taata ku mukolo era emmaali yonna gwe baagiwa.Yategeezezza nti yagezaako okugoberera ensonga eno kyokka n’alemesebwa olwo buli kimu n’akikwasa Katonda, anti nga ne muwala we takyayagala kumanya bimukwatako ng’alaba amuswaza olw’okuba omwavu.Yagambye nti yazzeemu okuwulira ebikwata ku muwala we nga bamumubikira nti bba yamusse Poliisi omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago ne bba n’akwatibwa.Wakati mu kusoberwa, yakubidde aba ffamire ye amasimu era amawulire g’okufa kwa muwala we ne gasaasaana wonna.Yalinnye ttakisi n’atuukira ku ggwanika e Mulago, kyokka ne bakamutema nti omulambo, ffamire ya Muzzanganda, abaawasa muwala we, baabadde baguggyeeyo ne bagutwala.Yayise mu bwangu n’apangisa emmotoka ekika kya loole kwe baalinnye ne banne abalala abaabadde bamuwerekeddeko, ne boolekera gye baabadde bagusuubira ku kyalo Namubiru, mu ggombolola y’e Nama, mu disitulikiti y’e Mukono, omugenzi gy’abadde abeera, kyokka baabadde baakatuukawo ne babategeeza nti gwatwaliddwa e Nakifuma, ku kiggya gye bazaala omusajja, Paul Musisi, abadde bba w’omugenzi.Nsaada, yategeezezza Bukedde, nti baabuulirizza okutuusa lwe baazudde awaabadde wakumiddwa olumbe kyokka be baasanzeewo ne babagaana okutuuka awaabadde omulambo olwo ne bava mu mbeera.Yategeezezza nti baawaganyizza ne batuuka omulambo we gwabadde wabula nga gwabadde gwetooloozeddwa ebikoola by’omulamula (Oluwaanyi) ne batyamu.Yannyonnyodde nti, wadde nga ffamire ya Muzzanganda yabadde ebasuubizza okubawa akakadde ka ssente n’ente emu babakkirize baziike ku kiggya kyabwe, beeremye ne basitula omulambo gw’omwana waabwe ne bagukuba ku loole ne boolekera obutaka bwabwe.Kyokka nti abakazi abaabadde banaaza omulambo baakizudde nti, olulimi lwabadde lulabikako kitundu, ng’obulago bujjudde ebinuubule, ssaako ekiwundu ekinene ekyabadde ku mutwe, nga n’ebimu ku bitundu by’ekyama biringa ebisale.Wabula wadde taata w’omugenzi alowooza nti muwala we yandiba nga yasaddaakibwa, talina bujulizi bwa nkukunala, kubanga eky’olulimi abakugu bagamba nti emirundi mingi omuntu bw’afa lusobola okusowokayo oba okulumira era alaba omulambo ayinza okulowooza nti teruliimu, ng’omuntu yekka asobola okukakasa kino alina kuba musawo.Olw’okuba Poliisi yabadde emaze okwekebejja omulambo, Nsaada yagambye nti baatudde nga ffamire ne bakkiriza okuziika ne kugenda mu maaso, oluvannyuma balyoke bagoberere fayiro y’omusango.Ku Lwokuna akawungeezi, Nsaada eyabadde awerekeddwaako Asaad Magumba, n’aboooluganda abalala, baayolekedde Poliisi e Mukono okumanya okunoonyereza ku musango gw’okuttibwa kwa muwala waabwe we kutuuse, wakati mu kusaba gavumenti ebayambe.Baategeezezza nti kye baagala bwe bwenkanya era ne baweraokukola kyonna ekisoboka omuli n’okugenda mu kkooti singa fayiro yaabwe egezaako okuvulungibwa be baayise abagagga.Twagezezzaako okufuna Muzzanganda okubaako by’atangaaza ku byogerwa kitaawe w’omugenzi kyokka ng’essimu zaffe tazikwata.Wabula yo Poliisi yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza nti era Musisi, ateeberezebwa okutta bakyamulina mu kaduukulu kaabwe.Wabula baasabye Nsaada, ne banne okuba abakkakkamu balindirire ebinaava mu bakugu nga tebannasalawo nti omuntu waabwe yasaddaakiddwa busaddaakibwa.Okusinziira ku baliraanwa b’omugenzi, baali baasemba okumulaba ku Ssande nga mulamu bulungi kyokka enkeera ne bawulira nti afiiridde mu nju, ekintu ekyabakuba ewala ennyo.
AbdulKarim Ojambo;Tusaba Allah y’aba alamula ensonga z’Obusiraamu abantu baziggyemu amagezi gaabwe n’okutegeera ate n’abakulembeze baffe abawe okutegeera okw’enjawulo.
Abu Kasuntumayire; Obunkenke obuli ku kitebe ky’Obusiraamu bweyongera buli lukya ate abakulembeze balemeddwa okuvaayo okutangaaza ekigenda mu maaso.
Habibah Nasozi; Mubajje tasaana kuyitibwa Mufti olw’ebikolobero by’akoze ku Busiraamu mu ggwanga, mmusaba mu buwoombeefu alekulire era aviire ddala mu nsonga z’Obusiraamu.
Hannington Kaweesa; Abasiraamu mbasaba bagumiikirize balinde ekinaaba kisaliddwaawo abakulembeze baabwe ku nsonga ezigenda mu maaso mu kifo kya buli omu okwagala okukozesa amaanyi.
KARIM Nsaada 48, omutuuze mu ttawuni y’e Bulanga, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka, era nga ye kitaawe w’omuwala Shadia Nangobi 26, agambibwa okuba nga yattiddwa bba mutabani w’omuggagga Wilson Mukiibi amanyiddwa nga Muzzanganda, ku Mmande ya wiiki eno, yakutte wansi ne waggulu ng’ayagala annyonnyolwe ensonga eyaviiriddeko kye yayise ‘okusaddaaka’ omwana we n’afa ku myaka emito bwe gityo.
Yategeezezza nti wadde nga musajja mufunampola, yakola kyonna ekisoboka okulaba nga muwala we asoma era n’atikkirwa diguli y’obusomesa ku yunivasite y’e Kyambogo.
Yagasseeko nti kyokka oluvannyuma yafunamu obutakkaanya ne mukazi we Zaituni Nalugema, nnyina wa muwala we era n’amutwala ne batandika okubeera bokka.
Nsaada, yannyonnyodde nti yaddamu okuwuliza muwala we ng’ayanjudde omusajja kyokka wadde nga waali mulamu, tebaamuyita ku mukolo, nnyina n’ateekawo kitaawe amuzaala (Issah Bugoya) eyandibadde nga jjajja w’omwana, bwatyo n’akola nga taata ku mukolo era emmaali yonna gwe baagiwa.
Yategeezezza nti yagezaako okugoberera ensonga eno kyokka n’alemesebwa olwo buli kimu n’akikwasa Katonda, anti nga ne muwala we takyayagala kumanya bimukwatako ng’alaba amuswaza olw’okuba omwavu.
Yagambye nti yazzeemu okuwulira ebikwata ku muwala we nga bamumubikira nti bba yamusse Poliisi omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago ne bba n’akwatibwa.
Wakati mu kusoberwa, yakubidde aba ffamire ye amasimu era amawulire g’okufa kwa muwala we ne gasaasaana wonna.
Yalinnye ttakisi n’atuukira ku ggwanika e Mulago, kyokka ne bakamutema nti omulambo, ffamire ya Muzzanganda, abaawasa muwala we, baabadde baguggyeeyo ne bagutwala.
Yayise mu bwangu n’apangisa emmotoka ekika kya loole kwe baalinnye ne banne abalala abaabadde bamuwerekeddeko, ne boolekera gye baabadde bagusuubira ku kyalo Namubiru, mu ggombolola y’e Nama, mu disitulikiti y’e Mukono, omugenzi gy’abadde abeera, kyokka baabadde baakatuukawo ne babategeeza nti gwatwaliddwa e Nakifuma, ku kiggya gye bazaala omusajja, Paul Musisi, abadde bba w’omugenzi.
Nsaada, yategeezezza Bukedde, nti baabuulirizza okutuusa lwe baazudde awaabadde wakumiddwa olumbe kyokka be baasanzeewo ne babagaana okutuuka awaabadde omulambo olwo ne bava mu mbeera.
Yategeezezza nti baawaganyizza ne batuuka omulambo we gwabadde wabula nga gwabadde gwetooloozeddwa ebikoola by’omulamula (Oluwaanyi) ne batyamu.
Yannyonnyodde nti, wadde nga ffamire ya Muzzanganda yabadde ebasuubizza okubawa akakadde ka ssente n’ente emu babakkirize baziike ku kiggya kyabwe, beeremye ne basitula omulambo gw’omwana waabwe ne bagukuba ku loole ne boolekera obutaka bwabwe.
Kyokka nti abakazi abaabadde banaaza omulambo baakizudde nti, olulimi lwabadde lulabikako kitundu, ng’obulago bujjudde ebinuubule, ssaako ekiwundu ekinene ekyabadde ku mutwe, nga n’ebimu ku bitundu by’ekyama biringa ebisale.
Wabula wadde taata w’omugenzi alowooza nti muwala we yandiba nga yasaddaakibwa, talina bujulizi bwa nkukunala, kubanga eky’olulimi abakugu bagamba nti emirundi mingi omuntu bw’afa lusobola okusowokayo oba okulumira era alaba omulambo ayinza okulowooza nti teruliimu, ng’omuntu yekka asobola okukakasa kino alina kuba musawo.
Olw’okuba Poliisi yabadde emaze okwekebejja omulambo, Nsaada yagambye nti baatudde nga ffamire ne bakkiriza okuziika ne kugenda mu maaso, oluvannyuma balyoke bagoberere fayiro y’omusango.
Ku Lwokuna akawungeezi, Nsaada eyabadde awerekeddwaako Asaad Magumba, n’aboooluganda abalala, baayolekedde Poliisi e Mukono okumanya okunoonyereza ku musango gw’okuttibwa kwa muwala waabwe we kutuuse, wakati mu kusaba gavumenti ebayambe.
Baategeezezza nti kye baagala bwe bwenkanya era ne bawera
okukola kyonna ekisoboka omuli n’okugenda mu kkooti singa fayiro yaabwe egezaako okuvulungibwa be baayise abagagga.
Twagezezzaako okufuna Muzzanganda okubaako by’atangaaza ku byogerwa kitaawe w’omugenzi kyokka ng’essimu zaffe tazikwata.
Wabula yo Poliisi yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza nti era Musisi, ateeberezebwa okutta bakyamulina mu kaduukulu kaabwe.
Wabula baasabye Nsaada, ne banne okuba abakkakkamu balindirire ebinaava mu bakugu nga tebannasalawo nti omuntu waabwe yasaddaakiddwa busaddaakibwa.
Okusinziira ku baliraanwa b’omugenzi, baali baasemba okumulaba ku Ssande nga mulamu bulungi kyokka enkeera ne bawulira nti afiiridde mu nju, ekintu ekyabakuba ewala ennyo.
Nnaalongo Monica Nankwanga e Mutungo; Gavumenti esooke ezuule ensonga ez’enjawulo ezivaako abantu okuttihhana era bateekewo ebibonerezo ebikakali ku muntu gwe bazuula ng’asse munne.
Steven Lugemwa Kabowa; Tusabe Mukama atutaase naye obutemu bususse. Abantu batwalira obulamu mu ngalo, etteeka lya tottanga abantu baalyerabira dda y’ensonga lwaki tebakyatya.
Barbra Nabukeera, Kibuli; Abantu tebakyewa kitiibwa , obukambwe bwasukka. Kyetaaga tunyiikire okukoowoola Katonda atutaase kuba ebikolwa by’ettemu byeyongera buli kaseera.
Robert Kakaire, Wabigalo; Ekikulu abantu ennaku zino basusse okutwalira amateeka mu ngalo. Nze njagala ebintu ebyo bigende mu kkooti bakole okunoonyereza okutuufu era kkooti esale n’ekibonerezo ekisaanidde.
|
Abantu bye bagamba
|
Nnaalongo Monica Nankwanga e Mutungo; Gavumenti esooke ezuule ensonga ez’enjawulo ezivaako abantu okuttihhana era bateekewo ebibonerezo ebikakali ku muntu gwe bazuula ng’asse munne.Steven Lugemwa Kabowa; Tusabe Mukama atutaase naye obutemu bususse. Abantu batwalira obulamu mu ngalo, etteeka lya tottanga abantu baalyerabira dda y’ensonga lwaki tebakyatya.Barbra Nabukeera, Kibuli; Abantu tebakyewa kitiibwa , obukambwe bwasukka. Kyetaaga tunyiikire okukoowoola Katonda atutaase kuba ebikolwa by’ettemu byeyongera buli kaseera.Robert Kakaire, Wabigalo; Ekikulu abantu ennaku zino basusse okutwalira amateeka mu ngalo. Nze njagala ebintu ebyo bigende mu kkooti bakole okunoonyereza okutuufu era kkooti esale n’ekibonerezo ekisaanidde.
ENSI ezzeemu ekyekango ekirala eky’ekirwadde ekifaanana ssennyiga wa Covid-19, ng’ono naye ssennyiga na kifuba ebiruma mu ngeri ey’amaanyi etamanyi biri ebyasooka.
Ekyewuunyisa ate ekitongole ky’amawanga amagatte eky’ebyobulamu ekya, World Health Organization (WHO) kigamba nti obulwadde buno nabwo butandikidde China nga bwe kiteeberezebwa ne ku Covid eyaakatta obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi.
Obulwadde buno okusinziira ku WHO, buziyiza omuntu okussa n’atandika kuziyira ng’akolola alaakiira. Omuntu akwatiddwa obulwadde obupya, omulabira mu kussa bubi kyokka nga tewali kwe kiva ate tekikoma awo, alaakiira n’akolola ebitaggwa ate nga tewali kivaayo.
Ne bw’agenda mu ddwaaliro abasawo baba tebalina kye balaba era okunoonyereza kulaga nti ayinza n’obuteetaaga ddagala n’awona yekka kyokka obutawona nakyo kyangu.
Ekitongole kya WHO okulangiriza bino kyavudde ku bannassaayansi abaabadde bateesa mu pulogulaamu y’ebyobulamu emanyiddwa nga Monitoring emerging diseases olwo ab’ekibiina kya International Society for Infectious Diseases abalondoola endwadde ezisaasaana amangu mu bantu ne babikumamu omuliro okunoonyereza ne kutandika.
Baasoose kwekengera China era ne kizuulwa nti mu bitundu ebimu naddala eby’omu mambuka g’eggwanga eryo omuli n’ekibuga Beijing, waliyo obulwadde obwabaluseewo obwefaananyiriza ‘pneumonia’ kyokka ng’essaawa eno businze kukwata baana abagenze babusiiga bazadde baabwe.
Aba WHO baafulumizza okunoonyereza kwayo nga bagamba nti China yabategeezezza nti, okuva lwe baggyawo omuggalo olwa Covid okukendeera, beesanga nga waliwo endwadde endala ezivudde mu bungi bw’abantu okuddamu okubeera awamu ate ng’obulwadde obwo bwali tebunnaggweerawo ddala.
China egamba nti obulwadde ensi yonna bw’enoonyerezaako babumanyi era ewaabwe babulina kyokka si be baabukola mu bugenderevu nga bwe kibateekebwako ku Covid.
Obulwadde buno baategeezezza nti bwefaanaanyiriza obuwuka bwa ‘adenoviruses’, influenza virus ne virus endala ezireeta kissennyigassennyiga ekisobola okuleetera omuntu obutassa bulungi naye nga si kibi nnyo ng’abamu bwe bakirowooza.
Okusinziira ku katabo ka Nature Journal akoogera ku ssaayansi n’endwadde, waliwo lipoota enzijuvu Abachina gye baafulumirizza ekitongole kya WHO mu October nga boogera ku bulwadde buno.
Bagamba nti businze kuva ku kawuka akayitibwa Mycoplasma pneumonia ng’ako kawuka akakwata amawuggwe era bamaze ebbanga nga batoba nako kyokka ne bagumya ensi nti teyeetaaga kutya. Munnassaayansi Benjamin Cowling owa University of Hong Kong mu China agamba nti teyewuunya mbeera ya bulwadde buno kubanga mu bunnyogovu nga bwe balimu essaawa eno, ssenyiga n’ekifuba bwebityo byangu okukwata abantu naye ebbugumu bwe lijja ne biggwaawo.
KARIM Nsaada 48, omutuuze mu ttawuni y’e Bulanga, ekisangibwa mu disitulikiti y’e Luuka, era nga ye kitaawe w’omuwala Shadia Nangobi 26, agambibwa okuba nga yattiddwa bba mutabani w’omuggagga Wilson Mukiibi amanyiddwa nga Muzzanganda, ku Mmande ya wiiki eno, yakutte wansi ne waggulu ng’ayagala annyonnyolwe ensonga eyaviiriddeko kye yayise ‘okusaddaaka’ omwana we n’afa ku myaka emito bwe gityo.
Yategeezezza nti wadde nga musajja mufunampola, yakola kyonna ekisoboka okulaba nga muwala we asoma era n’atikkirwa diguli y’obusomesa ku yunivasite y’e Kyambogo.
Yagasseeko nti kyokka oluvannyuma yafunamu obutakkaanya ne mukazi we Zaituni Nalugema, nnyina wa muwala we era n’amutwala ne batandika okubeera bokka.
Nsaada, yannyonnyodde nti yaddamu okuwuliza muwala we ng’ayanjudde omusajja kyokka wadde nga waali mulamu, tebaamuyita ku mukolo, nnyina n’ateekawo kitaawe amuzaala (Issah Bugoya) eyandibadde nga jjajja w’omwana, bwatyo n’akola nga taata ku mukolo era emmaali yonna gwe baagiwa.
Yategeezezza nti yagezaako okugoberera ensonga eno kyokka n’alemesebwa olwo buli kimu n’akikwasa Katonda, anti nga ne muwala we takyayagala kumanya bimukwatako ng’alaba amuswaza olw’okuba omwavu.
Yagambye nti yazzeemu okuwulira ebikwata ku muwala we nga bamumubikira nti bba yamusse Poliisi omulambo n’egutwala mu ggwanika e Mulago ne bba n’akwatibwa.
Wakati mu kusoberwa, yakubidde aba ffamire ye amasimu era amawulire g’okufa kwa muwala we ne gasaasaana wonna.
Yalinnye ttakisi n’atuukira ku ggwanika e Mulago, kyokka ne bakamutema nti omulambo, ffamire ya Muzzanganda, abaawasa muwala we, baabadde baguggyeeyo ne bagutwala.
Yayise mu bwangu n’apangisa emmotoka ekika kya loole kwe baalinnye ne banne abalala abaabadde bamuwerekeddeko, ne boolekera gye baabadde bagusuubira ku kyalo Namubiru, mu ggombolola y’e Nama, mu disitulikiti y’e Mukono, omugenzi gy’abadde abeera, kyokka baabadde baakatuukawo ne babategeeza nti gwatwaliddwa e Nakifuma, ku kiggya gye bazaala omusajja, Paul Musisi, abadde bba w’omugenzi.
Nsaada, yategeezezza Bukedde, nti baabuulirizza okutuusa lwe baazudde awaabadde wakumiddwa olumbe kyokka be baasanzeewo ne babagaana okutuuka awaabadde omulambo olwo ne bava mu mbeera.
Yategeezezza nti baawaganyizza ne batuuka omulambo we gwabadde wabula nga gwabadde gwetooloozeddwa ebikoola by’omulamula (Oluwaanyi) ne batyamu.
Yannyonnyodde nti, wadde nga ffamire ya Muzzanganda yabadde ebasuubizza okubawa akakadde ka ssente n’ente emu babakkirize baziike ku kiggya kyabwe, beeremye ne basitula omulambo gw’omwana waabwe ne bagukuba ku loole ne boolekera obutaka bwabwe.
Kyokka nti abakazi abaabadde banaaza omulambo baakizudde nti, olulimi lwabadde lulabikako kitundu, ng’obulago bujjudde ebinuubule, ssaako ekiwundu ekinene ekyabadde ku mutwe, nga n’ebimu ku bitundu by’ekyama biringa ebisale.
Wabula wadde taata w’omugenzi alowooza nti muwala we yandiba nga yasaddaakibwa, talina bujulizi bwa nkukunala, kubanga eky’olulimi abakugu bagamba nti emirundi mingi omuntu bw’afa lusobola okusowokayo oba okulumira era alaba omulambo ayinza okulowooza nti teruliimu, ng’omuntu yekka asobola okukakasa kino alina kuba musawo.
Olw’okuba Poliisi yabadde emaze okwekebejja omulambo, Nsaada yagambye nti baatudde nga ffamire ne bakkiriza okuziika ne kugenda mu maaso, oluvannyuma balyoke bagoberere fayiro y’omusango.
Ku Lwokuna akawungeezi, Nsaada eyabadde awerekeddwaako Asaad Magumba, n’aboooluganda abalala, baayolekedde Poliisi e Mukono okumanya okunoonyereza ku musango gw’okuttibwa kwa muwala waabwe we kutuuse, wakati mu kusaba gavumenti ebayambe.
Baategeezezza nti kye baagala bwe bwenkanya era ne bawera
okukola kyonna ekisoboka omuli n’okugenda mu kkooti singa fayiro yaabwe egezaako okuvulungibwa be baayise abagagga.
Twagezezzaako okufuna Muzzanganda okubaako by’atangaaza ku byogerwa kitaawe w’omugenzi kyokka ng’essimu zaffe tazikwata.
Wabula yo Poliisi yategeezezza nti bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza nti era Musisi, ateeberezebwa okutta bakyamulina mu kaduukulu kaabwe.
Wabula baasabye Nsaada, ne banne okuba abakkakkamu balindirire ebinaava mu bakugu nga tebannasalawo nti omuntu waabwe yasaddaakiddwa busaddaakibwa.
Okusinziira ku baliraanwa b’omugenzi, baali baasemba okumulaba ku Ssande nga mulamu bulungi kyokka enkeera ne bawulira nti afiiridde mu nju, ekintu ekyabakuba ewala ennyo.
Nnaalongo Monica Nankwanga e Mutungo; Gavumenti esooke ezuule ensonga ez’enjawulo ezivaako abantu okuttihhana era bateekewo ebibonerezo ebikakali ku muntu gwe bazuula ng’asse munne.
Steven Lugemwa Kabowa; Tusabe Mukama atutaase naye obutemu bususse. Abantu batwalira obulamu mu ngalo, etteeka lya tottanga abantu baalyerabira dda y’ensonga lwaki tebakyatya.
Barbra Nabukeera, Kibuli; Abantu tebakyewa kitiibwa , obukambwe bwasukka. Kyetaaga tunyiikire okukoowoola Katonda atutaase kuba ebikolwa by’ettemu byeyongera buli kaseera.
Robert Kakaire, Wabigalo; Ekikulu abantu ennaku zino basusse okutwalira amateeka mu ngalo. Nze njagala ebintu ebyo bigende mu kkooti bakole okunoonyereza okutuufu era kkooti esale n’ekibonerezo ekisaanidde.
|
Ekirwadde ekipya ekiremesa omuntu okussa nga Covid kitiisizza ensi
|
ENSI ezzeemu ekyekango ekirala eky’ekirwadde ekifaanana ssennyiga wa Covid-19, ng’ono naye ssennyiga na kifuba ebiruma mu ngeri ey’amaanyi etamanyi biri ebyasooka.Ekyewuunyisa ate ekitongole ky’amawanga amagatte eky’ebyobulamu ekya, World Health Organization (WHO) kigamba nti obulwadde buno nabwo butandikidde China nga bwe kiteeberezebwa ne ku Covid eyaakatta obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi.Obulwadde buno okusinziira ku WHO, buziyiza omuntu okussa n’atandika kuziyira ng’akolola alaakiira. Omuntu akwatiddwa obulwadde obupya, omulabira mu kussa bubi kyokka nga tewali kwe kiva ate tekikoma awo, alaakiira n’akolola ebitaggwa ate nga tewali kivaayo.Ne bw’agenda mu ddwaaliro abasawo baba tebalina kye balaba era okunoonyereza kulaga nti ayinza n’obuteetaaga ddagala n’awona yekka kyokka obutawona nakyo kyangu.Ekitongole kya WHO okulangiriza bino kyavudde ku bannassaayansi abaabadde bateesa mu pulogulaamu y’ebyobulamu emanyiddwa nga Monitoring emerging diseases olwo ab’ekibiina kya International Society for Infectious Diseases abalondoola endwadde ezisaasaana amangu mu bantu ne babikumamu omuliro okunoonyereza ne kutandika.Baasoose kwekengera China era ne kizuulwa nti mu bitundu ebimu naddala eby’omu mambuka g’eggwanga eryo omuli n’ekibuga Beijing, waliyo obulwadde obwabaluseewo obwefaananyiriza ‘pneumonia’ kyokka ng’essaawa eno businze kukwata baana abagenze babusiiga bazadde baabwe.Aba WHO baafulumizza okunoonyereza kwayo nga bagamba nti China yabategeezezza nti, okuva lwe baggyawo omuggalo olwa Covid okukendeera, beesanga nga waliwo endwadde endala ezivudde mu bungi bw’abantu okuddamu okubeera awamu ate ng’obulwadde obwo bwali tebunnaggweerawo ddala.China egamba nti obulwadde ensi yonna bw’enoonyerezaako babumanyi era ewaabwe babulina kyokka si be baabukola mu bugenderevu nga bwe kibateekebwako ku Covid.Obulwadde buno baategeezezza nti bwefaanaanyiriza obuwuka bwa ‘adenoviruses’, influenza virus ne virus endala ezireeta kissennyigassennyiga ekisobola okuleetera omuntu obutassa bulungi naye nga si kibi nnyo ng’abamu bwe bakirowooza.Okusinziira ku katabo ka Nature Journal akoogera ku ssaayansi n’endwadde, waliwo lipoota enzijuvu Abachina gye baafulumirizza ekitongole kya WHO mu October nga boogera ku bulwadde buno.Bagamba nti businze kuva ku kawuka akayitibwa Mycoplasma pneumonia ng’ako kawuka akakwata amawuggwe era bamaze ebbanga nga batoba nako kyokka ne bagumya ensi nti teyeetaaga kutya. Munnassaayansi Benjamin Cowling owa University of Hong Kong mu China agamba nti teyewuunya mbeera ya bulwadde buno kubanga mu bunnyogovu nga bwe balimu essaawa eno, ssenyiga n’ekifuba bwebityo byangu okukwata abantu naye ebbugumu bwe lijja ne biggwaawo.
ENSI ezzeemu ekyekango ekirala eky’ekirwadde ekifaanana ssennyiga wa Covid-19, ng’ono naye ssennyiga na kifuba ebiruma mu ngeri ey’amaanyi etamanyi biri ebyasooka.
Ekyewuunyisa ate ekitongole ky’amawanga amagatte eky’ebyobulamu ekya, World Health Organization (WHO) kigamba nti obulwadde buno nabwo butandikidde China nga bwe kiteeberezebwa ne ku Covid eyaakatta obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi.
Obulwadde buno okusinziira ku WHO, buziyiza omuntu okussa n’atandika kuziyira ng’akolola alaakiira. Omuntu akwatiddwa obulwadde obupya, omulabira mu kussa bubi kyokka nga tewali kwe kiva ate tekikoma awo, alaakiira n’akolola ebitaggwa ate nga tewali kivaayo.
Ne bw’agenda mu ddwaaliro abasawo baba tebalina kye balaba era okunoonyereza kulaga nti ayinza n’obuteetaaga ddagala n’awona yekka kyokka obutawona nakyo kyangu.
Ekitongole kya WHO okulangiriza bino kyavudde ku bannassaayansi abaabadde bateesa mu pulogulaamu y’ebyobulamu emanyiddwa nga Monitoring emerging diseases olwo ab’ekibiina kya International Society for Infectious Diseases abalondoola endwadde ezisaasaana amangu mu bantu ne babikumamu omuliro okunoonyereza ne kutandika.
Baasoose kwekengera China era ne kizuulwa nti mu bitundu ebimu naddala eby’omu mambuka g’eggwanga eryo omuli n’ekibuga Beijing, waliyo obulwadde obwabaluseewo obwefaananyiriza ‘pneumonia’ kyokka ng’essaawa eno businze kukwata baana abagenze babusiiga bazadde baabwe.
Aba WHO baafulumizza okunoonyereza kwayo nga bagamba nti China yabategeezezza nti, okuva lwe baggyawo omuggalo olwa Covid okukendeera, beesanga nga waliwo endwadde endala ezivudde mu bungi bw’abantu okuddamu okubeera awamu ate ng’obulwadde obwo bwali tebunnaggweerawo ddala.
China egamba nti obulwadde ensi yonna bw’enoonyerezaako babumanyi era ewaabwe babulina kyokka si be baabukola mu bugenderevu nga bwe kibateekebwako ku Covid.
Obulwadde buno baategeezezza nti bwefaanaanyiriza obuwuka bwa ‘adenoviruses’, influenza virus ne virus endala ezireeta kissennyigassennyiga ekisobola okuleetera omuntu obutassa bulungi naye nga si kibi nnyo ng’abamu bwe bakirowooza.
Okusinziira ku katabo ka Nature Journal akoogera ku ssaayansi n’endwadde, waliwo lipoota enzijuvu Abachina gye baafulumirizza ekitongole kya WHO mu October nga boogera ku bulwadde buno.
Bagamba nti businze kuva ku kawuka akayitibwa Mycoplasma pneumonia ng’ako kawuka akakwata amawuggwe era bamaze ebbanga nga batoba nako kyokka ne bagumya ensi nti teyeetaaga kutya. Munnassaayansi Benjamin Cowling owa University of Hong Kong mu China agamba nti teyewuunya mbeera ya bulwadde buno kubanga mu bunnyogovu nga bwe balimu essaawa eno, ssenyiga n’ekifuba bwebityo byangu okukwata abantu naye ebbugumu bwe lijja ne biggwaawo.
OKUNOONYEREZA kulaze nti akawuka ka siriimu keeyongedde okwegiriisa mu baana abawala, ekifuuse omuziziko ogw’amaanyi mu lutalo lw’okukalwanyisa.
Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku siriimu mu ggwanga ekya Uganda Aids Commission ey’omwaka 2022, eraga nti ku bantu bataano abakwatibwa akawuka, abana baba bawala abali wakati w’emyaka 15 ne 24.
Ku bantu 20,000 abaasangibwa n’akawuka nga bali wakati w’emyaka 15 ne 24, abantu15,000 baali bawala. Ebibalo bino byongedde okutiisa abakulembeddemu eddimu ly’okulwanyisa siriimu, kubanga abawala bano balina emikisa mingi egy’okusaasaanya akawuka ku bantu abalala, olw’obutafuna kubuulirirwa ku ngeri gye balina okwekuumamu baleme kusiiga balala.
Eggulo eggwanga lyakuzizza olunaku lw’okwefumiitiriza ku siriimu, ng’emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Rakai, siriimu gye yasinga okwegiriisiza mu myaka gye 1980 ne 90. Lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti; Abantu bakulemberemu olutabaalo.
Okusinziira ku mulamwa guno, abantu nga basinziira mu bitundu byabwe balina okusoosoowazibwa mu nteekateeka zonna ezigendereddwaamu okunafuya n’okumalawo siriimu mu ggwanga.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, yagambye nti abawala abasinze okukosebwa, beebo abaawanduka mu masomero, nga wakati mu kunoonya eky’okulya, beesanga beetabye mu bikolwa by’okwegatta n’abasajja ab’enjawulo, ekibaviirako okufuna obulwadde.
Ekizibu ekinene ekirala, Musooba agamba nti abawala bano bazibuwalirwa okufuna obujjanjabi n’okubuulirirwa mu budde, ku ngeri gye balina okwerabiriramu n’okwekuuma obutasiiga bantu balala, olw’okusosolebwa kwe bayitamu ne batya okuvaayo okwekebeza.
Gye biggweera, nga bongedde okusiiga abantu abalala be beegatta nabo mu by’omukwano, ekikalubya olutalo lw’okumalawo siriimu.
Ebibuga okuli Mbarara ne Fortportal okunoonyereza kulaga nga bye bisingamu abawala abakwatibwa siriimu. Ate ebitundu by’e Karamoja ne West Nile byo
Nnaalongo Monica Nankwanga e Mutungo; Gavumenti esooke ezuule ensonga ez’enjawulo ezivaako abantu okuttihhana era bateekewo ebibonerezo ebikakali ku muntu gwe bazuula ng’asse munne.
Steven Lugemwa Kabowa; Tusabe Mukama atutaase naye obutemu bususse. Abantu batwalira obulamu mu ngalo, etteeka lya tottanga abantu baalyerabira dda y’ensonga lwaki tebakyatya.
Barbra Nabukeera, Kibuli; Abantu tebakyewa kitiibwa , obukambwe bwasukka. Kyetaaga tunyiikire okukoowoola Katonda atutaase kuba ebikolwa by’ettemu byeyongera buli kaseera.
Robert Kakaire, Wabigalo; Ekikulu abantu ennaku zino basusse okutwalira amateeka mu ngalo. Nze njagala ebintu ebyo bigende mu kkooti bakole okunoonyereza okutuufu era kkooti esale n’ekibonerezo ekisaanidde.
|
Siriimu yeeriisa nkuuli mu baana abawala
|
OKUNOONYEREZA kulaze nti akawuka ka siriimu keeyongedde okwegiriisa mu baana abawala, ekifuuse omuziziko ogw’amaanyi mu lutalo lw’okukalwanyisa.Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku siriimu mu ggwanga ekya Uganda Aids Commission ey’omwaka 2022, eraga nti ku bantu bataano abakwatibwa akawuka, abana baba bawala abali wakati w’emyaka 15 ne 24.Ku bantu 20,000 abaasangibwa n’akawuka nga bali wakati w’emyaka 15 ne 24, abantu15,000 baali bawala. Ebibalo bino byongedde okutiisa abakulembeddemu eddimu ly’okulwanyisa siriimu, kubanga abawala bano balina emikisa mingi egy’okusaasaanya akawuka ku bantu abalala, olw’obutafuna kubuulirirwa ku ngeri gye balina okwekuumamu baleme kusiiga balala.Eggulo eggwanga lyakuzizza olunaku lw’okwefumiitiriza ku siriimu, ng’emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Rakai, siriimu gye yasinga okwegiriisiza mu myaka gye 1980 ne 90. Lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti; Abantu bakulemberemu olutabaalo.Okusinziira ku mulamwa guno, abantu nga basinziira mu bitundu byabwe balina okusoosoowazibwa mu nteekateeka zonna ezigendereddwaamu okunafuya n’okumalawo siriimu mu ggwanga.Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, yagambye nti abawala abasinze okukosebwa, beebo abaawanduka mu masomero, nga wakati mu kunoonya eky’okulya, beesanga beetabye mu bikolwa by’okwegatta n’abasajja ab’enjawulo, ekibaviirako okufuna obulwadde.Ekizibu ekinene ekirala, Musooba agamba nti abawala bano bazibuwalirwa okufuna obujjanjabi n’okubuulirirwa mu budde, ku ngeri gye balina okwerabiriramu n’okwekuuma obutasiiga bantu balala, olw’okusosolebwa kwe bayitamu ne batya okuvaayo okwekebeza.Gye biggweera, nga bongedde okusiiga abantu abalala be beegatta nabo mu by’omukwano, ekikalubya olutalo lw’okumalawo siriimu.Ebibuga okuli Mbarara ne Fortportal okunoonyereza kulaga nga bye bisingamu abawala abakwatibwa siriimu. Ate ebitundu by’e Karamoja ne West Nile byo
ENSI ezzeemu ekyekango ekirala eky’ekirwadde ekifaanana ssennyiga wa Covid-19, ng’ono naye ssennyiga na kifuba ebiruma mu ngeri ey’amaanyi etamanyi biri ebyasooka.
Ekyewuunyisa ate ekitongole ky’amawanga amagatte eky’ebyobulamu ekya, World Health Organization (WHO) kigamba nti obulwadde buno nabwo butandikidde China nga bwe kiteeberezebwa ne ku Covid eyaakatta obukadde n’obukadde bw’abantu mu nsi.
Obulwadde buno okusinziira ku WHO, buziyiza omuntu okussa n’atandika kuziyira ng’akolola alaakiira. Omuntu akwatiddwa obulwadde obupya, omulabira mu kussa bubi kyokka nga tewali kwe kiva ate tekikoma awo, alaakiira n’akolola ebitaggwa ate nga tewali kivaayo.
Ne bw’agenda mu ddwaaliro abasawo baba tebalina kye balaba era okunoonyereza kulaga nti ayinza n’obuteetaaga ddagala n’awona yekka kyokka obutawona nakyo kyangu.
Ekitongole kya WHO okulangiriza bino kyavudde ku bannassaayansi abaabadde bateesa mu pulogulaamu y’ebyobulamu emanyiddwa nga Monitoring emerging diseases olwo ab’ekibiina kya International Society for Infectious Diseases abalondoola endwadde ezisaasaana amangu mu bantu ne babikumamu omuliro okunoonyereza ne kutandika.
Baasoose kwekengera China era ne kizuulwa nti mu bitundu ebimu naddala eby’omu mambuka g’eggwanga eryo omuli n’ekibuga Beijing, waliyo obulwadde obwabaluseewo obwefaananyiriza ‘pneumonia’ kyokka ng’essaawa eno businze kukwata baana abagenze babusiiga bazadde baabwe.
Aba WHO baafulumizza okunoonyereza kwayo nga bagamba nti China yabategeezezza nti, okuva lwe baggyawo omuggalo olwa Covid okukendeera, beesanga nga waliwo endwadde endala ezivudde mu bungi bw’abantu okuddamu okubeera awamu ate ng’obulwadde obwo bwali tebunnaggweerawo ddala.
China egamba nti obulwadde ensi yonna bw’enoonyerezaako babumanyi era ewaabwe babulina kyokka si be baabukola mu bugenderevu nga bwe kibateekebwako ku Covid.
Obulwadde buno baategeezezza nti bwefaanaanyiriza obuwuka bwa ‘adenoviruses’, influenza virus ne virus endala ezireeta kissennyigassennyiga ekisobola okuleetera omuntu obutassa bulungi naye nga si kibi nnyo ng’abamu bwe bakirowooza.
Okusinziira ku katabo ka Nature Journal akoogera ku ssaayansi n’endwadde, waliwo lipoota enzijuvu Abachina gye baafulumirizza ekitongole kya WHO mu October nga boogera ku bulwadde buno.
Bagamba nti businze kuva ku kawuka akayitibwa Mycoplasma pneumonia ng’ako kawuka akakwata amawuggwe era bamaze ebbanga nga batoba nako kyokka ne bagumya ensi nti teyeetaaga kutya. Munnassaayansi Benjamin Cowling owa University of Hong Kong mu China agamba nti teyewuunya mbeera ya bulwadde buno kubanga mu bunnyogovu nga bwe balimu essaawa eno, ssenyiga n’ekifuba bwebityo byangu okukwata abantu naye ebbugumu bwe lijja ne biggwaawo.
OKUNOONYEREZA kulaze nti akawuka ka siriimu keeyongedde okwegiriisa mu baana abawala, ekifuuse omuziziko ogw’amaanyi mu lutalo lw’okukalwanyisa.
Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku siriimu mu ggwanga ekya Uganda Aids Commission ey’omwaka 2022, eraga nti ku bantu bataano abakwatibwa akawuka, abana baba bawala abali wakati w’emyaka 15 ne 24.
Ku bantu 20,000 abaasangibwa n’akawuka nga bali wakati w’emyaka 15 ne 24, abantu15,000 baali bawala. Ebibalo bino byongedde okutiisa abakulembeddemu eddimu ly’okulwanyisa siriimu, kubanga abawala bano balina emikisa mingi egy’okusaasaanya akawuka ku bantu abalala, olw’obutafuna kubuulirirwa ku ngeri gye balina okwekuumamu baleme kusiiga balala.
Eggulo eggwanga lyakuzizza olunaku lw’okwefumiitiriza ku siriimu, ng’emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Rakai, siriimu gye yasinga okwegiriisiza mu myaka gye 1980 ne 90. Lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti; Abantu bakulemberemu olutabaalo.
Okusinziira ku mulamwa guno, abantu nga basinziira mu bitundu byabwe balina okusoosoowazibwa mu nteekateeka zonna ezigendereddwaamu okunafuya n’okumalawo siriimu mu ggwanga.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, yagambye nti abawala abasinze okukosebwa, beebo abaawanduka mu masomero, nga wakati mu kunoonya eky’okulya, beesanga beetabye mu bikolwa by’okwegatta n’abasajja ab’enjawulo, ekibaviirako okufuna obulwadde.
Ekizibu ekinene ekirala, Musooba agamba nti abawala bano bazibuwalirwa okufuna obujjanjabi n’okubuulirirwa mu budde, ku ngeri gye balina okwerabiriramu n’okwekuuma obutasiiga bantu balala, olw’okusosolebwa kwe bayitamu ne batya okuvaayo okwekebeza.
Gye biggweera, nga bongedde okusiiga abantu abalala be beegatta nabo mu by’omukwano, ekikalubya olutalo lw’okumalawo siriimu.
Ebibuga okuli Mbarara ne Fortportal okunoonyereza kulaga nga bye bisingamu abawala abakwatibwa siriimu. Ate ebitundu by’e Karamoja ne West Nile byo
ABANTU basatu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukukusa abantu nga babatwala mu mawanga g’Abawarabu okubafuula abaddu ekikontana n’amateeka agafuga eggwanga.
Annet Namakula 47, omutuuze ku kyalo Ttula - Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala, Elly Bilali Malisa 25, omutuuze w’e Mbuya Zzooni IV mu divizoni y’e Nakawa ne Apostal John Malisa omutuuze w’e Mbuya Zzooni ll mu divizoni y’e Nakawa mu Kampala be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi n’abasomera emisango 18 egyekuusa ku kukukusa abantu.
Emisango emirala kuliko ogw’okubeera n’ekitongole ekifunira abantu emirimu wabweru w’eggwanga mu bumenyi bw’amateeka wamu n’ogwokuddukanya ekitongole ekitwala abantu ebweru w’eggwanga nga tebalina layisinsi.
Kigambibwa nti mu 2020, abasatu bano baakukusa abantu 10 okuva ku kisaawe e Ntebe ne babatwala e Dubai n’e Turkey okukola obuddu.
Emisango gyonna baagyegaanyi omulamuzi n’abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 13, 2023 lwe banaddizibwa mu kkooti.
|
Bavunaaniddwa kutwala bantu okukola obuddu
|
ABANTU basatu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukukusa abantu nga babatwala mu mawanga g’Abawarabu okubafuula abaddu ekikontana n’amateeka agafuga eggwanga.Annet Namakula 47, omutuuze ku kyalo Ttula - Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala, Elly Bilali Malisa 25, omutuuze w’e Mbuya Zzooni IV mu divizoni y’e Nakawa ne Apostal John Malisa omutuuze w’e Mbuya Zzooni ll mu divizoni y’e Nakawa mu Kampala be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi n’abasomera emisango 18 egyekuusa ku kukukusa abantu.Emisango emirala kuliko ogw’okubeera n’ekitongole ekifunira abantu emirimu wabweru w’eggwanga mu bumenyi bw’amateeka wamu n’ogwokuddukanya ekitongole ekitwala abantu ebweru w’eggwanga nga tebalina layisinsi.Kigambibwa nti mu 2020, abasatu bano baakukusa abantu 10 okuva ku kisaawe e Ntebe ne babatwala e Dubai n’e Turkey okukola obuddu.Emisango gyonna baagyegaanyi omulamuzi n’abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 13, 2023 lwe banaddizibwa mu kkooti.
ABATTAKISI mu ppaaka y’e Mpereerwe, Namere – Kiteezi batabuse n’omugagga gwe baapangisaako ppaaka mwe bakolera ne beekalakaasa ekiwalirizza omubaka wa Pulezidenti okuyingira mu lutalo n’awa ebiragiro ku buli ludda.
Olutalo lwavudde ku ssente 320,000/- ze bakuhhaanya buli lunaku ne basasula omugagga nga mu nnaku 30 babadde bamusasula obukadde mwenda n’emitwalo 60 ( 9,600,000/-), ze bagamba nti zibayinze nga baagala abasalireko waakiri basasule 200,000/-, buli lunaku ng’omwezi bamuwa obukadde mukaaga (6,000,000/-).
Abattakisi baasoose kwekalakaasa ne bagaana okutikka abasaabaze era omubaka wa Pulezidenti atwala Kawempe, Yasin Ndidde yayitiddwa ne batuula mu lukiiko nga lwetabiddwaamu ne nnannyini ppaaka eno, Ken Kigongo Nakabaale.
Olukiiko lwabaddemu ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi, omumyuka we, Mustafa Mayambala, atwala ebikwekweto Khalid Bbaale, abakulembeze b’ekyalo abaakiikiriddwa Kassim Male, aba KCCA, omumyuka wa Mmeeya wa Kawempe, Badru Bakojja n’abalala.
Aba ttakisi baasoose kulumiriza nti basasula buli kimu omuli ebyokwerinda, obuyonjo, amazzi, amasannyalaze ne kalonda yenna kyokka omugagga n’ababinika ssente ennyingi.
Nnannyini ppaaka, Kigongo yagambye nti yeewuunyizza abattakisi okwerabira nti naye ettaka kwe yagiteeka yagula ggule ng’ekigendererwa kye kya kufuna ssente.
Yategeezezza nti abattakisi abamu balina effujjo ate ekifo abamu bakifudde kya kunyweramu mwenge ate buli kiseera bakyusa abakulembeze nga talina wa nkalakkalira gw’akolagana naye ate ababanja ssente nnyingi.
Oluvannyuma RCC Ndidde yawadde ebiragiro nti ppaaka eteekwa okubeerawo, tebakoleramu ffujjo n’agamba nti ekya ssente baakukisalawo ku Lwokubiri.
Ssekindi yategeezezza nti bagenda kutegeka okulonda amangu ddala batereeze obukulembeze bwa ppaaka eno.
OKUNOONYEREZA kulaze nti akawuka ka siriimu keeyongedde okwegiriisa mu baana abawala, ekifuuse omuziziko ogw’amaanyi mu lutalo lw’okukalwanyisa.
Lipooti y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku siriimu mu ggwanga ekya Uganda Aids Commission ey’omwaka 2022, eraga nti ku bantu bataano abakwatibwa akawuka, abana baba bawala abali wakati w’emyaka 15 ne 24.
Ku bantu 20,000 abaasangibwa n’akawuka nga bali wakati w’emyaka 15 ne 24, abantu15,000 baali bawala. Ebibalo bino byongedde okutiisa abakulembeddemu eddimu ly’okulwanyisa siriimu, kubanga abawala bano balina emikisa mingi egy’okusaasaanya akawuka ku bantu abalala, olw’obutafuna kubuulirirwa ku ngeri gye balina okwekuumamu baleme kusiiga balala.
Eggulo eggwanga lyakuzizza olunaku lw’okwefumiitiriza ku siriimu, ng’emikolo emikulu gyabadde mu disitulikiti y’e Rakai, siriimu gye yasinga okwegiriisiza mu myaka gye 1980 ne 90. Lwatambulidde ku mulamwa ogugamba nti; Abantu bakulemberemu olutabaalo.
Okusinziira ku mulamwa guno, abantu nga basinziira mu bitundu byabwe balina okusoosoowazibwa mu nteekateeka zonna ezigendereddwaamu okunafuya n’okumalawo siriimu mu ggwanga.
Dr. Nelson Musooba, akulira ekitongole kya Uganda Aids Commission, yagambye nti abawala abasinze okukosebwa, beebo abaawanduka mu masomero, nga wakati mu kunoonya eky’okulya, beesanga beetabye mu bikolwa by’okwegatta n’abasajja ab’enjawulo, ekibaviirako okufuna obulwadde.
Ekizibu ekinene ekirala, Musooba agamba nti abawala bano bazibuwalirwa okufuna obujjanjabi n’okubuulirirwa mu budde, ku ngeri gye balina okwerabiriramu n’okwekuuma obutasiiga bantu balala, olw’okusosolebwa kwe bayitamu ne batya okuvaayo okwekebeza.
Gye biggweera, nga bongedde okusiiga abantu abalala be beegatta nabo mu by’omukwano, ekikalubya olutalo lw’okumalawo siriimu.
Ebibuga okuli Mbarara ne Fortportal okunoonyereza kulaga nga bye bisingamu abawala abakwatibwa siriimu. Ate ebitundu by’e Karamoja ne West Nile byo
ABANTU basatu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukukusa abantu nga babatwala mu mawanga g’Abawarabu okubafuula abaddu ekikontana n’amateeka agafuga eggwanga.
Annet Namakula 47, omutuuze ku kyalo Ttula - Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala, Elly Bilali Malisa 25, omutuuze w’e Mbuya Zzooni IV mu divizoni y’e Nakawa ne Apostal John Malisa omutuuze w’e Mbuya Zzooni ll mu divizoni y’e Nakawa mu Kampala be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi n’abasomera emisango 18 egyekuusa ku kukukusa abantu.
Emisango emirala kuliko ogw’okubeera n’ekitongole ekifunira abantu emirimu wabweru w’eggwanga mu bumenyi bw’amateeka wamu n’ogwokuddukanya ekitongole ekitwala abantu ebweru w’eggwanga nga tebalina layisinsi.
Kigambibwa nti mu 2020, abasatu bano baakukusa abantu 10 okuva ku kisaawe e Ntebe ne babatwala e Dubai n’e Turkey okukola obuddu.
Emisango gyonna baagyegaanyi omulamuzi n’abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 13, 2023 lwe banaddizibwa mu kkooti.
|
Ssente zitabudde aba ttakisi ne nnannyini ppaaka
|
ABATTAKISI mu ppaaka y’e Mpereerwe, Namere – Kiteezi batabuse n’omugagga gwe baapangisaako ppaaka mwe bakolera ne beekalakaasa ekiwalirizza omubaka wa Pulezidenti okuyingira mu lutalo n’awa ebiragiro ku buli ludda.Olutalo lwavudde ku ssente 320,000/- ze bakuhhaanya buli lunaku ne basasula omugagga nga mu nnaku 30 babadde bamusasula obukadde mwenda n’emitwalo 60 ( 9,600,000/-), ze bagamba nti zibayinze nga baagala abasalireko waakiri basasule 200,000/-, buli lunaku ng’omwezi bamuwa obukadde mukaaga (6,000,000/-).Abattakisi baasoose kwekalakaasa ne bagaana okutikka abasaabaze era omubaka wa Pulezidenti atwala Kawempe, Yasin Ndidde yayitiddwa ne batuula mu lukiiko nga lwetabiddwaamu ne nnannyini ppaaka eno, Ken Kigongo Nakabaale.Olukiiko lwabaddemu ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi, omumyuka we, Mustafa Mayambala, atwala ebikwekweto Khalid Bbaale, abakulembeze b’ekyalo abaakiikiriddwa Kassim Male, aba KCCA, omumyuka wa Mmeeya wa Kawempe, Badru Bakojja n’abalala.Aba ttakisi baasoose kulumiriza nti basasula buli kimu omuli ebyokwerinda, obuyonjo, amazzi, amasannyalaze ne kalonda yenna kyokka omugagga n’ababinika ssente ennyingi.Nnannyini ppaaka, Kigongo yagambye nti yeewuunyizza abattakisi okwerabira nti naye ettaka kwe yagiteeka yagula ggule ng’ekigendererwa kye kya kufuna ssente.Yategeezezza nti abattakisi abamu balina effujjo ate ekifo abamu bakifudde kya kunyweramu mwenge ate buli kiseera bakyusa abakulembeze nga talina wa nkalakkalira gw’akolagana naye ate ababanja ssente nnyingi.Oluvannyuma RCC Ndidde yawadde ebiragiro nti ppaaka eteekwa okubeerawo, tebakoleramu ffujjo n’agamba nti ekya ssente baakukisalawo ku Lwokubiri.Ssekindi yategeezezza nti bagenda kutegeka okulonda amangu ddala batereeze obukulembeze bwa ppaaka eno.
ABATTAKISI mu ppaaka y’e Mpereerwe, Namere – Kiteezi batabuse n’omugagga gwe baapangisaako ppaaka mwe bakolera ne beekalakaasa ekiwalirizza omubaka wa Pulezidenti okuyingira mu lutalo n’awa ebiragiro ku buli ludda.
Olutalo lwavudde ku ssente 320,000/- ze bakuhhaanya buli lunaku ne basasula omugagga nga mu nnaku 30 babadde bamusasula obukadde mwenda n’emitwalo 60 ( 9,600,000/-), ze bagamba nti zibayinze nga baagala abasalireko waakiri basasule 200,000/-, buli lunaku ng’omwezi bamuwa obukadde mukaaga (6,000,000/-).
Abattakisi baasoose kwekalakaasa ne bagaana okutikka abasaabaze era omubaka wa Pulezidenti atwala Kawempe, Yasin Ndidde yayitiddwa ne batuula mu lukiiko nga lwetabiddwaamu ne nnannyini ppaaka eno, Ken Kigongo Nakabaale.
Olukiiko lwabaddemu ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi, omumyuka we, Mustafa Mayambala, atwala ebikwekweto Khalid Bbaale, abakulembeze b’ekyalo abaakiikiriddwa Kassim Male, aba KCCA, omumyuka wa Mmeeya wa Kawempe, Badru Bakojja n’abalala.
Aba ttakisi baasoose kulumiriza nti basasula buli kimu omuli ebyokwerinda, obuyonjo, amazzi, amasannyalaze ne kalonda yenna kyokka omugagga n’ababinika ssente ennyingi.
Nnannyini ppaaka, Kigongo yagambye nti yeewuunyizza abattakisi okwerabira nti naye ettaka kwe yagiteeka yagula ggule ng’ekigendererwa kye kya kufuna ssente.
Yategeezezza nti abattakisi abamu balina effujjo ate ekifo abamu bakifudde kya kunyweramu mwenge ate buli kiseera bakyusa abakulembeze nga talina wa nkalakkalira gw’akolagana naye ate ababanja ssente nnyingi.
Oluvannyuma RCC Ndidde yawadde ebiragiro nti ppaaka eteekwa okubeerawo, tebakoleramu ffujjo n’agamba nti ekya ssente baakukisalawo ku Lwokubiri.
Ssekindi yategeezezza nti bagenda kutegeka okulonda amangu ddala batereeze obukulembeze bwa ppaaka eno.
Ediriisa Bwanika: Twagala nnannyini ttaka akkirize tusasule 200,000/-. Tetulina wadde ennusu. Embeera gye tulimu mbi nnyo nga twagala kuyambibwa naye tufa era tuli bubi tunyigirizibwa.
Sulait Mayanja: Twagala kutuyamba batukendeereze ku ssente ate tutereeze n’obukulembeze naye embeera etunyiga. Buli omu akimanyi nti embeera si nnyangu nga singa tetuyambibwa tetumanyi kyakukola.
Salim Nyonyintono: Tetukyasobola wadde okuweerera abaana ate nga tukola. Twagala kutuyambako bakendeeze ku ssente kubanga embeera mwe tukolera etunyiga. Omugagga atukamye nnyo ssente ne tuggwaamu.
ABANTU basatu basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukukusa abantu nga babatwala mu mawanga g’Abawarabu okubafuula abaddu ekikontana n’amateeka agafuga eggwanga.
Annet Namakula 47, omutuuze ku kyalo Ttula - Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala, Elly Bilali Malisa 25, omutuuze w’e Mbuya Zzooni IV mu divizoni y’e Nakawa ne Apostal John Malisa omutuuze w’e Mbuya Zzooni ll mu divizoni y’e Nakawa mu Kampala be baasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi n’abasomera emisango 18 egyekuusa ku kukukusa abantu.
Emisango emirala kuliko ogw’okubeera n’ekitongole ekifunira abantu emirimu wabweru w’eggwanga mu bumenyi bw’amateeka wamu n’ogwokuddukanya ekitongole ekitwala abantu ebweru w’eggwanga nga tebalina layisinsi.
Kigambibwa nti mu 2020, abasatu bano baakukusa abantu 10 okuva ku kisaawe e Ntebe ne babatwala e Dubai n’e Turkey okukola obuddu.
Emisango gyonna baagyegaanyi omulamuzi n’abasindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga December 13, 2023 lwe banaddizibwa mu kkooti.
|
Abantu bye boogera
|
Ediriisa Bwanika: Twagala nnannyini ttaka akkirize tusasule 200,000/-. Tetulina wadde ennusu. Embeera gye tulimu mbi nnyo nga twagala kuyambibwa naye tufa era tuli bubi tunyigirizibwa.Sulait Mayanja: Twagala kutuyamba batukendeereze ku ssente ate tutereeze n’obukulembeze naye embeera etunyiga. Buli omu akimanyi nti embeera si nnyangu nga singa tetuyambibwa tetumanyi kyakukola.Salim Nyonyintono: Tetukyasobola wadde okuweerera abaana ate nga tukola. Twagala kutuyambako bakendeeze ku ssente kubanga embeera mwe tukolera etunyiga. Omugagga atukamye nnyo ssente ne tuggwaamu.
ABATTAKISI mu ppaaka y’e Mpereerwe, Namere – Kiteezi batabuse n’omugagga gwe baapangisaako ppaaka mwe bakolera ne beekalakaasa ekiwalirizza omubaka wa Pulezidenti okuyingira mu lutalo n’awa ebiragiro ku buli ludda.
Olutalo lwavudde ku ssente 320,000/- ze bakuhhaanya buli lunaku ne basasula omugagga nga mu nnaku 30 babadde bamusasula obukadde mwenda n’emitwalo 60 ( 9,600,000/-), ze bagamba nti zibayinze nga baagala abasalireko waakiri basasule 200,000/-, buli lunaku ng’omwezi bamuwa obukadde mukaaga (6,000,000/-).
Abattakisi baasoose kwekalakaasa ne bagaana okutikka abasaabaze era omubaka wa Pulezidenti atwala Kawempe, Yasin Ndidde yayitiddwa ne batuula mu lukiiko nga lwetabiddwaamu ne nnannyini ppaaka eno, Ken Kigongo Nakabaale.
Olukiiko lwabaddemu ssentebe wa UTOF, Rashid Ssekindi, omumyuka we, Mustafa Mayambala, atwala ebikwekweto Khalid Bbaale, abakulembeze b’ekyalo abaakiikiriddwa Kassim Male, aba KCCA, omumyuka wa Mmeeya wa Kawempe, Badru Bakojja n’abalala.
Aba ttakisi baasoose kulumiriza nti basasula buli kimu omuli ebyokwerinda, obuyonjo, amazzi, amasannyalaze ne kalonda yenna kyokka omugagga n’ababinika ssente ennyingi.
Nnannyini ppaaka, Kigongo yagambye nti yeewuunyizza abattakisi okwerabira nti naye ettaka kwe yagiteeka yagula ggule ng’ekigendererwa kye kya kufuna ssente.
Yategeezezza nti abattakisi abamu balina effujjo ate ekifo abamu bakifudde kya kunyweramu mwenge ate buli kiseera bakyusa abakulembeze nga talina wa nkalakkalira gw’akolagana naye ate ababanja ssente nnyingi.
Oluvannyuma RCC Ndidde yawadde ebiragiro nti ppaaka eteekwa okubeerawo, tebakoleramu ffujjo n’agamba nti ekya ssente baakukisalawo ku Lwokubiri.
Ssekindi yategeezezza nti bagenda kutegeka okulonda amangu ddala batereeze obukulembeze bwa ppaaka eno.
Ediriisa Bwanika: Twagala nnannyini ttaka akkirize tusasule 200,000/-. Tetulina wadde ennusu. Embeera gye tulimu mbi nnyo nga twagala kuyambibwa naye tufa era tuli bubi tunyigirizibwa.
Sulait Mayanja: Twagala kutuyamba batukendeereze ku ssente ate tutereeze n’obukulembeze naye embeera etunyiga. Buli omu akimanyi nti embeera si nnyangu nga singa tetuyambibwa tetumanyi kyakukola.
Salim Nyonyintono: Tetukyasobola wadde okuweerera abaana ate nga tukola. Twagala kutuyambako bakendeeze ku ssente kubanga embeera mwe tukolera etunyiga. Omugagga atukamye nnyo ssente ne tuggwaamu.
MANEJA wa kkampuni etwala abantu ku kyeyo eya Confab International General Trading akulukusizza amaziga mu kaguli ka kkooti e Mengo nga bamusomera emisango 116 wamune mukama we. Alumiriza mukama we okugula mmotoka (Benz) mu ssente ze yafuna okutwala abantu ku kyeyo.
Ian Ssebuliba, akola nga maneja wamu ne Kassim Ssekanjako, nnannyini kkampuni eno, be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n’abasomera emisango gy’okwekobaana ne baggya ku bantu obukadde obusoba mu 500 nga babasuubizza okubatwala okunoga ssente ne kibalema. Kigambibwa nti, Ssekanjako ne Ssebuliba wakati wa October 2022 ne July 2023 e Nateete mu Lubaga, beekobaana ne bafuna ssente okuva ku bantu ab’enjawulo nga babasuubizza okubatwala e Kuwait ne batakikola.
Okusinziira ku ludda oluwaabi kigambibwa nti, bano baafuna 6,100,000/- okuva ku Milton Marahi, Ayub Geri, 6,200,000/-, Ismail Semuyaba 6,000,000/-, Jesca Nyamayizi 5,500,000/-, Assadu Ssebuwufu 3,420,000/-, Noor Nansinkombi 4,000,000/-, Joseph Ssebandeke 5,230,000/-, Abdu Ntege 5,850,000/- n’abalala abasoba mu 100 abaaloopye omusango oguli ku ffayiro nnamba CRB; 681/2023.
Bakira buli musango gwe basoma nga Ssebuliba akiikira mukama we ensingo nga bw’amutegeeza, ‘Naye anko Sseeka okakasa ssente z’abaana tozimanyi, tojjukira ne lwe nakugamba nti opapye okugula Benz nga tonnatwala baana bweru nze ssaagala kunsiba ku bintu bye simanyi” nga Ssekanjako akanya kwegaana. Ssebuliba yakaabye n’asaba omulamuzi okuyimbulwa nga buteerere era bonna n’abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga December 13.
|
Bavunaaniddwa emisango 116
|
MANEJA wa kkampuni etwala abantu ku kyeyo eya Confab International General Trading akulukusizza amaziga mu kaguli ka kkooti e Mengo nga bamusomera emisango 116 wamune mukama we. Alumiriza mukama we okugula mmotoka (Benz) mu ssente ze yafuna okutwala abantu ku kyeyo.Ian Ssebuliba, akola nga maneja wamu ne Kassim Ssekanjako, nnannyini kkampuni eno, be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n’abasomera emisango gy’okwekobaana ne baggya ku bantu obukadde obusoba mu 500 nga babasuubizza okubatwala okunoga ssente ne kibalema. Kigambibwa nti, Ssekanjako ne Ssebuliba wakati wa October 2022 ne July 2023 e Nateete mu Lubaga, beekobaana ne bafuna ssente okuva ku bantu ab’enjawulo nga babasuubizza okubatwala e Kuwait ne batakikola.Okusinziira ku ludda oluwaabi kigambibwa nti, bano baafuna 6,100,000/- okuva ku Milton Marahi, Ayub Geri, 6,200,000/-, Ismail Semuyaba 6,000,000/-, Jesca Nyamayizi 5,500,000/-, Assadu Ssebuwufu 3,420,000/-, Noor Nansinkombi 4,000,000/-, Joseph Ssebandeke 5,230,000/-, Abdu Ntege 5,850,000/- n’abalala abasoba mu 100 abaaloopye omusango oguli ku ffayiro nnamba CRB; 681/2023.Bakira buli musango gwe basoma nga Ssebuliba akiikira mukama we ensingo nga bw’amutegeeza, ‘Naye anko Sseeka okakasa ssente z’abaana tozimanyi, tojjukira ne lwe nakugamba nti opapye okugula Benz nga tonnatwala baana bweru nze ssaagala kunsiba ku bintu bye simanyi” nga Ssekanjako akanya kwegaana. Ssebuliba yakaabye n’asaba omulamuzi okuyimbulwa nga buteerere era bonna n’abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga December 13.
OKUKOLA oluguudo lwa Kira, Kasangati, Nangabo, Matugga, kuli mu ggiya, abaasasulwa we lulina okuyisibwa bali mu kumenya bizimbe kisoboozese omulimu okutambula obulungi.
Omulimu guno gwatongozebwa Pulezideti Museveni mu 2021 bwe yali anoonya akalulu ng’omukolo gwali Kira. Ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyasasula bannannyini bifo gye lugenda okuyisibwa. Mu bitundu omuli entobazzi wassiddwaawo essira okuviira ddala e Kira okutuuka e Kasangati.
Mu kiseera kino, omulimu gutuusiddwa e Kasangati okuviira ddala ku luguudo oludda e Matugga era abatuuze abaasasulwa bali mu kumenya ebizimbe ebyabalirirwa kisobozese okulugaziya obulungi.
Ssentebe wa Zzooni ya Buyinja-Kasangati, Moses Sseryaazi nga ku ludda lwa Zzooni eno gye lwasinga okulya yagambye nti kino kituukiddwaako oluvannyuma lw’abatuuze abagenda okosebwa okusisinkana n’aba UNRA abaasasulwa ne baweebwa emyezi esatu okuba nga bavuddewo n’okuggyawo ebyabwe byonna. Mu kiseera kino ng’abamenya bakyamenya, amakanda gassiddwa nnyo ku myala okuva e Kasangati okutuukira ddala e Matugga naddala egy’omu ntobazzi.
Ediriisa Bwanika: Twagala nnannyini ttaka akkirize tusasule 200,000/-. Tetulina wadde ennusu. Embeera gye tulimu mbi nnyo nga twagala kuyambibwa naye tufa era tuli bubi tunyigirizibwa.
Sulait Mayanja: Twagala kutuyamba batukendeereze ku ssente ate tutereeze n’obukulembeze naye embeera etunyiga. Buli omu akimanyi nti embeera si nnyangu nga singa tetuyambibwa tetumanyi kyakukola.
Salim Nyonyintono: Tetukyasobola wadde okuweerera abaana ate nga tukola. Twagala kutuyambako bakendeeze ku ssente kubanga embeera mwe tukolera etunyiga. Omugagga atukamye nnyo ssente ne tuggwaamu.
MANEJA wa kkampuni etwala abantu ku kyeyo eya Confab International General Trading akulukusizza amaziga mu kaguli ka kkooti e Mengo nga bamusomera emisango 116 wamune mukama we. Alumiriza mukama we okugula mmotoka (Benz) mu ssente ze yafuna okutwala abantu ku kyeyo.
Ian Ssebuliba, akola nga maneja wamu ne Kassim Ssekanjako, nnannyini kkampuni eno, be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n’abasomera emisango gy’okwekobaana ne baggya ku bantu obukadde obusoba mu 500 nga babasuubizza okubatwala okunoga ssente ne kibalema. Kigambibwa nti, Ssekanjako ne Ssebuliba wakati wa October 2022 ne July 2023 e Nateete mu Lubaga, beekobaana ne bafuna ssente okuva ku bantu ab’enjawulo nga babasuubizza okubatwala e Kuwait ne batakikola.
Okusinziira ku ludda oluwaabi kigambibwa nti, bano baafuna 6,100,000/- okuva ku Milton Marahi, Ayub Geri, 6,200,000/-, Ismail Semuyaba 6,000,000/-, Jesca Nyamayizi 5,500,000/-, Assadu Ssebuwufu 3,420,000/-, Noor Nansinkombi 4,000,000/-, Joseph Ssebandeke 5,230,000/-, Abdu Ntege 5,850,000/- n’abalala abasoba mu 100 abaaloopye omusango oguli ku ffayiro nnamba CRB; 681/2023.
Bakira buli musango gwe basoma nga Ssebuliba akiikira mukama we ensingo nga bw’amutegeeza, ‘Naye anko Sseeka okakasa ssente z’abaana tozimanyi, tojjukira ne lwe nakugamba nti opapye okugula Benz nga tonnatwala baana bweru nze ssaagala kunsiba ku bintu bye simanyi” nga Ssekanjako akanya kwegaana. Ssebuliba yakaabye n’asaba omulamuzi okuyimbulwa nga buteerere era bonna n’abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga December 13.
|
Okukola oluguudo lwa Kira-Kasangati kuli mu ggiya
|
OKUKOLA oluguudo lwa Kira, Kasangati, Nangabo, Matugga, kuli mu ggiya, abaasasulwa we lulina okuyisibwa bali mu kumenya bizimbe kisoboozese omulimu okutambula obulungi.Omulimu guno gwatongozebwa Pulezideti Museveni mu 2021 bwe yali anoonya akalulu ng’omukolo gwali Kira. Ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyasasula bannannyini bifo gye lugenda okuyisibwa. Mu bitundu omuli entobazzi wassiddwaawo essira okuviira ddala e Kira okutuuka e Kasangati.Mu kiseera kino, omulimu gutuusiddwa e Kasangati okuviira ddala ku luguudo oludda e Matugga era abatuuze abaasasulwa bali mu kumenya ebizimbe ebyabalirirwa kisobozese okulugaziya obulungi.Ssentebe wa Zzooni ya Buyinja-Kasangati, Moses Sseryaazi nga ku ludda lwa Zzooni eno gye lwasinga okulya yagambye nti kino kituukiddwaako oluvannyuma lw’abatuuze abagenda okosebwa okusisinkana n’aba UNRA abaasasulwa ne baweebwa emyezi esatu okuba nga bavuddewo n’okuggyawo ebyabwe byonna. Mu kiseera kino ng’abamenya bakyamenya, amakanda gassiddwa nnyo ku myala okuva e Kasangati okutuukira ddala e Matugga naddala egy’omu ntobazzi.
OKUKOLA oluguudo lwa Kira, Kasangati, Nangabo, Matugga, kuli mu ggiya, abaasasulwa we lulina okuyisibwa bali mu kumenya bizimbe kisoboozese omulimu okutambula obulungi.
Omulimu guno gwatongozebwa Pulezideti Museveni mu 2021 bwe yali anoonya akalulu ng’omukolo gwali Kira. Ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyasasula bannannyini bifo gye lugenda okuyisibwa. Mu bitundu omuli entobazzi wassiddwaawo essira okuviira ddala e Kira okutuuka e Kasangati.
Mu kiseera kino, omulimu gutuusiddwa e Kasangati okuviira ddala ku luguudo oludda e Matugga era abatuuze abaasasulwa bali mu kumenya ebizimbe ebyabalirirwa kisobozese okulugaziya obulungi.
Ssentebe wa Zzooni ya Buyinja-Kasangati, Moses Sseryaazi nga ku ludda lwa Zzooni eno gye lwasinga okulya yagambye nti kino kituukiddwaako oluvannyuma lw’abatuuze abagenda okosebwa okusisinkana n’aba UNRA abaasasulwa ne baweebwa emyezi esatu okuba nga bavuddewo n’okuggyawo ebyabwe byonna. Mu kiseera kino ng’abamenya bakyamenya, amakanda gassiddwa nnyo ku myala okuva e Kasangati okutuukira ddala e Matugga naddala egy’omu ntobazzi.
WADDE nga Sauna zirina emigaso ng’okutereeza ensusu, kyokka abakugu bagamba nti, omuntu bw’aziyitiriza ayinza okufuna obuzibu obuyinza n’okukuviirako okufa.
Mu nkola entuufu, omuntu yandibadde teyeetaaga kugenda mu sauna mirundi gisukka ebiri mu wiiki. Bw’aba agendayo nnyo waakiri tegisukka mirundi esatu bw’oba toyagala kukifuuwa ng’okizza munda.
Dr Annet Nankwanga, okuva mu ddwaaliro lya Makerere University Hospital agamba nti, sauna ereetera omutima okuba nga gukubira kumukumu. Ebbugumu ligaziya emisuwa ne kivaako omusaayi okuba nga gudduka nnyo n’omutima okukuba ennyo.
Olw’okuba ng’omusaayi gutambuliramu ebintu bingi ng’amazzi n’ebiriisa ebirala, gye gukoma okudduka ennyo mu bitundu by’omubiri byonna n’okubibunyisa.
Olususu gye lukoma okufuna ebiriisa ng’omusaayi gudduka nnyo nga bw’otuuyana kisobola okuluviirako okutereera olw’ebiriisa n’okufulumya ebicaafu mu mubiri.
Kyokka Nankwanga yalabudde nti, singa omuntu abeera mu bbugumu erisusse okusussa eddakiika eziri wakati wa 10 ne 20 kisobola okuviirako olususu okwonooneka ne kye wagenderera ne kibula.
Ate singa omuntu asussa eky’okweyoteza, kisobola okumuleetera olususu okukala nga terukyali lugonvu.
Abakugu era bagamba nti, olususu bw’olumanyiiza ennyo ebbugumu eringi osobola okutta obusimu ne gubeera nga tegukyawulira bbugumu. Bano be bantu b’osanga nga takyawulira kasana keememula wadde nga kabeera kamukosa.
Ekirungi nti, n’omubiri gusobola okukulaga nti, tegukyetaaga bbugumu lingi era bw’owulira ng’otandise okukosebwa kibeera kya magezi n’owummulamu.
Sauna entuufu ebeera n’ebbugumu eriri wakati wa diguli 70 ne 100. Kyokka olw’okuba ezisinga teziddukanyizibwa bakugu weesanga ng’ebbugumu lisussa diguli 150 eky’obulabe eri abagibeeramu.
SAUNA EZISINGA ZITEEBEREZA BUTEEBEREZA EBBUGUMU - LIPOOTI
Kyokka lipooti eyafulumiziddwa Ying. Flavia Bwire, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okulondoola omutindo gw’ebizimbe ekya National Building Review Board (NBRB) yalaze nti, Sauna ezaanoonyerezeddwaako zaabadde mu disitulikiti musanvu okuli; Kampala, Kabale, Mbarara, Jinja, Mbale, Iganga ne Wakiso.
Baazudde ng’ezisinga ebitundu 90 ku 100 zikozesa nku okukuuma omuliro. Obutafaanagana nga sauna z’amasannyalaze ezirina obusobozi okupima ebbugumu erisaanidde. Ezikozesa enku ebintu bibeera bya kuteebereza. Ezisinga zibeera n’ebbugumu lya diguli eziri wakati wa 150 ne 200.
ABASAJJA BANAFUWA MU NSONGA Z’EKISENGE
Dr Nankwanga, alabula abasajja obutayota kusukka mirundi ebiri ku esatu mu wiiki bwe babeera bakyayagala okunyweza amaka. Okweyoteza ennyo kikendeeza obungi bw’enkwaso.
Okufaananako ng’obusimu bw’olususu bwe bunafuwa olw’ebbugumu, n’omuntu kyangu okunafuwa mu nsonga z’omu kisenge.
“Buli lw’obeera mu bbugumu eriyitiridde, enkwaso ezimu zikosebwa ekiziviirako okufa naddala singa okwota obeera wakufuula kwa lutentezi”, Nankwanga bwe yagambye.
SAUNA ZITTA ENKWASO
Dr Xu Deyi akulira ekitongole kya Chinese Society of Obstetrics and Gynaecology gye buvuddeko yafulumya emboozi eyaliko omutwe ogugamba nti, “Sauna zivaako abasajja okubeera bassekibotte”.
Yategeeza nti, okubeera ennyo mu Sauna kivaako enkwaso okufuluma nga nnafu, endala nfu era omuntu asobola n’okufuna endwadde endala ezikwatagana n’okunafuya amaanyi g’ekisajja.
Abakugu bagamba nti, omuntu gy’akoma okutuula ku Sauna, ensigo obeera ozitadde mu bulabe bwa maanyi era zikosebwa ebbugumu eringi. Ebbugumu lino teriganya nkwaso kukula mu mubiri era kivaako omuntu okubeera nga tamalaako mu nsonga z’ekisenge.
Olw’okuba ng’ekisawo omubeera ensigo tekiriimu masavu mangi gasobola kwokya bbugumu, weesanga ng’ebbugumu lizikosezza nnyo.
Ensigo z’omuntu mu butonde zeetaaga ebbugumu ttono eritatuuka na bbugumu eribeera mu mubiri. Okugeza, omubiri bwe gubeera gulina diguli 37, zo ensigo zirina kubeera ku 35 oba 36 okusobola okukola obulungi.
Olw’okuba ebbugumu libeera waggulu mu Sauna za Uganda, y’ensonga lwaki ensigo zanguyirwa okufuna obuzibu.
Dr. Charles Kigundu (mugenzi) eyali omukugu mu nsonga z’okuzaala lumu yawandiika mu lupapula lwa New Vision n’agamba nti, omuntu gy’okoma okwettanira Sauna, kibeera kitegeeza gy’okoma n’okusiibula enkola y’ensigo zo.
Ebbugumu bwe liyitirira mu nsigo, enkwaso zennyini zibeera tezikyalina maanyi gadduka kuwakisa amagi agabeera mu mukazi ng’ali n’omusajja.
“Abasajja abamu balowooza nti, okuyiwa enkwaso mu mukazi kimala okumufunyisa olubuto. Okuwakisa tekubeera mu kifo kyennyini ebitundu by’ekyama we bisisinkana. Enkwaso zirina okuba ez’amaanyi nga zisobola okweyongerayo munda awali amagi g’omukyala”, Dr Kigundu bwe yawabula.
Enkwaso zirina okuba nga zisobola okutambulira mu mukwesese gw’omukyala ne zituuka ewala awali amagi. Kino kitegeeza nti, omuntu osobola okwegatta buli kaseera era n’omaliriza naye nga tolina busobozi bufunyisa lubuto.
KIVAAKO PULEESA OKULINNYA
Dr Harrison Uchungi, okuva ku Uganda Heart Institute agamba nti, Sauna esobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa. Omuntu okussa ennyo ng’alwana okufulumya ebbugumu eriyitiridde mu mubiri, kisobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa.
Yawadde ekyokulabirako nti, omusana we gwakira ennyo, omuntu n’atuuyana ebbugumu ly’omubiri lirinnya okutuuka ku diguli 40. Kyokka omuntu bw’agenda mu Sauna ebbugumu litandikira ku 70 okutuuka ku 100 ekitegeeza nti, ebbugumu libeera lyekubisizzaamu ebiri.
Kino kitegeeza nti, omubiri gwesanga mu kaseera akazibu nga gulina okupika ennyo omusaayi okugenda mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.
OBULABE BWA SAUNA
1 Dr Uchungi agamba nti, kyangu nnyo ebbugumu eribeera mu Sauna okulemerera ekitundu ky’omubiri ekimu okuliwanirira ne kibeera nga tekikyakola bulungi. Embeera eno esobola okuvaako ebinywa okwesiba omubiri ne gusannyalala abamu kye bayita ‘stroke’.
2 Singa omuntu abeera n’omusaayi ogwekwata obutole mu mubiri n’agenda mu Sauna n’egukaka okutambula, gusobola okuzibikira ebitundu ebimu ne bibeera nga tebikola bulungi okugeza omusaayi okugenda ku mutima ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira.
3 Olw’okuba omusaayi babeera bagukase okudduka, olumu kyangu gwennyini okwekwata ebitole ne gwesiba ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira. Yawadde ekyokulabirako kya Dr Richard Bmauturaki, eyali akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Ntungamo eyafiira mu Sauna ekibwatukira.
4 Omubiri guggwaamu ebiriisa olw’okuba gubeera gutuuyana nnyo nga gufulumya entuuyo n’ebirungo eby’omugaso mu mubiri nga Potassium ne Sodium ebiyamba ennyo omutima n’obwongo okukola obulungi.
Ebirungi ebyo buli lwe bibula mu mubiri kisobola okuvaako omuntu okweyisa mu ngeri eteri ya bulijjo. Ayinza okutandika okwogera ennyo oba okusirika ekisusse oba okubeera nga takyategeera bulungi ekisobola okuvaako okufa.
Dr Uchungi agamba nti, ebirungo ebyo buli lwe bibeera nga tebimala mu mubiri enkuba y’omutima yennyini ekyuka ne gubeera nga gukuba nnyo oba nga gukuba kasoobo.
MANEJA wa kkampuni etwala abantu ku kyeyo eya Confab International General Trading akulukusizza amaziga mu kaguli ka kkooti e Mengo nga bamusomera emisango 116 wamune mukama we. Alumiriza mukama we okugula mmotoka (Benz) mu ssente ze yafuna okutwala abantu ku kyeyo.
Ian Ssebuliba, akola nga maneja wamu ne Kassim Ssekanjako, nnannyini kkampuni eno, be basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, omulamuzi Adams Byarugaba n’abasomera emisango gy’okwekobaana ne baggya ku bantu obukadde obusoba mu 500 nga babasuubizza okubatwala okunoga ssente ne kibalema. Kigambibwa nti, Ssekanjako ne Ssebuliba wakati wa October 2022 ne July 2023 e Nateete mu Lubaga, beekobaana ne bafuna ssente okuva ku bantu ab’enjawulo nga babasuubizza okubatwala e Kuwait ne batakikola.
Okusinziira ku ludda oluwaabi kigambibwa nti, bano baafuna 6,100,000/- okuva ku Milton Marahi, Ayub Geri, 6,200,000/-, Ismail Semuyaba 6,000,000/-, Jesca Nyamayizi 5,500,000/-, Assadu Ssebuwufu 3,420,000/-, Noor Nansinkombi 4,000,000/-, Joseph Ssebandeke 5,230,000/-, Abdu Ntege 5,850,000/- n’abalala abasoba mu 100 abaaloopye omusango oguli ku ffayiro nnamba CRB; 681/2023.
Bakira buli musango gwe basoma nga Ssebuliba akiikira mukama we ensingo nga bw’amutegeeza, ‘Naye anko Sseeka okakasa ssente z’abaana tozimanyi, tojjukira ne lwe nakugamba nti opapye okugula Benz nga tonnatwala baana bweru nze ssaagala kunsiba ku bintu bye simanyi” nga Ssekanjako akanya kwegaana. Ssebuliba yakaabye n’asaba omulamuzi okuyimbulwa nga buteerere era bonna n’abasindika ku limanda e Luzira okutuusa nga December 13.
|
Sauna: Okugifunamu gipimire obudde, abasajja ebakosa
|
WADDE nga Sauna zirina emigaso ng’okutereeza ensusu, kyokka abakugu bagamba nti, omuntu bw’aziyitiriza ayinza okufuna obuzibu obuyinza n’okukuviirako okufa.Mu nkola entuufu, omuntu yandibadde teyeetaaga kugenda mu sauna mirundi gisukka ebiri mu wiiki. Bw’aba agendayo nnyo waakiri tegisukka mirundi esatu bw’oba toyagala kukifuuwa ng’okizza munda.Dr Annet Nankwanga, okuva mu ddwaaliro lya Makerere University Hospital agamba nti, sauna ereetera omutima okuba nga gukubira kumukumu. Ebbugumu ligaziya emisuwa ne kivaako omusaayi okuba nga gudduka nnyo n’omutima okukuba ennyo.Olw’okuba ng’omusaayi gutambuliramu ebintu bingi ng’amazzi n’ebiriisa ebirala, gye gukoma okudduka ennyo mu bitundu by’omubiri byonna n’okubibunyisa.Olususu gye lukoma okufuna ebiriisa ng’omusaayi gudduka nnyo nga bw’otuuyana kisobola okuluviirako okutereera olw’ebiriisa n’okufulumya ebicaafu mu mubiri.Kyokka Nankwanga yalabudde nti, singa omuntu abeera mu bbugumu erisusse okusussa eddakiika eziri wakati wa 10 ne 20 kisobola okuviirako olususu okwonooneka ne kye wagenderera ne kibula.Ate singa omuntu asussa eky’okweyoteza, kisobola okumuleetera olususu okukala nga terukyali lugonvu.Abakugu era bagamba nti, olususu bw’olumanyiiza ennyo ebbugumu eringi osobola okutta obusimu ne gubeera nga tegukyawulira bbugumu. Bano be bantu b’osanga nga takyawulira kasana keememula wadde nga kabeera kamukosa.Ekirungi nti, n’omubiri gusobola okukulaga nti, tegukyetaaga bbugumu lingi era bw’owulira ng’otandise okukosebwa kibeera kya magezi n’owummulamu.Sauna entuufu ebeera n’ebbugumu eriri wakati wa diguli 70 ne 100. Kyokka olw’okuba ezisinga teziddukanyizibwa bakugu weesanga ng’ebbugumu lisussa diguli 150 eky’obulabe eri abagibeeramu.SAUNA EZISINGA ZITEEBEREZA BUTEEBEREZA EBBUGUMU - LIPOOTI Kyokka lipooti eyafulumiziddwa Ying. Flavia Bwire, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okulondoola omutindo gw’ebizimbe ekya National Building Review Board (NBRB) yalaze nti, Sauna ezaanoonyerezeddwaako zaabadde mu disitulikiti musanvu okuli; Kampala, Kabale, Mbarara, Jinja, Mbale, Iganga ne Wakiso.Baazudde ng’ezisinga ebitundu 90 ku 100 zikozesa nku okukuuma omuliro. Obutafaanagana nga sauna z’amasannyalaze ezirina obusobozi okupima ebbugumu erisaanidde. Ezikozesa enku ebintu bibeera bya kuteebereza. Ezisinga zibeera n’ebbugumu lya diguli eziri wakati wa 150 ne 200.ABASAJJA BANAFUWA MU NSONGA Z’EKISENGE Dr Nankwanga, alabula abasajja obutayota kusukka mirundi ebiri ku esatu mu wiiki bwe babeera bakyayagala okunyweza amaka. Okweyoteza ennyo kikendeeza obungi bw’enkwaso.Okufaananako ng’obusimu bw’olususu bwe bunafuwa olw’ebbugumu, n’omuntu kyangu okunafuwa mu nsonga z’omu kisenge.“Buli lw’obeera mu bbugumu eriyitiridde, enkwaso ezimu zikosebwa ekiziviirako okufa naddala singa okwota obeera wakufuula kwa lutentezi”, Nankwanga bwe yagambye.SAUNA ZITTA ENKWASO Dr Xu Deyi akulira ekitongole kya Chinese Society of Obstetrics and Gynaecology gye buvuddeko yafulumya emboozi eyaliko omutwe ogugamba nti, “Sauna zivaako abasajja okubeera bassekibotte”.Yategeeza nti, okubeera ennyo mu Sauna kivaako enkwaso okufuluma nga nnafu, endala nfu era omuntu asobola n’okufuna endwadde endala ezikwatagana n’okunafuya amaanyi g’ekisajja.Abakugu bagamba nti, omuntu gy’akoma okutuula ku Sauna, ensigo obeera ozitadde mu bulabe bwa maanyi era zikosebwa ebbugumu eringi. Ebbugumu lino teriganya nkwaso kukula mu mubiri era kivaako omuntu okubeera nga tamalaako mu nsonga z’ekisenge.Olw’okuba ng’ekisawo omubeera ensigo tekiriimu masavu mangi gasobola kwokya bbugumu, weesanga ng’ebbugumu lizikosezza nnyo.Ensigo z’omuntu mu butonde zeetaaga ebbugumu ttono eritatuuka na bbugumu eribeera mu mubiri. Okugeza, omubiri bwe gubeera gulina diguli 37, zo ensigo zirina kubeera ku 35 oba 36 okusobola okukola obulungi.Olw’okuba ebbugumu libeera waggulu mu Sauna za Uganda, y’ensonga lwaki ensigo zanguyirwa okufuna obuzibu.Dr. Charles Kigundu (mugenzi) eyali omukugu mu nsonga z’okuzaala lumu yawandiika mu lupapula lwa New Vision n’agamba nti, omuntu gy’okoma okwettanira Sauna, kibeera kitegeeza gy’okoma n’okusiibula enkola y’ensigo zo.Ebbugumu bwe liyitirira mu nsigo, enkwaso zennyini zibeera tezikyalina maanyi gadduka kuwakisa amagi agabeera mu mukazi ng’ali n’omusajja.“Abasajja abamu balowooza nti, okuyiwa enkwaso mu mukazi kimala okumufunyisa olubuto. Okuwakisa tekubeera mu kifo kyennyini ebitundu by’ekyama we bisisinkana. Enkwaso zirina okuba ez’amaanyi nga zisobola okweyongerayo munda awali amagi g’omukyala”, Dr Kigundu bwe yawabula.Enkwaso zirina okuba nga zisobola okutambulira mu mukwesese gw’omukyala ne zituuka ewala awali amagi. Kino kitegeeza nti, omuntu osobola okwegatta buli kaseera era n’omaliriza naye nga tolina busobozi bufunyisa lubuto.KIVAAKO PULEESA OKULINNYA Dr Harrison Uchungi, okuva ku Uganda Heart Institute agamba nti, Sauna esobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa. Omuntu okussa ennyo ng’alwana okufulumya ebbugumu eriyitiridde mu mubiri, kisobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa.Yawadde ekyokulabirako nti, omusana we gwakira ennyo, omuntu n’atuuyana ebbugumu ly’omubiri lirinnya okutuuka ku diguli 40. Kyokka omuntu bw’agenda mu Sauna ebbugumu litandikira ku 70 okutuuka ku 100 ekitegeeza nti, ebbugumu libeera lyekubisizzaamu ebiri.Kino kitegeeza nti, omubiri gwesanga mu kaseera akazibu nga gulina okupika ennyo omusaayi okugenda mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.OBULABE BWA SAUNA 1 Dr Uchungi agamba nti, kyangu nnyo ebbugumu eribeera mu Sauna okulemerera ekitundu ky’omubiri ekimu okuliwanirira ne kibeera nga tekikyakola bulungi. Embeera eno esobola okuvaako ebinywa okwesiba omubiri ne gusannyalala abamu kye bayita ‘stroke’. 2 Singa omuntu abeera n’omusaayi ogwekwata obutole mu mubiri n’agenda mu Sauna n’egukaka okutambula, gusobola okuzibikira ebitundu ebimu ne bibeera nga tebikola bulungi okugeza omusaayi okugenda ku mutima ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira.3 Olw’okuba omusaayi babeera bagukase okudduka, olumu kyangu gwennyini okwekwata ebitole ne gwesiba ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira. Yawadde ekyokulabirako kya Dr Richard Bmauturaki, eyali akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Ntungamo eyafiira mu Sauna ekibwatukira.4 Omubiri guggwaamu ebiriisa olw’okuba gubeera gutuuyana nnyo nga gufulumya entuuyo n’ebirungo eby’omugaso mu mubiri nga Potassium ne Sodium ebiyamba ennyo omutima n’obwongo okukola obulungi.Ebirungi ebyo buli lwe bibula mu mubiri kisobola okuvaako omuntu okweyisa mu ngeri eteri ya bulijjo. Ayinza okutandika okwogera ennyo oba okusirika ekisusse oba okubeera nga takyategeera bulungi ekisobola okuvaako okufa.Dr Uchungi agamba nti, ebirungo ebyo buli lwe bibeera nga tebimala mu mubiri enkuba y’omutima yennyini ekyuka ne gubeera nga gukuba nnyo oba nga gukuba kasoobo.
OKUKOLA oluguudo lwa Kira, Kasangati, Nangabo, Matugga, kuli mu ggiya, abaasasulwa we lulina okuyisibwa bali mu kumenya bizimbe kisoboozese omulimu okutambula obulungi.
Omulimu guno gwatongozebwa Pulezideti Museveni mu 2021 bwe yali anoonya akalulu ng’omukolo gwali Kira. Ekitongole ky’ebyenguudo ekya UNRA kyasasula bannannyini bifo gye lugenda okuyisibwa. Mu bitundu omuli entobazzi wassiddwaawo essira okuviira ddala e Kira okutuuka e Kasangati.
Mu kiseera kino, omulimu gutuusiddwa e Kasangati okuviira ddala ku luguudo oludda e Matugga era abatuuze abaasasulwa bali mu kumenya ebizimbe ebyabalirirwa kisobozese okulugaziya obulungi.
Ssentebe wa Zzooni ya Buyinja-Kasangati, Moses Sseryaazi nga ku ludda lwa Zzooni eno gye lwasinga okulya yagambye nti kino kituukiddwaako oluvannyuma lw’abatuuze abagenda okosebwa okusisinkana n’aba UNRA abaasasulwa ne baweebwa emyezi esatu okuba nga bavuddewo n’okuggyawo ebyabwe byonna. Mu kiseera kino ng’abamenya bakyamenya, amakanda gassiddwa nnyo ku myala okuva e Kasangati okutuukira ddala e Matugga naddala egy’omu ntobazzi.
WADDE nga Sauna zirina emigaso ng’okutereeza ensusu, kyokka abakugu bagamba nti, omuntu bw’aziyitiriza ayinza okufuna obuzibu obuyinza n’okukuviirako okufa.
Mu nkola entuufu, omuntu yandibadde teyeetaaga kugenda mu sauna mirundi gisukka ebiri mu wiiki. Bw’aba agendayo nnyo waakiri tegisukka mirundi esatu bw’oba toyagala kukifuuwa ng’okizza munda.
Dr Annet Nankwanga, okuva mu ddwaaliro lya Makerere University Hospital agamba nti, sauna ereetera omutima okuba nga gukubira kumukumu. Ebbugumu ligaziya emisuwa ne kivaako omusaayi okuba nga gudduka nnyo n’omutima okukuba ennyo.
Olw’okuba ng’omusaayi gutambuliramu ebintu bingi ng’amazzi n’ebiriisa ebirala, gye gukoma okudduka ennyo mu bitundu by’omubiri byonna n’okubibunyisa.
Olususu gye lukoma okufuna ebiriisa ng’omusaayi gudduka nnyo nga bw’otuuyana kisobola okuluviirako okutereera olw’ebiriisa n’okufulumya ebicaafu mu mubiri.
Kyokka Nankwanga yalabudde nti, singa omuntu abeera mu bbugumu erisusse okusussa eddakiika eziri wakati wa 10 ne 20 kisobola okuviirako olususu okwonooneka ne kye wagenderera ne kibula.
Ate singa omuntu asussa eky’okweyoteza, kisobola okumuleetera olususu okukala nga terukyali lugonvu.
Abakugu era bagamba nti, olususu bw’olumanyiiza ennyo ebbugumu eringi osobola okutta obusimu ne gubeera nga tegukyawulira bbugumu. Bano be bantu b’osanga nga takyawulira kasana keememula wadde nga kabeera kamukosa.
Ekirungi nti, n’omubiri gusobola okukulaga nti, tegukyetaaga bbugumu lingi era bw’owulira ng’otandise okukosebwa kibeera kya magezi n’owummulamu.
Sauna entuufu ebeera n’ebbugumu eriri wakati wa diguli 70 ne 100. Kyokka olw’okuba ezisinga teziddukanyizibwa bakugu weesanga ng’ebbugumu lisussa diguli 150 eky’obulabe eri abagibeeramu.
SAUNA EZISINGA ZITEEBEREZA BUTEEBEREZA EBBUGUMU - LIPOOTI
Kyokka lipooti eyafulumiziddwa Ying. Flavia Bwire, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa okulondoola omutindo gw’ebizimbe ekya National Building Review Board (NBRB) yalaze nti, Sauna ezaanoonyerezeddwaako zaabadde mu disitulikiti musanvu okuli; Kampala, Kabale, Mbarara, Jinja, Mbale, Iganga ne Wakiso.
Baazudde ng’ezisinga ebitundu 90 ku 100 zikozesa nku okukuuma omuliro. Obutafaanagana nga sauna z’amasannyalaze ezirina obusobozi okupima ebbugumu erisaanidde. Ezikozesa enku ebintu bibeera bya kuteebereza. Ezisinga zibeera n’ebbugumu lya diguli eziri wakati wa 150 ne 200.
ABASAJJA BANAFUWA MU NSONGA Z’EKISENGE
Dr Nankwanga, alabula abasajja obutayota kusukka mirundi ebiri ku esatu mu wiiki bwe babeera bakyayagala okunyweza amaka. Okweyoteza ennyo kikendeeza obungi bw’enkwaso.
Okufaananako ng’obusimu bw’olususu bwe bunafuwa olw’ebbugumu, n’omuntu kyangu okunafuwa mu nsonga z’omu kisenge.
“Buli lw’obeera mu bbugumu eriyitiridde, enkwaso ezimu zikosebwa ekiziviirako okufa naddala singa okwota obeera wakufuula kwa lutentezi”, Nankwanga bwe yagambye.
SAUNA ZITTA ENKWASO
Dr Xu Deyi akulira ekitongole kya Chinese Society of Obstetrics and Gynaecology gye buvuddeko yafulumya emboozi eyaliko omutwe ogugamba nti, “Sauna zivaako abasajja okubeera bassekibotte”.
Yategeeza nti, okubeera ennyo mu Sauna kivaako enkwaso okufuluma nga nnafu, endala nfu era omuntu asobola n’okufuna endwadde endala ezikwatagana n’okunafuya amaanyi g’ekisajja.
Abakugu bagamba nti, omuntu gy’akoma okutuula ku Sauna, ensigo obeera ozitadde mu bulabe bwa maanyi era zikosebwa ebbugumu eringi. Ebbugumu lino teriganya nkwaso kukula mu mubiri era kivaako omuntu okubeera nga tamalaako mu nsonga z’ekisenge.
Olw’okuba ng’ekisawo omubeera ensigo tekiriimu masavu mangi gasobola kwokya bbugumu, weesanga ng’ebbugumu lizikosezza nnyo.
Ensigo z’omuntu mu butonde zeetaaga ebbugumu ttono eritatuuka na bbugumu eribeera mu mubiri. Okugeza, omubiri bwe gubeera gulina diguli 37, zo ensigo zirina kubeera ku 35 oba 36 okusobola okukola obulungi.
Olw’okuba ebbugumu libeera waggulu mu Sauna za Uganda, y’ensonga lwaki ensigo zanguyirwa okufuna obuzibu.
Dr. Charles Kigundu (mugenzi) eyali omukugu mu nsonga z’okuzaala lumu yawandiika mu lupapula lwa New Vision n’agamba nti, omuntu gy’okoma okwettanira Sauna, kibeera kitegeeza gy’okoma n’okusiibula enkola y’ensigo zo.
Ebbugumu bwe liyitirira mu nsigo, enkwaso zennyini zibeera tezikyalina maanyi gadduka kuwakisa amagi agabeera mu mukazi ng’ali n’omusajja.
“Abasajja abamu balowooza nti, okuyiwa enkwaso mu mukazi kimala okumufunyisa olubuto. Okuwakisa tekubeera mu kifo kyennyini ebitundu by’ekyama we bisisinkana. Enkwaso zirina okuba ez’amaanyi nga zisobola okweyongerayo munda awali amagi g’omukyala”, Dr Kigundu bwe yawabula.
Enkwaso zirina okuba nga zisobola okutambulira mu mukwesese gw’omukyala ne zituuka ewala awali amagi. Kino kitegeeza nti, omuntu osobola okwegatta buli kaseera era n’omaliriza naye nga tolina busobozi bufunyisa lubuto.
KIVAAKO PULEESA OKULINNYA
Dr Harrison Uchungi, okuva ku Uganda Heart Institute agamba nti, Sauna esobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa. Omuntu okussa ennyo ng’alwana okufulumya ebbugumu eriyitiridde mu mubiri, kisobola okuvaako omuntu okufuna obulwadde bwa puleesa.
Yawadde ekyokulabirako nti, omusana we gwakira ennyo, omuntu n’atuuyana ebbugumu ly’omubiri lirinnya okutuuka ku diguli 40. Kyokka omuntu bw’agenda mu Sauna ebbugumu litandikira ku 70 okutuuka ku 100 ekitegeeza nti, ebbugumu libeera lyekubisizzaamu ebiri.
Kino kitegeeza nti, omubiri gwesanga mu kaseera akazibu nga gulina okupika ennyo omusaayi okugenda mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo.
OBULABE BWA SAUNA
1 Dr Uchungi agamba nti, kyangu nnyo ebbugumu eribeera mu Sauna okulemerera ekitundu ky’omubiri ekimu okuliwanirira ne kibeera nga tekikyakola bulungi. Embeera eno esobola okuvaako ebinywa okwesiba omubiri ne gusannyalala abamu kye bayita ‘stroke’.
2 Singa omuntu abeera n’omusaayi ogwekwata obutole mu mubiri n’agenda mu Sauna n’egukaka okutambula, gusobola okuzibikira ebitundu ebimu ne bibeera nga tebikola bulungi okugeza omusaayi okugenda ku mutima ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira.
3 Olw’okuba omusaayi babeera bagukase okudduka, olumu kyangu gwennyini okwekwata ebitole ne gwesiba ne kivaako omuntu okufa ekibwatukira. Yawadde ekyokulabirako kya Dr Richard Bmauturaki, eyali akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Ntungamo eyafiira mu Sauna ekibwatukira.
4 Omubiri guggwaamu ebiriisa olw’okuba gubeera gutuuyana nnyo nga gufulumya entuuyo n’ebirungo eby’omugaso mu mubiri nga Potassium ne Sodium ebiyamba ennyo omutima n’obwongo okukola obulungi.
Ebirungi ebyo buli lwe bibula mu mubiri kisobola okuvaako omuntu okweyisa mu ngeri eteri ya bulijjo. Ayinza okutandika okwogera ennyo oba okusirika ekisusse oba okubeera nga takyategeera bulungi ekisobola okuvaako okufa.
Dr Uchungi agamba nti, ebirungo ebyo buli lwe bibeera nga tebimala mu mubiri enkuba y’omutima yennyini ekyuka ne gubeera nga gukuba nnyo oba nga gukuba kasoobo.
Muhammad Ssempijja: Sauna zino tezirondoddwa bulungi naddala embeera mwe zikolera kubanga bangi abazizimba bamala gakubirira. Zitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga.
Gavumenti esitukiremu etaase embeera Willy Ssenkuba: Bannannyini Sauna bazimba kanaggweeramu eyo nga bafa kimu kukola ssente. Kye tuva tufuna ezibaluka abantu ne bakosebwa. Kati abazikozesa be balina okufaayo ku bulamu bwabwe bakozese eziri ku mutindo.
Rehemah Nalusiba: Sauna zino mu kuzimbibwa ezisinga ziri mu bitundu omusulwa abantu, singa wabaawo obuzibu kiyinza okukosa n’abalala. Wabeewo ebifo mwe zitakkirizibwa ate bafeeyo ne ku mutindo gw’ezo ezizimbibwa.
|
Boogedde ku sauna
|
Muhammad Ssempijja: Sauna zino tezirondoddwa bulungi naddala embeera mwe zikolera kubanga bangi abazizimba bamala gakubirira. Zitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga.Gavumenti esitukiremu etaase embeera Willy Ssenkuba: Bannannyini Sauna bazimba kanaggweeramu eyo nga bafa kimu kukola ssente. Kye tuva tufuna ezibaluka abantu ne bakosebwa. Kati abazikozesa be balina okufaayo ku bulamu bwabwe bakozese eziri ku mutindo.Rehemah Nalusiba: Sauna zino mu kuzimbibwa ezisinga ziri mu bitundu omusulwa abantu, singa wabaawo obuzibu kiyinza okukosa n’abalala. Wabeewo ebifo mwe zitakkirizibwa ate bafeeyo ne ku mutindo gw’ezo ezizimbibwa.
OMUTAKA Nsamba Aloysius Lubega Magandaazi II akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekika ky’Engabi mw’akyusirizza abadde katikkiro okumala emyaka egisukka mu 30 n’asaba abalondeddwa okukolera awamu okukulaakulanya ekika. Bwe yabadde abakwasa obuvunaanyizibwa buno, Nsamba yasinzidde ku ofiisi y’ekika e Kibuye mu lukiiko olusembayo mu mwaka n’abategeeza nti obukulembeze bwe bakutte si bwa nsikirano ng’alondeddwa asobola okukyusibwa ekiseera kyonna wabula yabasabye okuyambako ab’ebifundikwa okulaba ng’ekika kigenda mu maaso. Yakubirizza abakulembeze abaggya okubeera abasaale mu kukuuma ebyobugagga by’ekika naddala ettaka obutatwalibwa bannakigwanyizi, okutambulira ku nnono n’obuwangwa era yabasibiridde entanda okwagala ekika n’okukyagazisa emiti emito. Nsamba yakubirizza abazzukulu okwongera okukuuma abaana mu mikono gyabwe okusinga okubatwala mu ng’anda n’emikwano naddala mu kiseera kino eky’oluwummula n’abasaba okubakuliza mu mpisa. Mu baalondeddwa kwabaddeko katikkiro Ssaalongo Yiga Balironda, Joseph Yiga omumyuka asooka owa katikkiro, Moses Jjengo Kaggwa omuwandiisi w’ekika, abawolereza b’ekika Medard Lubega Sseggona Akalyaamaggwa ne Evaristo Mugagga n’abalala.

Omutaka Nsamba akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekika ky’Engabi

OMUSAJJA eyagezaako okukwata omwana atanneetuuka omusango gumusse mu vvi n’akaligibwa emyaka ebiri mu nkomyo e Luzira. Sharif Twaha 64, ow’e Kazinga mu munisipaali y’e Nakawa yagezaako okutunuza omwana (amannya galekeddwa) ow’emyaka ena mu mbuga za sitaani. Bino byaliwo nga July 7, 2022, Twaha bwe yasangibwa ng’agezaako okukola ebyensonyi ku mwana ono wamu n’okumuwemula. Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi yamusomera emisango gino wabula n’agyegaana era omulamuzi n’alagira batandike okuwulira obujulizi. Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi 6 nga ku buno omulamuzi kwe yasinzidde okumusiba.
Muhammad Ssempijja: Sauna zino tezirondoddwa bulungi naddala embeera mwe zikolera kubanga bangi abazizimba bamala gakubirira. Zitadde obulamu bw’abantu mu katyabaga.
Gavumenti esitukiremu etaase embeera Willy Ssenkuba: Bannannyini Sauna bazimba kanaggweeramu eyo nga bafa kimu kukola ssente. Kye tuva tufuna ezibaluka abantu ne bakosebwa. Kati abazikozesa be balina okufaayo ku bulamu bwabwe bakozese eziri ku mutindo.
Rehemah Nalusiba: Sauna zino mu kuzimbibwa ezisinga ziri mu bitundu omusulwa abantu, singa wabaawo obuzibu kiyinza okukosa n’abalala. Wabeewo ebifo mwe zitakkirizibwa ate bafeeyo ne ku mutindo gw’ezo ezizimbibwa.
|
Bamusibye myaka 2 ku gw’okugezaako okujjula ebitannaggya
|
OMUSAJJA eyagezaako okukwata omwana atanneetuuka omusango gumusse mu vvi n’akaligibwa emyaka ebiri mu nkomyo e Luzira. Sharif Twaha 64, ow’e Kazinga mu munisipaali y’e Nakawa yagezaako okutunuza omwana (amannya galekeddwa) ow’emyaka ena mu mbuga za sitaani. Bino byaliwo nga July 7, 2022, Twaha bwe yasangibwa ng’agezaako okukola ebyensonyi ku mwana ono wamu n’okumuwemula. Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi yamusomera emisango gino wabula n’agyegaana era omulamuzi n’alagira batandike okuwulira obujulizi. Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi 6 nga ku buno omulamuzi kwe yasinzidde okumusiba.
OMUTAKA Nsamba Aloysius Lubega Magandaazi II akoze enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekika ky’Engabi mw’akyusirizza abadde katikkiro okumala emyaka egisukka mu 30 n’asaba abalondeddwa okukolera awamu okukulaakulanya ekika. Bwe yabadde abakwasa obuvunaanyizibwa buno, Nsamba yasinzidde ku ofiisi y’ekika e Kibuye mu lukiiko olusembayo mu mwaka n’abategeeza nti obukulembeze bwe bakutte si bwa nsikirano ng’alondeddwa asobola okukyusibwa ekiseera kyonna wabula yabasabye okuyambako ab’ebifundikwa okulaba ng’ekika kigenda mu maaso. Yakubirizza abakulembeze abaggya okubeera abasaale mu kukuuma ebyobugagga by’ekika naddala ettaka obutatwalibwa bannakigwanyizi, okutambulira ku nnono n’obuwangwa era yabasibiridde entanda okwagala ekika n’okukyagazisa emiti emito. Nsamba yakubirizza abazzukulu okwongera okukuuma abaana mu mikono gyabwe okusinga okubatwala mu ng’anda n’emikwano naddala mu kiseera kino eky’oluwummula n’abasaba okubakuliza mu mpisa. Mu baalondeddwa kwabaddeko katikkiro Ssaalongo Yiga Balironda, Joseph Yiga omumyuka asooka owa katikkiro, Moses Jjengo Kaggwa omuwandiisi w’ekika, abawolereza b’ekika Medard Lubega Sseggona Akalyaamaggwa ne Evaristo Mugagga n’abalala.
FAAZA John Senkaali, asabye abantu abakola ebikolwa eby’ekko eri bannaabwe okukikomya beenenyeze Katonda asobole okulongoosa emitima gyabwe. Yabadde akuliddemu ekitambiro kya Mmisa y’okukuza olunaku lw’ekisomesa kya Christ The King ekisangibwa e Nabbingo mu Town Council y’e Kyengera. Fr. Senkaali ategeezezza nti ensangi zino abantu baweddemu ensonyi olw’ebikolwa ebikyamu bye bakola wabula nga kino akitadde ku kuba nga baweddemu essuubi bw’atyo n’abasaba okudda eri Katonda. Mu kitambiro kya Mmisa kino, baasondeddemu ne ssente z’okuzimba Klezia eno era Ssaabakristu w’ekisomesa kino, Charles Byarugaba ategeezezza nti beetaaga kawumbi okuzimba.
|
‘Mukomye ebikolwa eby’ekko’

SIPIIKA wa Uganda, Annet Anita Among, alagidde kabineeti okukakasa nti ebbeeyi ya gaasi akozesebwa mu kufumba teri waggulu kisobozesa buli Munnayuganda okumwettanira. Kiddiridde gavumenti okuyimiriza okutema emiti n’okufumbira ku manda gye buvuddeko mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi. Among bwe yabadde aggulawo olutuula lwa palamenti, yagambye nti kabineeti esaanye okutunula mu bbeeyi ya gaasi naddala nga basemberera okwekenneenya embalirira ku nsonga ez’enjawulo. Yakakasizza nti ebbeeyi ekyali ya kaweereege nga kiyinza okuvaako abantu okujeemera ekiragiro kya gavumenti singa tassibwa. Mu ngeri yeemu, omubaka Solomon Silwany (Bukooli County) yasabye ku bbeeyi y’amasannyalaze eri waggulu esalibwe, abantu abatasobola gaasi bafumbirenga ku masannyalaze.
OMUSAJJA eyagezaako okukwata omwana atanneetuuka omusango gumusse mu vvi n’akaligibwa emyaka ebiri mu nkomyo e Luzira. Sharif Twaha 64, ow’e Kazinga mu munisipaali y’e Nakawa yagezaako okutunuza omwana (amannya galekeddwa) ow’emyaka ena mu mbuga za sitaani. Bino byaliwo nga July 7, 2022, Twaha bwe yasangibwa ng’agezaako okukola ebyensonyi ku mwana ono wamu n’okumuwemula. Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi yamusomera emisango gino wabula n’agyegaana era omulamuzi n’alagira batandike okuwulira obujulizi. Oludda oluwaabi lwaleeta abajulizi 6 nga ku buno omulamuzi kwe yasinzidde okumusiba.
|
Sipiika alagidde ku bbeeyi ya gaasi
|
SIPIIKA wa Uganda, Annet Anita Among, alagidde kabineeti okukakasa nti ebbeeyi ya gaasi akozesebwa mu kufumba teri waggulu kisobozesa buli Munnayuganda okumwettanira. Kiddiridde gavumenti okuyimiriza okutema emiti n’okufumbira ku manda gye buvuddeko mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi. Among bwe yabadde aggulawo olutuula lwa palamenti, yagambye nti kabineeti esaanye okutunula mu bbeeyi ya gaasi naddala nga basemberera okwekenneenya embalirira ku nsonga ez’enjawulo. Yakakasizza nti ebbeeyi ekyali ya kaweereege nga kiyinza okuvaako abantu okujeemera ekiragiro kya gavumenti singa tassibwa. Mu ngeri yeemu, omubaka Solomon Silwany (Bukooli County) yasabye ku bbeeyi y’amasannyalaze eri waggulu esalibwe, abantu abatasobola gaasi bafumbirenga ku masannyalaze.
POLIISI yeezoobye n’abakozi ba kkampuni ekola engoye eya Fine Spinners Uganda Ltd. e Bugoloobi abaabade beegugunga olw’okumala emyezi ebiri nga tebasasulwa musaala n’okubatema ssente za NSSF wabula nga teziteekebwayo. Abakozi bano baasazeeko ggeeti eyingira mu kkampuni eno nga tebakkiriza mmotoka yonna kuyingira. Wabula Poliisi ya Jinja Road ng’eduumirwa Julius Ahimbisibwe baazinzeeko ekifo okulaba nga bakkakkanya abakozi. Omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo naye yazze ne bakkakkanya abakozi bano ne beerondamu abakulembeze baabwe ne bagenda beevumba akafubo n’abamu ku bakulira kkampuni eno wamu ne poliisi. Yasin Wabwire omu bakozi bano yagambye abasinga ku bo babaggya mu byalo nga babasuubizza okubasasula okutandikira ku mitwalo 20 babawe we basula n’okubaliisa, wabula tebakikola. Oluvannyuma lw’akafubo bakkaanyizza omusaala gwa October gubasasulwe obutasukka December 8, 2023, ogwa November bagufune obutasukka December 22, 2023 ate ogwa December bagufune nga bakomyewo mu January, 2024.
FAAZA John Senkaali, asabye abantu abakola ebikolwa eby’ekko eri bannaabwe okukikomya beenenyeze Katonda asobole okulongoosa emitima gyabwe. Yabadde akuliddemu ekitambiro kya Mmisa y’okukuza olunaku lw’ekisomesa kya Christ The King ekisangibwa e Nabbingo mu Town Council y’e Kyengera. Fr. Senkaali ategeezezza nti ensangi zino abantu baweddemu ensonyi olw’ebikolwa ebikyamu bye bakola wabula nga kino akitadde ku kuba nga baweddemu essuubi bw’atyo n’abasaba okudda eri Katonda. Mu kitambiro kya Mmisa kino, baasondeddemu ne ssente z’okuzimba Klezia eno era Ssaabakristu w’ekisomesa kino, Charles Byarugaba ategeezezza nti beetaaga kawumbi okuzimba.
|
Poliisi yeezoobye n’abakozi ba Fine Spinners abaabadde beekalakaasa olw’obutasasulwa
|
POLIISI yeezoobye n’abakozi ba kkampuni ekola engoye eya Fine Spinners Uganda Ltd. e Bugoloobi abaabade beegugunga olw’okumala emyezi ebiri nga tebasasulwa musaala n’okubatema ssente za NSSF wabula nga teziteekebwayo. Abakozi bano baasazeeko ggeeti eyingira mu kkampuni eno nga tebakkiriza mmotoka yonna kuyingira. Wabula Poliisi ya Jinja Road ng’eduumirwa Julius Ahimbisibwe baazinzeeko ekifo okulaba nga bakkakkanya abakozi. Omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo naye yazze ne bakkakkanya abakozi bano ne beerondamu abakulembeze baabwe ne bagenda beevumba akafubo n’abamu ku bakulira kkampuni eno wamu ne poliisi. Yasin Wabwire omu bakozi bano yagambye abasinga ku bo babaggya mu byalo nga babasuubizza okubasasula okutandikira ku mitwalo 20 babawe we basula n’okubaliisa, wabula tebakikola. Oluvannyuma lw’akafubo bakkaanyizza omusaala gwa October gubasasulwe obutasukka December 8, 2023, ogwa November bagufune obutasukka December 22, 2023 ate ogwa December bagufune nga bakomyewo mu January, 2024.
SIPIIKA wa Uganda, Annet Anita Among, alagidde kabineeti okukakasa nti ebbeeyi ya gaasi akozesebwa mu kufumba teri waggulu kisobozesa buli Munnayuganda okumwettanira. Kiddiridde gavumenti okuyimiriza okutema emiti n’okufumbira ku manda gye buvuddeko mu kaweefube w’okutaasa obutonde bw’ensi. Among bwe yabadde aggulawo olutuula lwa palamenti, yagambye nti kabineeti esaanye okutunula mu bbeeyi ya gaasi naddala nga basemberera okwekenneenya embalirira ku nsonga ez’enjawulo. Yakakasizza nti ebbeeyi ekyali ya kaweereege nga kiyinza okuvaako abantu okujeemera ekiragiro kya gavumenti singa tassibwa. Mu ngeri yeemu, omubaka Solomon Silwany (Bukooli County) yasabye ku bbeeyi y’amasannyalaze eri waggulu esalibwe, abantu abatasobola gaasi bafumbirenga ku masannyalaze.
MU kaweefube w’okulwanyisa obutabanguko mu maka n’okukendeeza ku kusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya, abakkiriza babuuliriddwa okubuulira enjiri ekyusa emitima gy’abantu nga bakozesa ennyimba n’emizannyo kiyambeko okukendeeza entalo mu maka ezivaako n’abantu okusaasaanya akawuka akaleeta mukenenya. Bino bibabuuliriddwa Annet Mawejje kkansala wa Wakiso mumyuka ku kkanisa ya St. Peters Nakuwadde bwe baabadde batongoza alubaamu y’ennyimba ne vidiyo ez’amaloboozi eza kkwaaya ya Sacred Medolies. Omubuulizi Nathan Muteesi ow’ekkanisa eno yabuuliridde abantu okwekuuma akawuka akaleeta mukenenya.
|
‘Enjiri ebuulirirwe mu nnyimba’

EKITONGOLE ky’ebyenguudo ekya UNRA kitandise okuzza obuggya ebyuma Guard rails) ebyawulamu oluguudo lw’e Ntebe okuva ku nkulungo y’e Kibuye okutuuka ku y’e Zana. Kiddiridde bingi ku byuma bino okukoonebwa mmotoka ne bigooma ate ebirala ne biviirawo ddala. Abakozi abali ku mulimu guno abataayagadde kwatuukiriza mannya bagamba nti omulimu gutambula bulungi wadde nga bataataaganyiddwa enkuba etonnya buli kiseera. Bbo abatuuze naddala aba Lufuka okutuuka e Zana basanyukidde enteekateeka eno nga bagamba nti aba bodaboda babadde batandise okwewagaanya mu bifo ebyuma bino mwe bitabadde abamu ne batomerwa.
POLIISI yeezoobye n’abakozi ba kkampuni ekola engoye eya Fine Spinners Uganda Ltd. e Bugoloobi abaabade beegugunga olw’okumala emyezi ebiri nga tebasasulwa musaala n’okubatema ssente za NSSF wabula nga teziteekebwayo. Abakozi bano baasazeeko ggeeti eyingira mu kkampuni eno nga tebakkiriza mmotoka yonna kuyingira. Wabula Poliisi ya Jinja Road ng’eduumirwa Julius Ahimbisibwe baazinzeeko ekifo okulaba nga bakkakkanya abakozi. Omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo naye yazze ne bakkakkanya abakozi bano ne beerondamu abakulembeze baabwe ne bagenda beevumba akafubo n’abamu ku bakulira kkampuni eno wamu ne poliisi. Yasin Wabwire omu bakozi bano yagambye abasinga ku bo babaggya mu byalo nga babasuubizza okubasasula okutandikira ku mitwalo 20 babawe we basula n’okubaliisa, wabula tebakikola. Oluvannyuma lw’akafubo bakkaanyizza omusaala gwa October gubasasulwe obutasukka December 8, 2023, ogwa November bagufune obutasukka December 22, 2023 ate ogwa December bagufune nga bakomyewo mu January, 2024.
|
Ebyuma by’oku luguudo lw’e Ntebe biddaabirizibwa
|
EKITONGOLE ky’ebyenguudo ekya UNRA kitandise okuzza obuggya ebyuma Guard rails) ebyawulamu oluguudo lw’e Ntebe okuva ku nkulungo y’e Kibuye okutuuka ku y’e Zana. Kiddiridde bingi ku byuma bino okukoonebwa mmotoka ne bigooma ate ebirala ne biviirawo ddala. Abakozi abali ku mulimu guno abataayagadde kwatuukiriza mannya bagamba nti omulimu gutambula bulungi wadde nga bataataaganyiddwa enkuba etonnya buli kiseera. Bbo abatuuze naddala aba Lufuka okutuuka e Zana basanyukidde enteekateeka eno nga bagamba nti aba bodaboda babadde batandise okwewagaanya mu bifo ebyuma bino mwe bitabadde abamu ne batomerwa.
OMWOGEZI w’ekibiina kya ‘To love Children Educational Foundation International’, Heather Nanteza ate nga muyimbi muto awadde essomero lya Bright View Nursery and Primary School erisangibwa e Gili Gili, Pokea mu disitulikiti ya Arua ebitabo 101 bibayambeko ku by’ensoma. Bino baabiwaddeyo ku Lwokusatu ng’ali wamu n’omutandisi w’ekibiina kino, David Kenneth Waldman. Nanteza yagambye tolina ky’oyinza kuwa mwana ne kimugasa nga okumuyambako mu kusoma ky’avudde asalawo amaanyi okugateeka mu masomero. Omukulu w’essomero lino, Drania Rita popo yasiimye bannakyewa bano okuyamba abayizi baabwe.
MU kaweefube w’okulwanyisa obutabanguko mu maka n’okukendeeza ku kusaasaana kw’akawuka akaleeta mukenenya, abakkiriza babuuliriddwa okubuulira enjiri ekyusa emitima gy’abantu nga bakozesa ennyimba n’emizannyo kiyambeko okukendeeza entalo mu maka ezivaako n’abantu okusaasaanya akawuka akaleeta mukenenya. Bino bibabuuliriddwa Annet Mawejje kkansala wa Wakiso mumyuka ku kkanisa ya St. Peters Nakuwadde bwe baabadde batongoza alubaamu y’ennyimba ne vidiyo ez’amaloboozi eza kkwaaya ya Sacred Medolies. Omubuulizi Nathan Muteesi ow’ekkanisa eno yabuuliridde abantu okwekuuma akawuka akaleeta mukenenya.
|
Omuyimbi adduukiridde essomero n’ebitabo
|
OMWOGEZI w’ekibiina kya ‘To love Children Educational Foundation International’, Heather Nanteza ate nga muyimbi muto awadde essomero lya Bright View Nursery and Primary School erisangibwa e Gili Gili, Pokea mu disitulikiti ya Arua ebitabo 101 bibayambeko ku by’ensoma. Bino baabiwaddeyo ku Lwokusatu ng’ali wamu n’omutandisi w’ekibiina kino, David Kenneth Waldman. Nanteza yagambye tolina ky’oyinza kuwa mwana ne kimugasa nga okumuyambako mu kusoma ky’avudde asalawo amaanyi okugateeka mu masomero. Omukulu w’essomero lino, Drania Rita popo yasiimye bannakyewa bano okuyamba abayizi baabwe.
EKITONGOLE ky’ebyenguudo ekya UNRA kitandise okuzza obuggya ebyuma Guard rails) ebyawulamu oluguudo lw’e Ntebe okuva ku nkulungo y’e Kibuye okutuuka ku y’e Zana. Kiddiridde bingi ku byuma bino okukoonebwa mmotoka ne bigooma ate ebirala ne biviirawo ddala. Abakozi abali ku mulimu guno abataayagadde kwatuukiriza mannya bagamba nti omulimu gutambula bulungi wadde nga bataataaganyiddwa enkuba etonnya buli kiseera. Bbo abatuuze naddala aba Lufuka okutuuka e Zana basanyukidde enteekateeka eno nga bagamba nti aba bodaboda babadde batandise okwewagaanya mu bifo ebyuma bino mwe bitabadde abamu ne batomerwa.
RICHARD Miiro 25, ow’e Buwaate mu Wakiso apooceza ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’omukuumi okumukuba amasasi agaamumenye amagumba. Miiro yagambye nti entabwe yavudde ku muwala w’ebbaala gwe yaganza nga tamanyi nti alina enkolagana n’omukuumi ono. Yagambye nti yali anywera mu bbaala omuwala ono mw’aweerereza omwenge, omukuumi gwe yategeddeko erya Ojok n’amulumba ng’amulabula okukomya okuganza omuwala oyo. Yafulumye n’anona emmundu awaka n’amukuba amasasi mu kugulu.
|
Omukuumi akubye omuvubuka essasi lwa muwala

AKULIRA kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama atenderezza omulimu ogw’ettendo ogukolebwa abasomesa mu kugunjula abaana. Yabadde ku ssomero lya Mbarara High School, eriri ku musingi gw’Ekikristaayo. Yagambye nti abasomesa bateekeddwa okussibwamu ekitiibwa kubanga bakola omulimu munene nga buli muntu asomye ayita mu ngalo zaabwe.
Yategeezezza nga Vision Group bw’etadde amaanyi mu byenjigiriza ng’ekuba ebitabo n’okufulumya ebibuuzo mu mpapula zaayo. Yeebazizza abakulembeze b’essomero lino olwettoffaali lye batadde ku ggwanga nga babangula emiti emito wamu n’okukuumira essomero lino ku ntikko. Akulira essomero lino, Ham Ayimbisibwe yeebazizza Wanyama olw’okussa ettoffaali ku byenjigiriza naddala okuteeka ebibuuzo mu mawulire. N’agamba nti okumuyita okubeera omugenyi omukulu ku lunaku lw’essomero, kyayongedde okunyweza enkolagana y’essomero ne Vision Group. Omulabirizi wa Ankole, Fred Sheldon Mwesigwa yasiimye Vision Group olw’okwenyigira mu byenjigiriza n’agamba nti tasuubira nga amawulire mangi agakola ekintu kino.
OMWOGEZI w’ekibiina kya ‘To love Children Educational Foundation International’, Heather Nanteza ate nga muyimbi muto awadde essomero lya Bright View Nursery and Primary School erisangibwa e Gili Gili, Pokea mu disitulikiti ya Arua ebitabo 101 bibayambeko ku by’ensoma. Bino baabiwaddeyo ku Lwokusatu ng’ali wamu n’omutandisi w’ekibiina kino, David Kenneth Waldman. Nanteza yagambye tolina ky’oyinza kuwa mwana ne kimugasa nga okumuyambako mu kusoma ky’avudde asalawo amaanyi okugateeka mu masomero. Omukulu w’essomero lino, Drania Rita popo yasiimye bannakyewa bano okuyamba abayizi baabwe.
|
Don Wanyama atenderezza omulimu ogukolebwa abasomesa
|
AKULIRA kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama atenderezza omulimu ogw’ettendo ogukolebwa abasomesa mu kugunjula abaana. Yabadde ku ssomero lya Mbarara High School, eriri ku musingi gw’Ekikristaayo. Yagambye nti abasomesa bateekeddwa okussibwamu ekitiibwa kubanga bakola omulimu munene nga buli muntu asomye ayita mu ngalo zaabwe.Yategeezezza nga Vision Group bw’etadde amaanyi mu byenjigiriza ng’ekuba ebitabo n’okufulumya ebibuuzo mu mpapula zaayo. Yeebazizza abakulembeze b’essomero lino olwettoffaali lye batadde ku ggwanga nga babangula emiti emito wamu n’okukuumira essomero lino ku ntikko. Akulira essomero lino, Ham Ayimbisibwe yeebazizza Wanyama olw’okussa ettoffaali ku byenjigiriza naddala okuteeka ebibuuzo mu mawulire. N’agamba nti okumuyita okubeera omugenyi omukulu ku lunaku lw’essomero, kyayongedde okunyweza enkolagana y’essomero ne Vision Group. Omulabirizi wa Ankole, Fred Sheldon Mwesigwa yasiimye Vision Group olw’okwenyigira mu byenjigiriza n’agamba nti tasuubira nga amawulire mangi agakola ekintu kino.
AKULIRA kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama atenderezza omulimu ogw’ettendo ogukolebwa abasomesa mu kugunjula abaana. Yabadde ku ssomero lya Mbarara High School, eriri ku musingi gw’Ekikristaayo. Yagambye nti abasomesa bateekeddwa okussibwamu ekitiibwa kubanga bakola omulimu munene nga buli muntu asomye ayita mu ngalo zaabwe.
Yategeezezza nga Vision Group bw’etadde amaanyi mu byenjigiriza ng’ekuba ebitabo n’okufulumya ebibuuzo mu mpapula zaayo. Yeebazizza abakulembeze b’essomero lino olwettoffaali lye batadde ku ggwanga nga babangula emiti emito wamu n’okukuumira essomero lino ku ntikko. Akulira essomero lino, Ham Ayimbisibwe yeebazizza Wanyama olw’okussa ettoffaali ku byenjigiriza naddala okuteeka ebibuuzo mu mawulire. N’agamba nti okumuyita okubeera omugenyi omukulu ku lunaku lw’essomero, kyayongedde okunyweza enkolagana y’essomero ne Vision Group. Omulabirizi wa Ankole, Fred Sheldon Mwesigwa yasiimye Vision Group olw’okwenyigira mu byenjigiriza n’agamba nti tasuubira nga amawulire mangi agakola ekintu kino.
TTULEERA eremeredde omugoba waayo n’esaabala emmotoka ssatu n’oluvannyuma n’eyingirira ekizimbe ky’amaduuka mu kabuga ke Kyabakuza e Masaka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi bye byayonooneddwa.
Florence Nabisere, omu ku baabaddewo yagambye nti ttuleera nnamba UAT 918M, yabadde eva Mbarara n’egaana okusiba okukkakkana ng’etomedde emmotoka ssatu ezaabadde ziva ku ludda lw’e Masaka. Oluvannyuma yayingiridde edduuka eritunda sipeeya n’eyonoona ebintu bingi.
Emmotoka ezaatomeddwa kuliko ttuleera bbiri nnamba ZG 4535 ne UBP176 J ne Toyota TX nnamba UBP 710K. Denis Mirimu, akulira poliisi y’ebidduka mu kibuga Masaka yategeezezza nti tewali muntu yafunye bisago bya maanyi. Poliisi ekyanoonyereza ekyaleese akabenje.
RICHARD Miiro 25, ow’e Buwaate mu Wakiso apooceza ku kitanda mu ddwaaliro e Mulago oluvannyuma lw’omukuumi okumukuba amasasi agaamumenye amagumba. Miiro yagambye nti entabwe yavudde ku muwala w’ebbaala gwe yaganza nga tamanyi nti alina enkolagana n’omukuumi ono. Yagambye nti yali anywera mu bbaala omuwala ono mw’aweerereza omwenge, omukuumi gwe yategeddeko erya Ojok n’amulumba ng’amulabula okukomya okuganza omuwala oyo. Yafulumye n’anona emmundu awaka n’amukuba amasasi mu kugulu.
|
Lukululana esaabadde emmotoka 3
|
TTULEERA eremeredde omugoba waayo n’esaabala emmotoka ssatu n’oluvannyuma n’eyingirira ekizimbe ky’amaduuka mu kabuga ke Kyabakuza e Masaka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi bye byayonooneddwa.Florence Nabisere, omu ku baabaddewo yagambye nti ttuleera nnamba UAT 918M, yabadde eva Mbarara n’egaana okusiba okukkakkana ng’etomedde emmotoka ssatu ezaabadde ziva ku ludda lw’e Masaka. Oluvannyuma yayingiridde edduuka eritunda sipeeya n’eyonoona ebintu bingi.Emmotoka ezaatomeddwa kuliko ttuleera bbiri nnamba ZG 4535 ne UBP176 J ne Toyota TX nnamba UBP 710K. Denis Mirimu, akulira poliisi y’ebidduka mu kibuga Masaka yategeezezza nti tewali muntu yafunye bisago bya maanyi. Poliisi ekyanoonyereza ekyaleese akabenje.
AKULIRA kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama atenderezza omulimu ogw’ettendo ogukolebwa abasomesa mu kugunjula abaana. Yabadde ku ssomero lya Mbarara High School, eriri ku musingi gw’Ekikristaayo. Yagambye nti abasomesa bateekeddwa okussibwamu ekitiibwa kubanga bakola omulimu munene nga buli muntu asomye ayita mu ngalo zaabwe.
Yategeezezza nga Vision Group bw’etadde amaanyi mu byenjigiriza ng’ekuba ebitabo n’okufulumya ebibuuzo mu mpapula zaayo. Yeebazizza abakulembeze b’essomero lino olwettoffaali lye batadde ku ggwanga nga babangula emiti emito wamu n’okukuumira essomero lino ku ntikko. Akulira essomero lino, Ham Ayimbisibwe yeebazizza Wanyama olw’okussa ettoffaali ku byenjigiriza naddala okuteeka ebibuuzo mu mawulire. N’agamba nti okumuyita okubeera omugenyi omukulu ku lunaku lw’essomero, kyayongedde okunyweza enkolagana y’essomero ne Vision Group. Omulabirizi wa Ankole, Fred Sheldon Mwesigwa yasiimye Vision Group olw’okwenyigira mu byenjigiriza n’agamba nti tasuubira nga amawulire mangi agakola ekintu kino.
TTULEERA eremeredde omugoba waayo n’esaabala emmotoka ssatu n’oluvannyuma n’eyingirira ekizimbe ky’amaduuka mu kabuga ke Kyabakuza e Masaka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi bye byayonooneddwa.
Florence Nabisere, omu ku baabaddewo yagambye nti ttuleera nnamba UAT 918M, yabadde eva Mbarara n’egaana okusiba okukkakkana ng’etomedde emmotoka ssatu ezaabadde ziva ku ludda lw’e Masaka. Oluvannyuma yayingiridde edduuka eritunda sipeeya n’eyonoona ebintu bingi.
Emmotoka ezaatomeddwa kuliko ttuleera bbiri nnamba ZG 4535 ne UBP176 J ne Toyota TX nnamba UBP 710K. Denis Mirimu, akulira poliisi y’ebidduka mu kibuga Masaka yategeezezza nti tewali muntu yafunye bisago bya maanyi. Poliisi ekyanoonyereza ekyaleese akabenje.
AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo, Joseph Mulumba aggadde essomero lya Coroh Children’s Foundation P/S, omuyizi eyawambiddwa bannannyini ssomero olw’ebbanja lya ffiizi lya 100,000/-, mwe yeetugidde.
Yasabye abazadde obutatwala baana mu ssomero lino okutuusa nga bamaze okunoonyereza ekyabaddewo. Mulumba yalabudde abasuubira okutandikawo amasomero okusooka okukwata amateeka agabaweebwa minisitule y’ebyenjigiriza beewale okugwa mu nsobi. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Hajji Ramandhan Walugembe yasabye abazadde bakozese akaseera kano nga abaana baabwe bali mu luwummula bababuulirire baleme okuyiga emize. Yasabye abazadde abali mu ttamiiro okulivaamu baweerere abaana mu kifo ky’okwekwasa Gavumenti.
|
Essomero omwafiiridde omwana baliggadde
|
AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo, Joseph Mulumba aggadde essomero lya Coroh Children’s Foundation P/S, omuyizi eyawambiddwa bannannyini ssomero olw’ebbanja lya ffiizi lya 100,000/-, mwe yeetugidde.Yasabye abazadde obutatwala baana mu ssomero lino okutuusa nga bamaze okunoonyereza ekyabaddewo. Mulumba yalabudde abasuubira okutandikawo amasomero okusooka okukwata amateeka agabaweebwa minisitule y’ebyenjigiriza beewale okugwa mu nsobi. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Hajji Ramandhan Walugembe yasabye abazadde bakozese akaseera kano nga abaana baabwe bali mu luwummula bababuulirire baleme okuyiga emize. Yasabye abazadde abali mu ttamiiro okulivaamu baweerere abaana mu kifo ky’okwekwasa Gavumenti.
POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka basatu abagambibwa okusala waya z’amasannyalaze ku kyalo Kataasule mu muluka gw’e Kireku mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero. Abaakwatiddwa ye, Joseph Miiro 23 nga muzimbi e Matugga, George Kakulu 32 nga naye muzimbi okuva e Namasuba ne Rogers Tashobya 35 nga musuubuzi mu zzooni ya Nyanama mu Lubaga.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti okukwata abantu bano kyaddiridde abatuuze okubalaba amatumbibudde nga bawalampa ebikondo basala waya z’amasannyalaze ne batemya ku b’obuyinza omwabadde ne yinginiya akola mu masannyalaze abaabakutte.
TTULEERA eremeredde omugoba waayo n’esaabala emmotoka ssatu n’oluvannyuma n’eyingirira ekizimbe ky’amaduuka mu kabuga ke Kyabakuza e Masaka ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara. Ebintu ebibalirirwa mu bukadde bw’ensimbi bye byayonooneddwa.
Florence Nabisere, omu ku baabaddewo yagambye nti ttuleera nnamba UAT 918M, yabadde eva Mbarara n’egaana okusiba okukkakkana ng’etomedde emmotoka ssatu ezaabadde ziva ku ludda lw’e Masaka. Oluvannyuma yayingiridde edduuka eritunda sipeeya n’eyonoona ebintu bingi.
Emmotoka ezaatomeddwa kuliko ttuleera bbiri nnamba ZG 4535 ne UBP176 J ne Toyota TX nnamba UBP 710K. Denis Mirimu, akulira poliisi y’ebidduka mu kibuga Masaka yategeezezza nti tewali muntu yafunye bisago bya maanyi. Poliisi ekyanoonyereza ekyaleese akabenje.
AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo, Joseph Mulumba aggadde essomero lya Coroh Children’s Foundation P/S, omuyizi eyawambiddwa bannannyini ssomero olw’ebbanja lya ffiizi lya 100,000/-, mwe yeetugidde.
Yasabye abazadde obutatwala baana mu ssomero lino okutuusa nga bamaze okunoonyereza ekyabaddewo. Mulumba yalabudde abasuubira okutandikawo amasomero okusooka okukwata amateeka agabaweebwa minisitule y’ebyenjigiriza beewale okugwa mu nsobi. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Hajji Ramandhan Walugembe yasabye abazadde bakozese akaseera kano nga abaana baabwe bali mu luwummula bababuulirire baleme okuyiga emize. Yasabye abazadde abali mu ttamiiro okulivaamu baweerere abaana mu kifo ky’okwekwasa Gavumenti.
|
Waya z’amasannyalaze zikwasizza abavubuka 3
|
POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka basatu abagambibwa okusala waya z’amasannyalaze ku kyalo Kataasule mu muluka gw’e Kireku mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero. Abaakwatiddwa ye, Joseph Miiro 23 nga muzimbi e Matugga, George Kakulu 32 nga naye muzimbi okuva e Namasuba ne Rogers Tashobya 35 nga musuubuzi mu zzooni ya Nyanama mu Lubaga.Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti okukwata abantu bano kyaddiridde abatuuze okubalaba amatumbibudde nga bawalampa ebikondo basala waya z’amasannyalaze ne batemya ku b’obuyinza omwabadde ne yinginiya akola mu masannyalaze abaabakutte.
POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka basatu abagambibwa okusala waya z’amasannyalaze ku kyalo Kataasule mu muluka gw’e Kireku mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero. Abaakwatiddwa ye, Joseph Miiro 23 nga muzimbi e Matugga, George Kakulu 32 nga naye muzimbi okuva e Namasuba ne Rogers Tashobya 35 nga musuubuzi mu zzooni ya Nyanama mu Lubaga.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti okukwata abantu bano kyaddiridde abatuuze okubalaba amatumbibudde nga bawalampa ebikondo basala waya z’amasannyalaze ne batemya ku b’obuyinza omwabadde ne yinginiya akola mu masannyalaze abaabakutte.
ABA Rotary Club y’e Matugga mu kaweefubbe waabwe ow’okutumbula obuyonjo wamu n’okuweereza abantu bakoze bulungibwansi mu bifo ebyenjawulo mu Matugga. Nga bali wamu n’abakulembeze mu munisipaali ye Nansana, baatutte ekimotoka ekiyoola kasasiro era nga bakira abatuuze babikuhhaanyizaako kasasiro waabwe awatali kusasula wadde ennusu. Abakulembeze mu kitundu kino beebazizza bannalotale olw’omutima omulungi gwe baalaze era ne babasaba okusigala nga babalowoozaako mu ngeri ezitali zimu. Alondoola ebyobuyonjo (Health Inspector), Joshua Kaliro yasabye abatuuze okusigala nga beeyonja kibayambe okubeera n’obulamu obweyagaza. Pulezidenti wa lotale eno, Charles Kayondo yategeezezza nti kino baakikoze okuyamba ku kitundu kyabwe wamu n’okubalaga ekirungi ekiri mu kweyonja.
AKULIRA ebyenjigiriza mu disitulikiti ye Lwengo, Joseph Mulumba aggadde essomero lya Coroh Children’s Foundation P/S, omuyizi eyawambiddwa bannannyini ssomero olw’ebbanja lya ffiizi lya 100,000/-, mwe yeetugidde.
Yasabye abazadde obutatwala baana mu ssomero lino okutuusa nga bamaze okunoonyereza ekyabaddewo. Mulumba yalabudde abasuubira okutandikawo amasomero okusooka okukwata amateeka agabaweebwa minisitule y’ebyenjigiriza beewale okugwa mu nsobi. Omubaka wa pulezidenti mu disitulikiti eno, Hajji Ramandhan Walugembe yasabye abazadde bakozese akaseera kano nga abaana baabwe bali mu luwummula bababuulirire baleme okuyiga emize. Yasabye abazadde abali mu ttamiiro okulivaamu baweerere abaana mu kifo ky’okwekwasa Gavumenti.
|
Bannalotale balaze abatuuze omugaso gw’obuyonjo
|
ABA Rotary Club y’e Matugga mu kaweefubbe waabwe ow’okutumbula obuyonjo wamu n’okuweereza abantu bakoze bulungibwansi mu bifo ebyenjawulo mu Matugga. Nga bali wamu n’abakulembeze mu munisipaali ye Nansana, baatutte ekimotoka ekiyoola kasasiro era nga bakira abatuuze babikuhhaanyizaako kasasiro waabwe awatali kusasula wadde ennusu. Abakulembeze mu kitundu kino beebazizza bannalotale olw’omutima omulungi gwe baalaze era ne babasaba okusigala nga babalowoozaako mu ngeri ezitali zimu. Alondoola ebyobuyonjo (Health Inspector), Joshua Kaliro yasabye abatuuze okusigala nga beeyonja kibayambe okubeera n’obulamu obweyagaza. Pulezidenti wa lotale eno, Charles Kayondo yategeezezza nti kino baakikoze okuyamba ku kitundu kyabwe wamu n’okubalaga ekirungi ekiri mu kweyonja.
POLIISI y’e Luweero ekutte abavubuka basatu abagambibwa okusala waya z’amasannyalaze ku kyalo Kataasule mu muluka gw’e Kireku mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero. Abaakwatiddwa ye, Joseph Miiro 23 nga muzimbi e Matugga, George Kakulu 32 nga naye muzimbi okuva e Namasuba ne Rogers Tashobya 35 nga musuubuzi mu zzooni ya Nyanama mu Lubaga.
Omwogezi wa poliisi mu Savana, Sam Twineamazima yategeezezza nti okukwata abantu bano kyaddiridde abatuuze okubalaba amatumbibudde nga bawalampa ebikondo basala waya z’amasannyalaze ne batemya ku b’obuyinza omwabadde ne yinginiya akola mu masannyalaze abaabakutte.
AKULIRA Bamaseeka mu masomero g’Abusha, Sheikh Abudul Kareem Matovu yennyamidde ku lw’Abasiraamu abaweddemu omwoyo gw’eddiini n’agamba nti kiraga ekifaananyi kibi eri emiti emito. Okwogera bino, yabadde aggulawo omuzikiti gwa Masjid Ali e Bombo Nkokonjeru ogwabazimbiddwa Bamasheikh okuva e Iganga nga bakolaganira wamu n’ekitongole kya Kalume Foundation. Sheikh Matovu yagambye nti omuzikiti ddwaaliro eriwonya kubanga buli lw’osaba Allah akwanukula n’ekyo kyennyini ky’omusabye era n’owonyezebwa. Sheikh Osman Gongo okuva e Iganga yabategeezezza nti ekibazimbisizza omuzikiti guno kwe kubangula emiti emito naddala mu ddiini n’asaba abazadde okutwala abaana baabwe mu muzikiti.
|
Yennyamidde olwa Bamasheikh abaweddemu eddiini

ENKUBA etonnya obutasalako eyonoonye ekkubo erigatta Kitega, Ddandira, Namumira, Nsuube, Wantoni okutuuka mu kibuga Mukono n’okuyita e Lweza. Abatuuze n’abakulembeze basobeddwa ne basalawo okussa emiti mu kkubo okutangira abantu okukozesa oluguudo luno nga batidde nti bandifuna obuzibu. Abakozesa ekkubo lino okusingira ddala aba bodaboda embeera eno baagitadde ku bakulembeze baabwe be bagamba nti tebabafuddeeko. Baasabye minisita w’ebyenguudo Gen. Katumba Wamala okubataasa. Abakulembeze bagamba nti ekyetaagisa kwe kuzimba omwala guno ng’enguudo ziyita waggulu kubanga enkuba bw’etonnya amazzi gabeera mangi nga geetaaga omwala omunene okwewala amataba.
ABA Rotary Club y’e Matugga mu kaweefubbe waabwe ow’okutumbula obuyonjo wamu n’okuweereza abantu bakoze bulungibwansi mu bifo ebyenjawulo mu Matugga. Nga bali wamu n’abakulembeze mu munisipaali ye Nansana, baatutte ekimotoka ekiyoola kasasiro era nga bakira abatuuze babikuhhaanyizaako kasasiro waabwe awatali kusasula wadde ennusu. Abakulembeze mu kitundu kino beebazizza bannalotale olw’omutima omulungi gwe baalaze era ne babasaba okusigala nga babalowoozaako mu ngeri ezitali zimu. Alondoola ebyobuyonjo (Health Inspector), Joshua Kaliro yasabye abatuuze okusigala nga beeyonja kibayambe okubeera n’obulamu obweyagaza. Pulezidenti wa lotale eno, Charles Kayondo yategeezezza nti kino baakikoze okuyamba ku kitundu kyabwe wamu n’okubalaga ekirungi ekiri mu kweyonja.
|
Ab’e Mukono bakaaba lwa luguudo oluzzeemu okugwaamu
|
ENKUBA etonnya obutasalako eyonoonye ekkubo erigatta Kitega, Ddandira, Namumira, Nsuube, Wantoni okutuuka mu kibuga Mukono n’okuyita e Lweza. Abatuuze n’abakulembeze basobeddwa ne basalawo okussa emiti mu kkubo okutangira abantu okukozesa oluguudo luno nga batidde nti bandifuna obuzibu. Abakozesa ekkubo lino okusingira ddala aba bodaboda embeera eno baagitadde ku bakulembeze baabwe be bagamba nti tebabafuddeeko. Baasabye minisita w’ebyenguudo Gen. Katumba Wamala okubataasa. Abakulembeze bagamba nti ekyetaagisa kwe kuzimba omwala guno ng’enguudo ziyita waggulu kubanga enkuba bw’etonnya amazzi gabeera mangi nga geetaaga omwala omunene okwewala amataba.
ABABBI ab’ebiso abatambulira mu bibinja nga bwe babba n’okutuusa okubalabe ku abantu batadde ab’e Mulago ku bunkenke Abatuuze bagamba abamenyi b’amateeka bano tebakyaliko kiro oba misana abantu babateega n’emisana ttuku. Abamu kigambibwa baba bambadde mpale za poliisi oba ebikooti by’amagye.
Ssentebe wa Kafeero zooni, Swaib Bogere yagambye nti ababbi bano tebakoma ku kuteega bantu mu makubo wabula basala n’amabaati ku nju ne bagwa munda olwo be basanga mu nju ekiro ne babateekako ebiso ku bulago ne babakanda ssente n’okunyagulula buli kintu.
Jane Nalwanga yagambye nti poliisi y’oku Kapapaali e Mulago bazze bagibulira abakyamu n’ebifo eby’obulabe naye tebafaayo ng’ebikwekweto ebikolebwa bibaako n’ebigendererwa kuba ate abakwatibwa nga bamannyikiddwa nti bakyamu ate bayimbulwa. Yagasseko nti obubbi bw’ebiso tebwali mu Mulago butandiise butandisi ekibatadde ku bunkenke .
OWA MOBILE MONEY BAAMUTEMYE NE BAMUBBAKO BUKADDE
Nashib Kizito 34 alina mobile money mu katale k’e Mulago yategeezezza nti omwezi oguwedde yabadde mu mmotoka yaabwe ekika kya Alex bwe baatuuse ku Nabukenya Road baasanzewo akalipagaano k’ebidduka we yalabidde abasajja 6 nga babuuka ku bodaboda ne batandiika okutema endabirwamu z’emmotaka yaabwe nga bwe babasaba ssente. Yageezezzaako okubagamba nga bwe batalina ssente ne bamutema ekiso ku mutwe ne bamwongera mu maaso nga bwe baamugamba nti omukyala alina ensawo omuli ssente.
Yagasseeko nti omukyala tebaamutemye naye baamusambyesambye n’omuvubuka omulala eyabadde mu mmotoka oluvannyuma ne batwala ssente obukadde 52, amasimu n’ebyuma bye bakozesa. Ekyasinze okumwewunyisa zaabaadde ssaawa emu eyakawungeezi nga yadde baakuba enduulu abantu baatya okugenda okubataasa. Omusango guli poliisi ye Wandegeya ku CRB 935/2023
EBIFO EBYOBULABE
Ow’ebyokwerinda mu muluka gwa Mulago II, Abdul Mugisha yategeezezza nti ebifo ebisinga okuba eby’obulabe kuliko ku Limbo, ku Byangwe, ekkubo erigenda ku ddwaaliro e Mulago, ku nkulungo y’oku biri ku Luzzi, mu Kiwonvu , oluguudo lwa Mawanda n’ebifo ebiziyivu.
Luke Owesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yawadde abatuuze amagezi nti singa poliisi y’omu kitundu tebayamba bagende ku y’e Wandegeya abakyamu banoonyezebwa. Yasabye abatuuze okukolagana ne poliisi okugibuulira abakyamu kuba teri ali wagulu w’amateeka .
Ssentebe Boogere obuzibu yabutade ku bazadde nti e basinze okuvaako obuzibu nga tebaagala ku bagambira ku baana .
AKULIRA Bamaseeka mu masomero g’Abusha, Sheikh Abudul Kareem Matovu yennyamidde ku lw’Abasiraamu abaweddemu omwoyo gw’eddiini n’agamba nti kiraga ekifaananyi kibi eri emiti emito. Okwogera bino, yabadde aggulawo omuzikiti gwa Masjid Ali e Bombo Nkokonjeru ogwabazimbiddwa Bamasheikh okuva e Iganga nga bakolaganira wamu n’ekitongole kya Kalume Foundation. Sheikh Matovu yagambye nti omuzikiti ddwaaliro eriwonya kubanga buli lw’osaba Allah akwanukula n’ekyo kyennyini ky’omusabye era n’owonyezebwa. Sheikh Osman Gongo okuva e Iganga yabategeezezza nti ekibazimbisizza omuzikiti guno kwe kubangula emiti emito naddala mu ddiini n’asaba abazadde okutwala abaana baabwe mu muzikiti.
|
Abeebiso basattiza abatuuze b’e Mulago
|
ABABBI ab’ebiso abatambulira mu bibinja nga bwe babba n’okutuusa okubalabe ku abantu batadde ab’e Mulago ku bunkenke Abatuuze bagamba abamenyi b’amateeka bano tebakyaliko kiro oba misana abantu babateega n’emisana ttuku. Abamu kigambibwa baba bambadde mpale za poliisi oba ebikooti by’amagye.Ssentebe wa Kafeero zooni, Swaib Bogere yagambye nti ababbi bano tebakoma ku kuteega bantu mu makubo wabula basala n’amabaati ku nju ne bagwa munda olwo be basanga mu nju ekiro ne babateekako ebiso ku bulago ne babakanda ssente n’okunyagulula buli kintu.Jane Nalwanga yagambye nti poliisi y’oku Kapapaali e Mulago bazze bagibulira abakyamu n’ebifo eby’obulabe naye tebafaayo ng’ebikwekweto ebikolebwa bibaako n’ebigendererwa kuba ate abakwatibwa nga bamannyikiddwa nti bakyamu ate bayimbulwa. Yagasseko nti obubbi bw’ebiso tebwali mu Mulago butandiise butandisi ekibatadde ku bunkenke .OWA MOBILE MONEY BAAMUTEMYE NE BAMUBBAKO BUKADDE Nashib Kizito 34 alina mobile money mu katale k’e Mulago yategeezezza nti omwezi oguwedde yabadde mu mmotoka yaabwe ekika kya Alex bwe baatuuse ku Nabukenya Road baasanzewo akalipagaano k’ebidduka we yalabidde abasajja 6 nga babuuka ku bodaboda ne batandiika okutema endabirwamu z’emmotaka yaabwe nga bwe babasaba ssente. Yageezezzaako okubagamba nga bwe batalina ssente ne bamutema ekiso ku mutwe ne bamwongera mu maaso nga bwe baamugamba nti omukyala alina ensawo omuli ssente.Yagasseeko nti omukyala tebaamutemye naye baamusambyesambye n’omuvubuka omulala eyabadde mu mmotoka oluvannyuma ne batwala ssente obukadde 52, amasimu n’ebyuma bye bakozesa. Ekyasinze okumwewunyisa zaabaadde ssaawa emu eyakawungeezi nga yadde baakuba enduulu abantu baatya okugenda okubataasa. Omusango guli poliisi ye Wandegeya ku CRB 935/2023 EBIFO EBYOBULABE Ow’ebyokwerinda mu muluka gwa Mulago II, Abdul Mugisha yategeezezza nti ebifo ebisinga okuba eby’obulabe kuliko ku Limbo, ku Byangwe, ekkubo erigenda ku ddwaaliro e Mulago, ku nkulungo y’oku biri ku Luzzi, mu Kiwonvu , oluguudo lwa Mawanda n’ebifo ebiziyivu.Luke Owesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yawadde abatuuze amagezi nti singa poliisi y’omu kitundu tebayamba bagende ku y’e Wandegeya abakyamu banoonyezebwa. Yasabye abatuuze okukolagana ne poliisi okugibuulira abakyamu kuba teri ali wagulu w’amateeka .Ssentebe Boogere obuzibu yabutade ku bazadde nti e basinze okuvaako obuzibu nga tebaagala ku bagambira ku baana .
ENKUBA etonnya obutasalako eyonoonye ekkubo erigatta Kitega, Ddandira, Namumira, Nsuube, Wantoni okutuuka mu kibuga Mukono n’okuyita e Lweza. Abatuuze n’abakulembeze basobeddwa ne basalawo okussa emiti mu kkubo okutangira abantu okukozesa oluguudo luno nga batidde nti bandifuna obuzibu. Abakozesa ekkubo lino okusingira ddala aba bodaboda embeera eno baagitadde ku bakulembeze baabwe be bagamba nti tebabafuddeeko. Baasabye minisita w’ebyenguudo Gen. Katumba Wamala okubataasa. Abakulembeze bagamba nti ekyetaagisa kwe kuzimba omwala guno ng’enguudo ziyita waggulu kubanga enkuba bw’etonnya amazzi gabeera mangi nga geetaaga omwala omunene okwewala amataba.
ABABBI ab’ebiso abatambulira mu bibinja nga bwe babba n’okutuusa okubalabe ku abantu batadde ab’e Mulago ku bunkenke Abatuuze bagamba abamenyi b’amateeka bano tebakyaliko kiro oba misana abantu babateega n’emisana ttuku. Abamu kigambibwa baba bambadde mpale za poliisi oba ebikooti by’amagye.
Ssentebe wa Kafeero zooni, Swaib Bogere yagambye nti ababbi bano tebakoma ku kuteega bantu mu makubo wabula basala n’amabaati ku nju ne bagwa munda olwo be basanga mu nju ekiro ne babateekako ebiso ku bulago ne babakanda ssente n’okunyagulula buli kintu.
Jane Nalwanga yagambye nti poliisi y’oku Kapapaali e Mulago bazze bagibulira abakyamu n’ebifo eby’obulabe naye tebafaayo ng’ebikwekweto ebikolebwa bibaako n’ebigendererwa kuba ate abakwatibwa nga bamannyikiddwa nti bakyamu ate bayimbulwa. Yagasseko nti obubbi bw’ebiso tebwali mu Mulago butandiise butandisi ekibatadde ku bunkenke .
OWA MOBILE MONEY BAAMUTEMYE NE BAMUBBAKO BUKADDE
Nashib Kizito 34 alina mobile money mu katale k’e Mulago yategeezezza nti omwezi oguwedde yabadde mu mmotoka yaabwe ekika kya Alex bwe baatuuse ku Nabukenya Road baasanzewo akalipagaano k’ebidduka we yalabidde abasajja 6 nga babuuka ku bodaboda ne batandiika okutema endabirwamu z’emmotaka yaabwe nga bwe babasaba ssente. Yageezezzaako okubagamba nga bwe batalina ssente ne bamutema ekiso ku mutwe ne bamwongera mu maaso nga bwe baamugamba nti omukyala alina ensawo omuli ssente.
Yagasseeko nti omukyala tebaamutemye naye baamusambyesambye n’omuvubuka omulala eyabadde mu mmotoka oluvannyuma ne batwala ssente obukadde 52, amasimu n’ebyuma bye bakozesa. Ekyasinze okumwewunyisa zaabaadde ssaawa emu eyakawungeezi nga yadde baakuba enduulu abantu baatya okugenda okubataasa. Omusango guli poliisi ye Wandegeya ku CRB 935/2023
EBIFO EBYOBULABE
Ow’ebyokwerinda mu muluka gwa Mulago II, Abdul Mugisha yategeezezza nti ebifo ebisinga okuba eby’obulabe kuliko ku Limbo, ku Byangwe, ekkubo erigenda ku ddwaaliro e Mulago, ku nkulungo y’oku biri ku Luzzi, mu Kiwonvu , oluguudo lwa Mawanda n’ebifo ebiziyivu.
Luke Owesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yawadde abatuuze amagezi nti singa poliisi y’omu kitundu tebayamba bagende ku y’e Wandegeya abakyamu banoonyezebwa. Yasabye abatuuze okukolagana ne poliisi okugibuulira abakyamu kuba teri ali wagulu w’amateeka .
Ssentebe Boogere obuzibu yabutade ku bazadde nti e basinze okuvaako obuzibu nga tebaagala ku bagambira ku baana .
David Mataama: Abazadde bakoze ky’amaanyi okuwagira abaana baabwe mu bumenyi bw’amateeka nga babagaanira ku ky’okwenyigira mu buzzi bw’emisango ne bateeka empalana ku bakulembeze.
Benna Kobusingye: Ebitongole ebikuuma ddembe birina okukomya okutambulira mu yunifoomu nga bakola ebikwekweto bwe baba bakukwata bamenyi b’amateeka nga abo. Bambaleko leeya.
Robert Kalyango: Obubbi bw’ebiso obuli ku Mulago obuzibu bwonna buvudde ku bunafu bwa LC ne poliisi kuba omubbi ne bwakwatibwa leero, enkya ababeera bweru. Poliisi yeetereze mu nkola.
|
Abantu bye bagamba
|
David Mataama: Abazadde bakoze ky’amaanyi okuwagira abaana baabwe mu bumenyi bw’amateeka nga babagaanira ku ky’okwenyigira mu buzzi bw’emisango ne bateeka empalana ku bakulembeze.Benna Kobusingye: Ebitongole ebikuuma ddembe birina okukomya okutambulira mu yunifoomu nga bakola ebikwekweto bwe baba bakukwata bamenyi b’amateeka nga abo. Bambaleko leeya.Robert Kalyango: Obubbi bw’ebiso obuli ku Mulago obuzibu bwonna buvudde ku bunafu bwa LC ne poliisi kuba omubbi ne bwakwatibwa leero, enkya ababeera bweru. Poliisi yeetereze mu nkola.
OLUTALO lw’abatuuze ku ttaka ku ly’enkambi ya poliisi e Kireka n’ebitundu ebyetooloddewo lukyalanda, minisita Kahinda Otafire bwalagidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochora akakkanye embeera y’obunkenke eri mu kitundu ekyo.
Mu kiseera ky’ekimu akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu kawabudde abatuuze abaakatwalidde ensonga nti bagende mu kkooti baggulewo omusango ku poliisi gye beemulugunyako. Wiiki ewedde , abatuuze beekubidde enduulu ewa Loodi mmeeya Erias Lukwago ne basaba abalwanirire .
Yabasitudde n’abatwaala mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu ne bamukwaasa lipooti eyabadde erambulula ku ngeri gye bagobeddwa ku ttaka mu bukyamu. Lipooti yaggyeeyo poliisi nti ebatulugunyizza era basaba bayambibwe.
Mu lukiiko, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya eyabadde ne ba kaminsona be bonna okwabadde Shifrah Lukwago , Simeo Nsubuga eyali omubaka wa palamenti n’abalala. Yabakakasizza nti agenda kutunula mu nsonga zaabwe abawabule.
Abatuuze baabadde bamusabe waakiri atuukeko ku ttaka alabe bye bamutegeeza nga bwe biyimiridde. Kyokka nga November 23 omwaka guno, yawandiikidde Loodi mmeeya ebbaluwa ng’amutegeeza nti abatuuze bagende mu kkooti kubanga ekitongole ky’ebeemulugunyako kyekikwasisa amateeka.
Ku nsonga y’emu, omubaka i Ronald Balimwezo n’abakulembeze abalala baabadde baabadde beekubidde enduulu ewa Minisita ye n’alagira batuule ne akulira poliisi ensonga bazimalirize.
Abatuuze beemulugunya nti poliisi yabasengula ku ttaka ate n’emenya n’okwonoona ebyamaguzi byabwe ng’ekiseera kino bali mu mbeera mbi.
ABABBI ab’ebiso abatambulira mu bibinja nga bwe babba n’okutuusa okubalabe ku abantu batadde ab’e Mulago ku bunkenke Abatuuze bagamba abamenyi b’amateeka bano tebakyaliko kiro oba misana abantu babateega n’emisana ttuku. Abamu kigambibwa baba bambadde mpale za poliisi oba ebikooti by’amagye.
Ssentebe wa Kafeero zooni, Swaib Bogere yagambye nti ababbi bano tebakoma ku kuteega bantu mu makubo wabula basala n’amabaati ku nju ne bagwa munda olwo be basanga mu nju ekiro ne babateekako ebiso ku bulago ne babakanda ssente n’okunyagulula buli kintu.
Jane Nalwanga yagambye nti poliisi y’oku Kapapaali e Mulago bazze bagibulira abakyamu n’ebifo eby’obulabe naye tebafaayo ng’ebikwekweto ebikolebwa bibaako n’ebigendererwa kuba ate abakwatibwa nga bamannyikiddwa nti bakyamu ate bayimbulwa. Yagasseko nti obubbi bw’ebiso tebwali mu Mulago butandiise butandisi ekibatadde ku bunkenke .
OWA MOBILE MONEY BAAMUTEMYE NE BAMUBBAKO BUKADDE
Nashib Kizito 34 alina mobile money mu katale k’e Mulago yategeezezza nti omwezi oguwedde yabadde mu mmotoka yaabwe ekika kya Alex bwe baatuuse ku Nabukenya Road baasanzewo akalipagaano k’ebidduka we yalabidde abasajja 6 nga babuuka ku bodaboda ne batandiika okutema endabirwamu z’emmotaka yaabwe nga bwe babasaba ssente. Yageezezzaako okubagamba nga bwe batalina ssente ne bamutema ekiso ku mutwe ne bamwongera mu maaso nga bwe baamugamba nti omukyala alina ensawo omuli ssente.
Yagasseeko nti omukyala tebaamutemye naye baamusambyesambye n’omuvubuka omulala eyabadde mu mmotoka oluvannyuma ne batwala ssente obukadde 52, amasimu n’ebyuma bye bakozesa. Ekyasinze okumwewunyisa zaabaadde ssaawa emu eyakawungeezi nga yadde baakuba enduulu abantu baatya okugenda okubataasa. Omusango guli poliisi ye Wandegeya ku CRB 935/2023
EBIFO EBYOBULABE
Ow’ebyokwerinda mu muluka gwa Mulago II, Abdul Mugisha yategeezezza nti ebifo ebisinga okuba eby’obulabe kuliko ku Limbo, ku Byangwe, ekkubo erigenda ku ddwaaliro e Mulago, ku nkulungo y’oku biri ku Luzzi, mu Kiwonvu , oluguudo lwa Mawanda n’ebifo ebiziyivu.
Luke Owesigyire omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano yawadde abatuuze amagezi nti singa poliisi y’omu kitundu tebayamba bagende ku y’e Wandegeya abakyamu banoonyezebwa. Yasabye abatuuze okukolagana ne poliisi okugibuulira abakyamu kuba teri ali wagulu w’amateeka .
Ssentebe Boogere obuzibu yabutade ku bazadde nti e basinze okuvaako obuzibu nga tebaagala ku bagambira ku baana .
David Mataama: Abazadde bakoze ky’amaanyi okuwagira abaana baabwe mu bumenyi bw’amateeka nga babagaanira ku ky’okwenyigira mu buzzi bw’emisango ne bateeka empalana ku bakulembeze.
Benna Kobusingye: Ebitongole ebikuuma ddembe birina okukomya okutambulira mu yunifoomu nga bakola ebikwekweto bwe baba bakukwata bamenyi b’amateeka nga abo. Bambaleko leeya.
Robert Kalyango: Obubbi bw’ebiso obuli ku Mulago obuzibu bwonna buvudde ku bunafu bwa LC ne poliisi kuba omubbi ne bwakwatibwa leero, enkya ababeera bweru. Poliisi yeetereze mu nkola.
|
Minisita Otafire alagidde ku by’ettaka e Kireka
|
OLUTALO lw’abatuuze ku ttaka ku ly’enkambi ya poliisi e Kireka n’ebitundu ebyetooloddewo lukyalanda, minisita Kahinda Otafire bwalagidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochora akakkanye embeera y’obunkenke eri mu kitundu ekyo.Mu kiseera ky’ekimu akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu kawabudde abatuuze abaakatwalidde ensonga nti bagende mu kkooti baggulewo omusango ku poliisi gye beemulugunyako. Wiiki ewedde , abatuuze beekubidde enduulu ewa Loodi mmeeya Erias Lukwago ne basaba abalwanirire .Yabasitudde n’abatwaala mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu ne bamukwaasa lipooti eyabadde erambulula ku ngeri gye bagobeddwa ku ttaka mu bukyamu. Lipooti yaggyeeyo poliisi nti ebatulugunyizza era basaba bayambibwe.Mu lukiiko, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya eyabadde ne ba kaminsona be bonna okwabadde Shifrah Lukwago , Simeo Nsubuga eyali omubaka wa palamenti n’abalala. Yabakakasizza nti agenda kutunula mu nsonga zaabwe abawabule.Abatuuze baabadde bamusabe waakiri atuukeko ku ttaka alabe bye bamutegeeza nga bwe biyimiridde. Kyokka nga November 23 omwaka guno, yawandiikidde Loodi mmeeya ebbaluwa ng’amutegeeza nti abatuuze bagende mu kkooti kubanga ekitongole ky’ebeemulugunyako kyekikwasisa amateeka.Ku nsonga y’emu, omubaka i Ronald Balimwezo n’abakulembeze abalala baabadde baabadde beekubidde enduulu ewa Minisita ye n’alagira batuule ne akulira poliisi ensonga bazimalirize.Abatuuze beemulugunya nti poliisi yabasengula ku ttaka ate n’emenya n’okwonoona ebyamaguzi byabwe ng’ekiseera kino bali mu mbeera mbi.
OLUTALO lw’abatuuze ku ttaka ku ly’enkambi ya poliisi e Kireka n’ebitundu ebyetooloddewo lukyalanda, minisita Kahinda Otafire bwalagidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochora akakkanye embeera y’obunkenke eri mu kitundu ekyo.
Mu kiseera ky’ekimu akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu kawabudde abatuuze abaakatwalidde ensonga nti bagende mu kkooti baggulewo omusango ku poliisi gye beemulugunyako. Wiiki ewedde , abatuuze beekubidde enduulu ewa Loodi mmeeya Erias Lukwago ne basaba abalwanirire .
Yabasitudde n’abatwaala mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu ne bamukwaasa lipooti eyabadde erambulula ku ngeri gye bagobeddwa ku ttaka mu bukyamu. Lipooti yaggyeeyo poliisi nti ebatulugunyizza era basaba bayambibwe.
Mu lukiiko, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya eyabadde ne ba kaminsona be bonna okwabadde Shifrah Lukwago , Simeo Nsubuga eyali omubaka wa palamenti n’abalala. Yabakakasizza nti agenda kutunula mu nsonga zaabwe abawabule.
Abatuuze baabadde bamusabe waakiri atuukeko ku ttaka alabe bye bamutegeeza nga bwe biyimiridde. Kyokka nga November 23 omwaka guno, yawandiikidde Loodi mmeeya ebbaluwa ng’amutegeeza nti abatuuze bagende mu kkooti kubanga ekitongole ky’ebeemulugunyako kyekikwasisa amateeka.
Ku nsonga y’emu, omubaka i Ronald Balimwezo n’abakulembeze abalala baabadde baabadde beekubidde enduulu ewa Minisita ye n’alagira batuule ne akulira poliisi ensonga bazimalirize.
Abatuuze beemulugunya nti poliisi yabasengula ku ttaka ate n’emenya n’okwonoona ebyamaguzi byabwe ng’ekiseera kino bali mu mbeera mbi.
MANEJA wa bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB) agambibwa okujingirira omukono gwa kasitoma n’aggyanga sente ku akawunti ye ng’akozesa ceeke ezisoba mu dollar 4,000 byongedde okumukalubirira omulamuzi bw’agaanyi okuddamu okuwulira okusaba kwe okw’okumweyimirira.
Grace Busingye omutuuze w’e Kabowa maneja wa bbanka ya DTB ku ttabi lyo mu Kikuubo ye yakomezeddwaawo mu kkooti ya Buganda Road okuva mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa oluvannyuma lw’omulamuzi Ronald Kayizzi okugaana okusaba kwe okw’okumweyimirirwa oluvannyuma lw’abajja okumweyiirira obutabeera na bisaanyizo.
Busingye avunaanibwa emisango 36 egy’okugingirira omukono gwa Kim Hyun Ki, okuwaayo empapula enjingirire, okubba Ceeke n’okubba ssente okuva ku akawunti ya Kim nnamba 0004871002 ng’emisango gino kigambibwa nti yagizza wakati wa nga September 2022 ne Febuary 2023 ku ttabi lya DTB ery’omu Kikuubo ne ku Old Kampala.
Eggulo Busingye yabadde akomezeddwawo mu kkooti okutandika okuwulira obujulizi ku misango egimuvunaanibwa era oludda oluwaabi nga lukumbeddwamu omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze lwabadde luleese omujulizi waalwo asooka nga y’akulira ebyokwerinda mu bbanka.
Wabula, kkooti teyasobodde kugenda mu maaso na kuwulira musango oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuba nga terunawa puliida wa Busingye obumu ku bujulizi bwe lugenda okwesigamako mu musango.
David Mataama: Abazadde bakoze ky’amaanyi okuwagira abaana baabwe mu bumenyi bw’amateeka nga babagaanira ku ky’okwenyigira mu buzzi bw’emisango ne bateeka empalana ku bakulembeze.
Benna Kobusingye: Ebitongole ebikuuma ddembe birina okukomya okutambulira mu yunifoomu nga bakola ebikwekweto bwe baba bakukwata bamenyi b’amateeka nga abo. Bambaleko leeya.
Robert Kalyango: Obubbi bw’ebiso obuli ku Mulago obuzibu bwonna buvudde ku bunafu bwa LC ne poliisi kuba omubbi ne bwakwatibwa leero, enkya ababeera bweru. Poliisi yeetereze mu nkola.
|
Maneja wa bbanka ali ku gwa kubba ssente za kasitoma ku akawunti
|
MANEJA wa bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB) agambibwa okujingirira omukono gwa kasitoma n’aggyanga sente ku akawunti ye ng’akozesa ceeke ezisoba mu dollar 4,000 byongedde okumukalubirira omulamuzi bw’agaanyi okuddamu okuwulira okusaba kwe okw’okumweyimirira.Grace Busingye omutuuze w’e Kabowa maneja wa bbanka ya DTB ku ttabi lyo mu Kikuubo ye yakomezeddwaawo mu kkooti ya Buganda Road okuva mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa oluvannyuma lw’omulamuzi Ronald Kayizzi okugaana okusaba kwe okw’okumweyimirirwa oluvannyuma lw’abajja okumweyiirira obutabeera na bisaanyizo.Busingye avunaanibwa emisango 36 egy’okugingirira omukono gwa Kim Hyun Ki, okuwaayo empapula enjingirire, okubba Ceeke n’okubba ssente okuva ku akawunti ya Kim nnamba 0004871002 ng’emisango gino kigambibwa nti yagizza wakati wa nga September 2022 ne Febuary 2023 ku ttabi lya DTB ery’omu Kikuubo ne ku Old Kampala.Eggulo Busingye yabadde akomezeddwawo mu kkooti okutandika okuwulira obujulizi ku misango egimuvunaanibwa era oludda oluwaabi nga lukumbeddwamu omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze lwabadde luleese omujulizi waalwo asooka nga y’akulira ebyokwerinda mu bbanka.Wabula, kkooti teyasobodde kugenda mu maaso na kuwulira musango oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuba nga terunawa puliida wa Busingye obumu ku bujulizi bwe lugenda okwesigamako mu musango.
OLUTALO lw’abatuuze ku ttaka ku ly’enkambi ya poliisi e Kireka n’ebitundu ebyetooloddewo lukyalanda, minisita Kahinda Otafire bwalagidde Ssaabaduumizi wa poliisi, Okoth Ochora akakkanye embeera y’obunkenke eri mu kitundu ekyo.
Mu kiseera ky’ekimu akakiiko akakola ku ddembe ly’obuntu kawabudde abatuuze abaakatwalidde ensonga nti bagende mu kkooti baggulewo omusango ku poliisi gye beemulugunyako. Wiiki ewedde , abatuuze beekubidde enduulu ewa Loodi mmeeya Erias Lukwago ne basaba abalwanirire .
Yabasitudde n’abatwaala mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu ne bamukwaasa lipooti eyabadde erambulula ku ngeri gye bagobeddwa ku ttaka mu bukyamu. Lipooti yaggyeeyo poliisi nti ebatulugunyizza era basaba bayambibwe.
Mu lukiiko, akulira akakiiko k’eddembe ly’obuntu Mariam Wangadya eyabadde ne ba kaminsona be bonna okwabadde Shifrah Lukwago , Simeo Nsubuga eyali omubaka wa palamenti n’abalala. Yabakakasizza nti agenda kutunula mu nsonga zaabwe abawabule.
Abatuuze baabadde bamusabe waakiri atuukeko ku ttaka alabe bye bamutegeeza nga bwe biyimiridde. Kyokka nga November 23 omwaka guno, yawandiikidde Loodi mmeeya ebbaluwa ng’amutegeeza nti abatuuze bagende mu kkooti kubanga ekitongole ky’ebeemulugunyako kyekikwasisa amateeka.
Ku nsonga y’emu, omubaka i Ronald Balimwezo n’abakulembeze abalala baabadde baabadde beekubidde enduulu ewa Minisita ye n’alagira batuule ne akulira poliisi ensonga bazimalirize.
Abatuuze beemulugunya nti poliisi yabasengula ku ttaka ate n’emenya n’okwonoona ebyamaguzi byabwe ng’ekiseera kino bali mu mbeera mbi.
MANEJA wa bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB) agambibwa okujingirira omukono gwa kasitoma n’aggyanga sente ku akawunti ye ng’akozesa ceeke ezisoba mu dollar 4,000 byongedde okumukalubirira omulamuzi bw’agaanyi okuddamu okuwulira okusaba kwe okw’okumweyimirira.
Grace Busingye omutuuze w’e Kabowa maneja wa bbanka ya DTB ku ttabi lyo mu Kikuubo ye yakomezeddwaawo mu kkooti ya Buganda Road okuva mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa oluvannyuma lw’omulamuzi Ronald Kayizzi okugaana okusaba kwe okw’okumweyimirirwa oluvannyuma lw’abajja okumweyiirira obutabeera na bisaanyizo.
Busingye avunaanibwa emisango 36 egy’okugingirira omukono gwa Kim Hyun Ki, okuwaayo empapula enjingirire, okubba Ceeke n’okubba ssente okuva ku akawunti ya Kim nnamba 0004871002 ng’emisango gino kigambibwa nti yagizza wakati wa nga September 2022 ne Febuary 2023 ku ttabi lya DTB ery’omu Kikuubo ne ku Old Kampala.
Eggulo Busingye yabadde akomezeddwawo mu kkooti okutandika okuwulira obujulizi ku misango egimuvunaanibwa era oludda oluwaabi nga lukumbeddwamu omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze lwabadde luleese omujulizi waalwo asooka nga y’akulira ebyokwerinda mu bbanka.
Wabula, kkooti teyasobodde kugenda mu maaso na kuwulira musango oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuba nga terunawa puliida wa Busingye obumu ku bujulizi bwe lugenda okwesigamako mu musango.
KING Saha ye ssita akyasigaddewo mu baava mu kibiina kya Leone Island ekya Jose Chameleone. Gwali mwaka 2014, bayimbi banne abaali bakyasembyeyo okuva ewa Chameleone okwali; Guvnor Ace, Video Brown Mujaasi, AK 47 (awummule mirembe) n’eyali maneja wa Chamilli mu kadde ako, Sam Mukasa lwe beegatta ku kibiina kya Team No Sleep ekya Jeff Kiwa.
Kyali kigezo nga bangi balowooza nti bonna bajja kugwa nti baava awanene ne bagenda awatono naye ebintu byatambula bulala.
Video Brown kati ali Bulaaya n’okuwasa yawasa w’ebweru. Guvnor Ace ali London naye yawasizza w’e Bulaaya. Ekibiina kya Goodlyfe ekyalimu Mowzey ne Weasel abaava ewa Chameleone mu 2007 nakyo kyasaanawo olw’okufa kwa Mowzey. Dennis Lama naye ali Bungereza ng’ono ye muyimbi wa Chameleone abadde akyasigadde mu kibiina kyokka COVID-19 olwawedde naye n’ayitamu kati ali ku birala.
Saha ewa Jeff yavaayo n’akola ekikye ekya King’s Empire era Sam Mukasa kati ye maneja we. King Saha yeeyongedde ne ku maanyi okwawukana ku banne bwe baava ewa Chamili olaba yafunye n’obukulembeze kati ye mumyuka wa Pulezidenti wa UMA, ekimu ku bibiina ebifuga abayimbi nga y’amyuka Cindy Ssanyu. Okwo agattako okuba omu ku bayimbi abasinga ennyimba ennyingi ate ennungi n’eddoboozi esseeneekerevu.
Omwaka oguwedde, yakola oluyimba Zakayo naye olwo katono lumunuule essaabiro, Munene Munene - Big Size - Bebe Cool Cool - bba wa Zuena bwe yategeeza nti Saha asusse okumusojja kubanga kyali kirowoozebwa nti oluyimba lwali lulumba ye.
Ekyo kyawaliriza mutabani wa Bebe, Hendrick Ssali okukola oluyimba Matayo ng’addamu Saha eyali alabika ng’alumba kitaawe. Wadde abayimbi bombi baafunamu ng’oggyeeko Bebe eyatuuka edda, Saha yafuniramu ddala engeri gye kiri nti Bebe bw’ayogera ekintu bangi bakibuukira ate engeri gy’ali wa Gavumenti, waliwo abaali baagala okumulabisa kubanga Saha ye weeri e Magere (oba ntegerekese).
Okufaananako Chameleone kennyini bw’azze ayitimuka mu kuyimba, ne ‘mutabani we’ Saha atuuse akadde nga buli ky’akola kimufuukira nga zaabu.
Emikisa gy’amukeera kubanga banne we baalemererwa, ye bwe yali yaakava ewa Chamili mu bbanga ttono we yakubira oluyimba lwa Muliraanwa olwamukasuka mu bwengula gy’ali.
Ate jjukira oluyimba lwa ‘Ebiseera ebyo’ olwavuddemu konsati gye yatuume erinnya eryo. Lukutte nga luyiira mu myezi emitono gye lumaze ate konsati n’ekwatira ddala akati. Eno etegekeddwa pulomoota Yasin K n’ewagirwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde famire. Eri ku hotel Afrikana nga ku Lwokutaano olujja nga 8 December, 2023.
King Saha, 35 ng’amannya amatuufu ye Mansoor Ssemanda, yategeka Kings Love Entertainment kye yakola ng’avudde ewa Chameleone ng’ekyo kiri wansi wa Kings Empire mw’akolera byonna ne bizinensi endala ezitali za kuyimba kubanga mulunzi n’okulima alima.
EBIRALA EBIKWATA KU KING SAHA
Azaalibwa Kyotera - Kirembwe mu Rakai. Yasomera Ntebe ku Good Daddy e Kigungu, St. Agnes, Agali awamu P/S ate siniya yali ku Kajjansi Progressive n’amalira ku Buganda Royal Institute e Mengo ng’akoze essomo ly’ebyobusuubuzi. Mu kwewaana, Saha agamba nti; ebya bizinensi mbitegeera era buli kye nkola mbalirira.’
YATOBA MU MU GHETTO Z’E BWAISE
Okusoma yakumala akuze naye mu buto ffiizi zaabula era agamba nti bwe yava mu ssomero oluvannyuma lwa maama we okulemwa okusasula ensimbi, yava awaka n’atandika okweyiiya. Mu 2002, yalumba Ghetto z’e Bwaise mu Ggombolola y’e Kawempe mu katundu ke bayita mu Kamwanyi okuliraana eggombolola y’e Kawempe era eno omulimu omukulu gwe yasinganga okukola kwali kuyimba mu Kaliyoki mu bbaala nga Eden ne Lion ezaali ez’amaanyi mu Bwaise ebiseera ebyo.
Samuel Kakooza omu ku baakula ne King Saha yategeezezza nti yali mupambanyi ayagala okukola buli mulimu okufuna. Nti kyokka emisana baasinganga kubeera mu kibanda bya beetingi naye ye yafunanga obudde n’adduka ku banne n’agenda okuyiiya ennyimba n’okukola amaloboozi mu njazi za Jjinja Kalooli .
YAYAMBALANGA OMUJOOZI GWA SAHA EYALI OWA MAN Utd N’AFUNAMU ERINNYA
Kakooza ayongerako nti Okumanya Saha yatoba n’obulamu mu Ghetto, baatuuka n’okumugobya omujoozi gw’eyali ssita wa ManU, Omufalansa Louis Saha nga bagamba nti yali ayitirizza okugwambala we waava n’erinnya Saha.
Agamba nti erinnya lino ye ne Mikwano gye okwali Brian Masembe okola ebyemizannyo ku Bukedde Fa Ma, Allan Ssewanyana Kati omubaka wa Makindye West , Omugenzi Master Blaster, Ibra Bukenya n’abalala abaakasibanga naye mu Kamwanyi be balimukazaako. N’ebyokwagalanga eby’okuyimba mwe yasangira Chameleone n’amuyingiza ekibiina kye.
obwamuluma
Omwaka 2022, Saha agamba taligwerabira olw’ebintu ebyefaananyirizaako obutwa ebyamuweebwa era agamba nti na kati tamanyanga lwaki baali baagala kumutta.
Ayongerako nti kizibu okuteebereza awatuufu we yabuliira kuba waayita ennaku bbiri olubuto ne lutandika okumuluma era mikwano gye be baamuyoola ne bamuddusa mu ddwaaliro e Nakasero. Saha agamba nti bwe yatuuka mu ddwaaliro, abasawo baakamutema nti yalimu obutwa mu mubiri era ne bamuwa amagezi okwanguwa babuggyemu kuba ekibumba kye kyali kikutuka nga kiggwaawo.
EMIRIMU EMIRALA SAHA GY’AKOZE
• Yavubako ku mwalo e Kigungu
• Yakolako obwakondakita e Wakaliga - Nateete
• Yakolako mu Kikuubo ng’omusuubuzi wa lejjalejja “Eky’obuvubi, kintu kya musaayi kuba abeewaffe, bangi bavubi,” King Saha bw’agamba. “Nze buli kye nkola mbalirira era abammanyi siri mudibuuzi.” Saha bwe yagambye.
Ayagala eby’okwekulaakulanya alina n’olusuku, alima ebijanjaalo. Alunda embuzi, ente, obumyu n’enkoko ku ttaka lye erya yiika 17 e Nakawuka mu Wakiso. Alina ne yiika z’ettaka 40 e Kirembwe mu disitukiti y’e Kyotera gy’agamba nti eno nayo alimirako n’okulunda, alinako n’amaka.
‘Nja kusiba Bebe Cool lwa kumpaayiriza’
Wadde Saha y’omu ku bayimbi abantu be basinga okusongamu okukozesa ebiragalalagala, bino ye abiwakanya era agamba nti wadde yamyuka amaaso naye oluguudo lw’e Nakawuka lwe lwagamyusa olw’enfuufu erujjuddeko (anti gy’abeera).
Era yeeweredde okukwata kibooko okukuba abakulembeze abatafaayo kutwala buvunaanyiziwa ku nguudo.
Kyokka waliwo n’ebigambibwa nti alima ‘ebikuba’ era alina ennimiro yaabyo naye abyegaanye n’alabula n’okusiba ababimusibako nga Bebe Cool y’ajja okusooka.
|
EBISEERA EBYO...
|
KING Saha ye ssita akyasigaddewo mu baava mu kibiina kya Leone Island ekya Jose Chameleone. Gwali mwaka 2014, bayimbi banne abaali bakyasembyeyo okuva ewa Chameleone okwali; Guvnor Ace, Video Brown Mujaasi, AK 47 (awummule mirembe) n’eyali maneja wa Chamilli mu kadde ako, Sam Mukasa lwe beegatta ku kibiina kya Team No Sleep ekya Jeff Kiwa.Kyali kigezo nga bangi balowooza nti bonna bajja kugwa nti baava awanene ne bagenda awatono naye ebintu byatambula bulala.Video Brown kati ali Bulaaya n’okuwasa yawasa w’ebweru. Guvnor Ace ali London naye yawasizza w’e Bulaaya. Ekibiina kya Goodlyfe ekyalimu Mowzey ne Weasel abaava ewa Chameleone mu 2007 nakyo kyasaanawo olw’okufa kwa Mowzey. Dennis Lama naye ali Bungereza ng’ono ye muyimbi wa Chameleone abadde akyasigadde mu kibiina kyokka COVID-19 olwawedde naye n’ayitamu kati ali ku birala.Saha ewa Jeff yavaayo n’akola ekikye ekya King’s Empire era Sam Mukasa kati ye maneja we. King Saha yeeyongedde ne ku maanyi okwawukana ku banne bwe baava ewa Chamili olaba yafunye n’obukulembeze kati ye mumyuka wa Pulezidenti wa UMA, ekimu ku bibiina ebifuga abayimbi nga y’amyuka Cindy Ssanyu. Okwo agattako okuba omu ku bayimbi abasinga ennyimba ennyingi ate ennungi n’eddoboozi esseeneekerevu.Omwaka oguwedde, yakola oluyimba Zakayo naye olwo katono lumunuule essaabiro, Munene Munene - Big Size - Bebe Cool Cool - bba wa Zuena bwe yategeeza nti Saha asusse okumusojja kubanga kyali kirowoozebwa nti oluyimba lwali lulumba ye.Ekyo kyawaliriza mutabani wa Bebe, Hendrick Ssali okukola oluyimba Matayo ng’addamu Saha eyali alabika ng’alumba kitaawe. Wadde abayimbi bombi baafunamu ng’oggyeeko Bebe eyatuuka edda, Saha yafuniramu ddala engeri gye kiri nti Bebe bw’ayogera ekintu bangi bakibuukira ate engeri gy’ali wa Gavumenti, waliwo abaali baagala okumulabisa kubanga Saha ye weeri e Magere (oba ntegerekese).Okufaananako Chameleone kennyini bw’azze ayitimuka mu kuyimba, ne ‘mutabani we’ Saha atuuse akadde nga buli ky’akola kimufuukira nga zaabu.Emikisa gy’amukeera kubanga banne we baalemererwa, ye bwe yali yaakava ewa Chamili mu bbanga ttono we yakubira oluyimba lwa Muliraanwa olwamukasuka mu bwengula gy’ali.Ate jjukira oluyimba lwa ‘Ebiseera ebyo’ olwavuddemu konsati gye yatuume erinnya eryo. Lukutte nga luyiira mu myezi emitono gye lumaze ate konsati n’ekwatira ddala akati. Eno etegekeddwa pulomoota Yasin K n’ewagirwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde famire. Eri ku hotel Afrikana nga ku Lwokutaano olujja nga 8 December, 2023.King Saha, 35 ng’amannya amatuufu ye Mansoor Ssemanda, yategeka Kings Love Entertainment kye yakola ng’avudde ewa Chameleone ng’ekyo kiri wansi wa Kings Empire mw’akolera byonna ne bizinensi endala ezitali za kuyimba kubanga mulunzi n’okulima alima.EBIRALA EBIKWATA KU KING SAHA Azaalibwa Kyotera - Kirembwe mu Rakai. Yasomera Ntebe ku Good Daddy e Kigungu, St. Agnes, Agali awamu P/S ate siniya yali ku Kajjansi Progressive n’amalira ku Buganda Royal Institute e Mengo ng’akoze essomo ly’ebyobusuubuzi. Mu kwewaana, Saha agamba nti; ebya bizinensi mbitegeera era buli kye nkola mbalirira.’ YATOBA MU MU GHETTO Z’E BWAISE Okusoma yakumala akuze naye mu buto ffiizi zaabula era agamba nti bwe yava mu ssomero oluvannyuma lwa maama we okulemwa okusasula ensimbi, yava awaka n’atandika okweyiiya. Mu 2002, yalumba Ghetto z’e Bwaise mu Ggombolola y’e Kawempe mu katundu ke bayita mu Kamwanyi okuliraana eggombolola y’e Kawempe era eno omulimu omukulu gwe yasinganga okukola kwali kuyimba mu Kaliyoki mu bbaala nga Eden ne Lion ezaali ez’amaanyi mu Bwaise ebiseera ebyo.Samuel Kakooza omu ku baakula ne King Saha yategeezezza nti yali mupambanyi ayagala okukola buli mulimu okufuna. Nti kyokka emisana baasinganga kubeera mu kibanda bya beetingi naye ye yafunanga obudde n’adduka ku banne n’agenda okuyiiya ennyimba n’okukola amaloboozi mu njazi za Jjinja Kalooli .YAYAMBALANGA OMUJOOZI GWA SAHA EYALI OWA MAN Utd N’AFUNAMU ERINNYA Kakooza ayongerako nti Okumanya Saha yatoba n’obulamu mu Ghetto, baatuuka n’okumugobya omujoozi gw’eyali ssita wa ManU, Omufalansa Louis Saha nga bagamba nti yali ayitirizza okugwambala we waava n’erinnya Saha.Agamba nti erinnya lino ye ne Mikwano gye okwali Brian Masembe okola ebyemizannyo ku Bukedde Fa Ma, Allan Ssewanyana Kati omubaka wa Makindye West , Omugenzi Master Blaster, Ibra Bukenya n’abalala abaakasibanga naye mu Kamwanyi be balimukazaako. N’ebyokwagalanga eby’okuyimba mwe yasangira Chameleone n’amuyingiza ekibiina kye.obwamuluma Omwaka 2022, Saha agamba taligwerabira olw’ebintu ebyefaananyirizaako obutwa ebyamuweebwa era agamba nti na kati tamanyanga lwaki baali baagala kumutta.Ayongerako nti kizibu okuteebereza awatuufu we yabuliira kuba waayita ennaku bbiri olubuto ne lutandika okumuluma era mikwano gye be baamuyoola ne bamuddusa mu ddwaaliro e Nakasero. Saha agamba nti bwe yatuuka mu ddwaaliro, abasawo baakamutema nti yalimu obutwa mu mubiri era ne bamuwa amagezi okwanguwa babuggyemu kuba ekibumba kye kyali kikutuka nga kiggwaawo.EMIRIMU EMIRALA SAHA GY’AKOZE • Yavubako ku mwalo e Kigungu • Yakolako obwakondakita e Wakaliga - Nateete • Yakolako mu Kikuubo ng’omusuubuzi wa lejjalejja “Eky’obuvubi, kintu kya musaayi kuba abeewaffe, bangi bavubi,” King Saha bw’agamba. “Nze buli kye nkola mbalirira era abammanyi siri mudibuuzi.” Saha bwe yagambye.Ayagala eby’okwekulaakulanya alina n’olusuku, alima ebijanjaalo. Alunda embuzi, ente, obumyu n’enkoko ku ttaka lye erya yiika 17 e Nakawuka mu Wakiso. Alina ne yiika z’ettaka 40 e Kirembwe mu disitukiti y’e Kyotera gy’agamba nti eno nayo alimirako n’okulunda, alinako n’amaka.‘Nja kusiba Bebe Cool lwa kumpaayiriza’ Wadde Saha y’omu ku bayimbi abantu be basinga okusongamu okukozesa ebiragalalagala, bino ye abiwakanya era agamba nti wadde yamyuka amaaso naye oluguudo lw’e Nakawuka lwe lwagamyusa olw’enfuufu erujjuddeko (anti gy’abeera).Era yeeweredde okukwata kibooko okukuba abakulembeze abatafaayo kutwala buvunaanyiziwa ku nguudo.Kyokka waliwo n’ebigambibwa nti alima ‘ebikuba’ era alina ennimiro yaabyo naye abyegaanye n’alabula n’okusiba ababimusibako nga Bebe Cool y’ajja okusooka.
Oluyimba lwa ‘Muliraanwa’ lwatunda nnyo King Saha era agamba nti wano we yatandikira okukwata ku ssente w’omuziki naye n’agiwulira. Wadde lwali lunyuma naye omuwala eyalulimu ye yasinga okulutunda olw’endabika ye n’enkula ye abantu gye baasinga okusiima.
Saha agamba nti omuwala ono yamuzaalira ebizibu kubanga yawalirizibwa n’okusooka okudduka we yali abeera nga kitaawe amuyigga amunnyonnyole lwaki ayonoonye muwala we ng’amussa mu by’ekiyaaye.
Agamba nti omuwala ono muwala wa munnamagye omunene mu ggwanga era mukwano gwe Frank Mugerwa owa kkampuni ya Jay Live ye mumufunira kyokka teyamanya binaddirira. Nti lumu waliwo omuyimbi mu kibiina kya Eagles Production, munnamagye ono gwe yayitamu n’amukubira essimu ajje ku calendar amuwe omulimu era yatuukawo mangu kyokka ekyamuggya enviiri ku mutwe abasajja be yasanga n’omuyimbi ono baakwata mukwate ppaka wa Munnamagye ono era okuvaayo yasooka kukola ndagaano butaddamu kwesembereza muwala ono.
Saha agamba nti wadde omuwala ono mukwano gwe nnyo nga kati y’omu ku banene mu kitongole ekikessi ekya ISO naye akalagaane kakyaliwo era tasobola kubeera naye mu lukale.
EYALI MU VIDIYO YA GUNDEEZE KATA AMUSSE
Omuwala omulala ye yali mu luyimba lwa Gundeeze. Ono muwala w’omu ku bagagga b’omu kibuga era yali yaakafuna omulimu mu emu ku kkampuni z’amasimu ez’amaanyi mu ggwanga.
Saha agamba nti lumu omuggagga ono yamukubira essimu n’amulabula okumusanga ne muwala we ajja kufiirwa obulamu bwe kuba tayinza kukkiriza muwala we gw’ataddemu ensimbi ennyingi kubeera n’abayaaye okumwonoona. Agamba nti yali ayagala nyo omuwala oyo ng’amuwa ne ku ssente. Saha ayongerako nti lumu bajja balondoola omuwala ono era yali yaakamusisinka mu kafo akamu ne baagala okumukwata era yayita mu ddirisa n’adduka nga kino kyayonoona enkolagana y’omuwala ono ne kitaawe okukakkana ng’asuddewo omulimu n’agenda e Bungereza.
MANEJA wa bbanka ya Diamond Trust Bank (DTB) agambibwa okujingirira omukono gwa kasitoma n’aggyanga sente ku akawunti ye ng’akozesa ceeke ezisoba mu dollar 4,000 byongedde okumukalubirira omulamuzi bw’agaanyi okuddamu okuwulira okusaba kwe okw’okumweyimirira.
Grace Busingye omutuuze w’e Kabowa maneja wa bbanka ya DTB ku ttabi lyo mu Kikuubo ye yakomezeddwaawo mu kkooti ya Buganda Road okuva mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa oluvannyuma lw’omulamuzi Ronald Kayizzi okugaana okusaba kwe okw’okumweyimirirwa oluvannyuma lw’abajja okumweyiirira obutabeera na bisaanyizo.
Busingye avunaanibwa emisango 36 egy’okugingirira omukono gwa Kim Hyun Ki, okuwaayo empapula enjingirire, okubba Ceeke n’okubba ssente okuva ku akawunti ya Kim nnamba 0004871002 ng’emisango gino kigambibwa nti yagizza wakati wa nga September 2022 ne Febuary 2023 ku ttabi lya DTB ery’omu Kikuubo ne ku Old Kampala.
Eggulo Busingye yabadde akomezeddwawo mu kkooti okutandika okuwulira obujulizi ku misango egimuvunaanibwa era oludda oluwaabi nga lukumbeddwamu omuwaabi wa gavumenti Ivan Kyazze lwabadde luleese omujulizi waalwo asooka nga y’akulira ebyokwerinda mu bbanka.
Wabula, kkooti teyasobodde kugenda mu maaso na kuwulira musango oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okuba nga terunawa puliida wa Busingye obumu ku bujulizi bwe lugenda okwesigamako mu musango.
KING Saha ye ssita akyasigaddewo mu baava mu kibiina kya Leone Island ekya Jose Chameleone. Gwali mwaka 2014, bayimbi banne abaali bakyasembyeyo okuva ewa Chameleone okwali; Guvnor Ace, Video Brown Mujaasi, AK 47 (awummule mirembe) n’eyali maneja wa Chamilli mu kadde ako, Sam Mukasa lwe beegatta ku kibiina kya Team No Sleep ekya Jeff Kiwa.
Kyali kigezo nga bangi balowooza nti bonna bajja kugwa nti baava awanene ne bagenda awatono naye ebintu byatambula bulala.
Video Brown kati ali Bulaaya n’okuwasa yawasa w’ebweru. Guvnor Ace ali London naye yawasizza w’e Bulaaya. Ekibiina kya Goodlyfe ekyalimu Mowzey ne Weasel abaava ewa Chameleone mu 2007 nakyo kyasaanawo olw’okufa kwa Mowzey. Dennis Lama naye ali Bungereza ng’ono ye muyimbi wa Chameleone abadde akyasigadde mu kibiina kyokka COVID-19 olwawedde naye n’ayitamu kati ali ku birala.
Saha ewa Jeff yavaayo n’akola ekikye ekya King’s Empire era Sam Mukasa kati ye maneja we. King Saha yeeyongedde ne ku maanyi okwawukana ku banne bwe baava ewa Chamili olaba yafunye n’obukulembeze kati ye mumyuka wa Pulezidenti wa UMA, ekimu ku bibiina ebifuga abayimbi nga y’amyuka Cindy Ssanyu. Okwo agattako okuba omu ku bayimbi abasinga ennyimba ennyingi ate ennungi n’eddoboozi esseeneekerevu.
Omwaka oguwedde, yakola oluyimba Zakayo naye olwo katono lumunuule essaabiro, Munene Munene - Big Size - Bebe Cool Cool - bba wa Zuena bwe yategeeza nti Saha asusse okumusojja kubanga kyali kirowoozebwa nti oluyimba lwali lulumba ye.
Ekyo kyawaliriza mutabani wa Bebe, Hendrick Ssali okukola oluyimba Matayo ng’addamu Saha eyali alabika ng’alumba kitaawe. Wadde abayimbi bombi baafunamu ng’oggyeeko Bebe eyatuuka edda, Saha yafuniramu ddala engeri gye kiri nti Bebe bw’ayogera ekintu bangi bakibuukira ate engeri gy’ali wa Gavumenti, waliwo abaali baagala okumulabisa kubanga Saha ye weeri e Magere (oba ntegerekese).
Okufaananako Chameleone kennyini bw’azze ayitimuka mu kuyimba, ne ‘mutabani we’ Saha atuuse akadde nga buli ky’akola kimufuukira nga zaabu.
Emikisa gy’amukeera kubanga banne we baalemererwa, ye bwe yali yaakava ewa Chamili mu bbanga ttono we yakubira oluyimba lwa Muliraanwa olwamukasuka mu bwengula gy’ali.
Ate jjukira oluyimba lwa ‘Ebiseera ebyo’ olwavuddemu konsati gye yatuume erinnya eryo. Lukutte nga luyiira mu myezi emitono gye lumaze ate konsati n’ekwatira ddala akati. Eno etegekeddwa pulomoota Yasin K n’ewagirwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde famire. Eri ku hotel Afrikana nga ku Lwokutaano olujja nga 8 December, 2023.
King Saha, 35 ng’amannya amatuufu ye Mansoor Ssemanda, yategeka Kings Love Entertainment kye yakola ng’avudde ewa Chameleone ng’ekyo kiri wansi wa Kings Empire mw’akolera byonna ne bizinensi endala ezitali za kuyimba kubanga mulunzi n’okulima alima.
EBIRALA EBIKWATA KU KING SAHA
Azaalibwa Kyotera - Kirembwe mu Rakai. Yasomera Ntebe ku Good Daddy e Kigungu, St. Agnes, Agali awamu P/S ate siniya yali ku Kajjansi Progressive n’amalira ku Buganda Royal Institute e Mengo ng’akoze essomo ly’ebyobusuubuzi. Mu kwewaana, Saha agamba nti; ebya bizinensi mbitegeera era buli kye nkola mbalirira.’
YATOBA MU MU GHETTO Z’E BWAISE
Okusoma yakumala akuze naye mu buto ffiizi zaabula era agamba nti bwe yava mu ssomero oluvannyuma lwa maama we okulemwa okusasula ensimbi, yava awaka n’atandika okweyiiya. Mu 2002, yalumba Ghetto z’e Bwaise mu Ggombolola y’e Kawempe mu katundu ke bayita mu Kamwanyi okuliraana eggombolola y’e Kawempe era eno omulimu omukulu gwe yasinganga okukola kwali kuyimba mu Kaliyoki mu bbaala nga Eden ne Lion ezaali ez’amaanyi mu Bwaise ebiseera ebyo.
Samuel Kakooza omu ku baakula ne King Saha yategeezezza nti yali mupambanyi ayagala okukola buli mulimu okufuna. Nti kyokka emisana baasinganga kubeera mu kibanda bya beetingi naye ye yafunanga obudde n’adduka ku banne n’agenda okuyiiya ennyimba n’okukola amaloboozi mu njazi za Jjinja Kalooli .
YAYAMBALANGA OMUJOOZI GWA SAHA EYALI OWA MAN Utd N’AFUNAMU ERINNYA
Kakooza ayongerako nti Okumanya Saha yatoba n’obulamu mu Ghetto, baatuuka n’okumugobya omujoozi gw’eyali ssita wa ManU, Omufalansa Louis Saha nga bagamba nti yali ayitirizza okugwambala we waava n’erinnya Saha.
Agamba nti erinnya lino ye ne Mikwano gye okwali Brian Masembe okola ebyemizannyo ku Bukedde Fa Ma, Allan Ssewanyana Kati omubaka wa Makindye West , Omugenzi Master Blaster, Ibra Bukenya n’abalala abaakasibanga naye mu Kamwanyi be balimukazaako. N’ebyokwagalanga eby’okuyimba mwe yasangira Chameleone n’amuyingiza ekibiina kye.
obwamuluma
Omwaka 2022, Saha agamba taligwerabira olw’ebintu ebyefaananyirizaako obutwa ebyamuweebwa era agamba nti na kati tamanyanga lwaki baali baagala kumutta.
Ayongerako nti kizibu okuteebereza awatuufu we yabuliira kuba waayita ennaku bbiri olubuto ne lutandika okumuluma era mikwano gye be baamuyoola ne bamuddusa mu ddwaaliro e Nakasero. Saha agamba nti bwe yatuuka mu ddwaaliro, abasawo baakamutema nti yalimu obutwa mu mubiri era ne bamuwa amagezi okwanguwa babuggyemu kuba ekibumba kye kyali kikutuka nga kiggwaawo.
EMIRIMU EMIRALA SAHA GY’AKOZE
• Yavubako ku mwalo e Kigungu
• Yakolako obwakondakita e Wakaliga - Nateete
• Yakolako mu Kikuubo ng’omusuubuzi wa lejjalejja “Eky’obuvubi, kintu kya musaayi kuba abeewaffe, bangi bavubi,” King Saha bw’agamba. “Nze buli kye nkola mbalirira era abammanyi siri mudibuuzi.” Saha bwe yagambye.
Ayagala eby’okwekulaakulanya alina n’olusuku, alima ebijanjaalo. Alunda embuzi, ente, obumyu n’enkoko ku ttaka lye erya yiika 17 e Nakawuka mu Wakiso. Alina ne yiika z’ettaka 40 e Kirembwe mu disitukiti y’e Kyotera gy’agamba nti eno nayo alimirako n’okulunda, alinako n’amaka.
‘Nja kusiba Bebe Cool lwa kumpaayiriza’
Wadde Saha y’omu ku bayimbi abantu be basinga okusongamu okukozesa ebiragalalagala, bino ye abiwakanya era agamba nti wadde yamyuka amaaso naye oluguudo lw’e Nakawuka lwe lwagamyusa olw’enfuufu erujjuddeko (anti gy’abeera).
Era yeeweredde okukwata kibooko okukuba abakulembeze abatafaayo kutwala buvunaanyiziwa ku nguudo.
Kyokka waliwo n’ebigambibwa nti alima ‘ebikuba’ era alina ennimiro yaabyo naye abyegaanye n’alabula n’okusiba ababimusibako nga Bebe Cool y’ajja okusooka.
|
End of preview. Expand
in Data Studio
README.md exists but content is empty.
- Downloads last month
- 14